Essundiro ly'amasannyalaze ery'ebbugumu ery'e Lugazi

 

Essundiro ly’amasannyalaze erya Lugazi lya 9.5 megawatts (12,700 hp) ekyuma ky'amasannyalaze ag'ebbugumu agakozesa bagasse mu Uganda, eky'okusatu mu by'enfuna mu mukago gwa East African Community . [1]

Ekifo werisangibwa

kyusa

Essundiro ly’amasannyalaze lino lisangibwa ku Sugar Corporation of Uganda Limited,era nga bebanannyini ssundiro lino. Nga kino kisangibwa Lugazi, mu Disitulikiti y'e Buikwe, mu masekkati ga Uganda . Lugazi ekunukiriza kilometers 47 (29 mi), ku luguudo lwa Kampala-Jinja Highway, ebuvanjuba bwa Kampala era nga kino ky'ekibuga ekikulu ekya Uganda era nga kye kisinga obunene mu ggwanga eryo. [2] Ensengeka z'essundiro ly'amasannyalaze ku maapu ze zino:0°22'48.0"N, 32°56'42.0"E (Latitude:0.3800; Longitude:32.9450). [3]

Okutwalira awamu

kyusa

Essundiro ly’amasannyalaze lino lya era liddukanyizibwa kkampuni ya Sugar Corporation of Uganda Limited (SCOUL) kkampuni ekwata eky'okusatu mu kukola ssukaali mu uganda. Essundiro ly’amasannyalaze lino lyakolebwa era ne lizimbibwa okwetooloola ekyuma ekikola ssukaali ekya SCOUL. Ebisigalira by’obuwuzi ebiva mu nkola y’okumenya omuwemba, ebimanyiddwa nga bagasse, byokebwa okubugumya amazzi mu bboyiyira ne bivaamu omukka. Omukka guteekebwako puleesa ne gukozesebwa okuvuga ttabiini oluvannyuma ne zikola amasannyalaze . Ebbugumu erisukkiridde likozesebwa mu nkola y’okukola ssukaali.okutuuka mu december wa 2010 </link></link> , essundiro ly’amasannyalaze lyasobola okufulumya amasannyalaze agasukka mu MW 5, era nga gano gakozesebwa mu bujjuvu munda mu kkampuni ya SCOUL. nga mu kiseera ekyo enteekateeka zaali zigenda mu maaso okugaziya okufulumya amasannyalaze okutuuka ku MW 16, nga ku zino MW 7.4 zaali za kutundibwa ku mudumu ate 8.6 ezaali zisigaddewo za kukozesebwa munda mu kkampuni ya SCOUL. [4]

Okuyimusa ku mutindo

kyusa

Mu May w'omwaka gwa 2018, SCOUL yeewola obukadde bwa pawundi abiri €20 okuva mu PROPARCO n’obukadde bwa €20 obulala okuva mu kkampuni ya Netherlands Development Finance Company (FMO), okusasulira megawatts 26 (35,000 hp) ekyuma ekikola amasannyalaze aga bagasse co-generation. [5]

Laba nebino

kyusa

  Lugazi Buikwe District SCOUL Mehta Group Uganda Power Station

Ebiwandiiko ebikozesebwa

kyusa
  1. https://www.mehtagroup.com/sugar.html
  2. https://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Uganda%20Post%20Office%2C%20Kampala%20Road%2C%20Kampala%2C%20Uganda&toplace=SCOUL%20Carbon%20dioxide%20Plant%2C%20Lugazi%2C%20Uganda&dt1=ChIJQ6vCjIC8fRcRO0xjOZ4-3Qc&dt2=ChIJtX5QLoDafRcRHRyBddWdVEI
  3. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B022'48.0%22N+32%C2%B056'42.0%22E/@0.3883563,32.9492414,14z/data=!4m2!3m1!1s0x0:0x0
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-05. Retrieved 2024-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://www.observer.ug/business/57736-afd-gives-uganda-37-1m-for-power-transmission-line.html

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa

Template:Buikwe District