Esther Chebet

Muddusi Omunnayuganda

 

Esther Chebet yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 10, mu mwezi ogw'omwenda, mu mwaka gwa 1997, nga munayuganda aduka emisinde gy'okwetoloola ekisaawe. Yamaliriza mu kifo kyakutaano mu mizannyo gy'oku semaiznga wa Afrika ezaaliwo mu mwaka gwa 2019 eza mita 1500.[1] Mu mizannyo gy'ensi yonna egy'okuduk nga wetoloola eggwanga nga zino zaali mu kibuga kya Aarhus, eky'eggwanga lya Denmark, yamaliriza mu kifo kya 14 mu misinde gy'abakugu, ate n'awangula omudaali gw'mu mpaka za ttiimu.[2]

Yeetaba mu mpaka z'ensi yonna ez'abali wansi w'emyaka 20 ezaali mu mwaka gwa 2016 egya mita 800[3] egya mita 1500 mu mwaka gwa 2017 ez'ensi yonna ,[4]ne muz'omwaka gwa 2019, ez'ensi yonna eza mita 1500, wabula nga teyatuuka ku luzannya lwakamalirizo.

Esaawa zeyali aduse ng'omuntu nga zeyali akoze obulungi zaali edakiika 2:03.28 mu misinde gya mita 800, zeyafuna mu mwezi ogw'omusanvu, mu mwaka gwa 2016 mu Kampala; edakiika 4:02.90 mu misinde gya mita 1500, agyeyafuna mu mwezi ogw'okutaano, mu mwaka gwa 2019 mu Nanjing; n'edakiika 4:28.16 mu misinde gy'okuduka mayiro, gyeyafuna mu mwezi ogw'omusanvu mu mwakagwa 2017 mu Lausanne.[1]

Mu mwezi ogw'omukaaga, mu mwaka gwa 2021, yasobola okuyitamu okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics egitegekebwa mu biseera by'ekyeeya mu mwaka gwa 2020.[5]

  1. 1.0 1.1 Template:Iaaf namehttps://www.worldathletics.org/athletes/biographies?athcode=300245
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://media.aws.iaaf.org/competitiondocuments/pdf/6265/AT-XSE-W-f----.RS6.pdf?v=21598225
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://media.aws.iaaf.org/competitiondocuments/pdf/5680/AT-800-W-sf----.RS4.pdf
  4. https://media.aws.iaaf.org/competitiondocuments/pdf/5151/AT-1500-W-h----.RS4.pdf?v=1809092076Heats results
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/athletics/chebet-surprises-with-5000m-olympics-ticket-3419944