Esther Mbulakubuza Mbayo

Munnabyabufuzi Omunnayuganda

 

Hon. Esther Mbulakubuza Mbayo

Esther Mbulakubuza Mbayo nga batera kuliwandiika nga Esther Mbulakubuza, munabyabufuzi Omunayuganda. Ye Minisita w'ebya Pulezidenti mu Kabineeti ya Uganda.[1][2][3][4] Yalondebwa mu kifo kino nga 6 Ogwomukaaga mu 2016 n'adira Frank Tumwebaze mu bigere eyali awereddwa ogw'okubeera Minisita w'eby'obubaka, Tekinologiya wamu n'empuliziganya.[5] Akola ne mu Paalamenti ya Uganda nga Omubaka Omukyala akiikirira Disitulikiti ya Luuka.[6]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Yazaalibwa mu gyebayit Disitulikiti ye Luuka enaku zino, mu Bitundu bye Busoga, mu Buvanjuba bwa Uganda, nga 27, Ogwokuna u 1971. Yasomera ku Wanyange Girls' School gyeyatuulira S4 ne S6. Yagenda ku Yunivasite ye Makerere, gyeyatikirwa mu 2005 ne Diguli mu by'embalirira n'enfuna, nga esira yasinga kuliteeka mu byakubala bitabo.[7] Alina ne satifikeeti gyeyafuna okuva kutendekero lya Institute of Chartered Secretaries and Administrators.[6]

Emirimu gye

kyusa
 
Mbayo Esther Mbulakubuza

Mu 1997, yawerezaako nga eyali yekaanya eby'embalirira n'ensiimbi mu kampuni ya Transocean Uganda Limited. Okuva mu Gwekuminoogumu mu 1999 okutuuka mu 2002, yali akola nga omumyuka w'omubalirizi w'ebitabo mu kampuni ya Lonrho Motors Uganda Limited, kampuni eyali ey'obwanannyini ng'etunda mmotoka. Okuva mu Gusooka mu 2003 okutuuka mu Gwokubiri mu 2006, yali akola nga omubalirizi w'ebitabo omujuvu mu kampuni ya Lonrho Motors. Oluvannyuma yagenda okukolera aba Commercial Firms Uganda Limited era nga omubalirizi w'ebitabo, okuva mu Gwokuna mu 2006 okutuuka mu Gwomunaana mu 2007. Mu kaseera kekamu, okuva mu Gwomwenda mu 2001, okutuuka mu Gwomukaaga mu 2008, yakolerako aba kampuni ya Socket Works Uganda Limited nga omubalirizi w'ebitabo. Okuva mu Gwokubiri mu 2008, okutuusa mu Gwekumineebiri mu 2010, yakolako nga yeali avunaanyizibwa ku by'entambula by'ensimbi mu kampuni ya Cooper Motor Corporation Uganda.Yalondebwa nga omukyala omubaka wa Paalamenti eyali agenda okukiikirira Disitulikiti ya Luuka mu kalulu ka bonna, aka 2016,[6][7] oluvannyuma lw'okuwangula eyali mu kifo kino naddamu okwesimbawo Evelyn Kaabule.[8][9] Mu kusooka yali yawangudde Kabuule mu kamyuufu ka NRM. Nga 6 Ogwomukaaga mu 2016, yaweebwa eky'okubeera Minisita wa Kabineeti ku bya Pulezidenti.[5][9]

Mu 2021,, mu kalulu k'okulonda pulezidenti w'eggwanga n'ababaka ba Paalamenti, Mbayon yawangula ekisanja ekirala mu ofiisi, ekyali eky'okubeera mu bukulembezze okuva mu 2021 okutuusa mu 2020[10][11]

Obuvunaanyizibwa obulala

kyusa

Awereza nga ssentebe w'ekibiina ekigata abakyala ba Disitulikiti mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement wamu n'okubeera omuwandiisi w'ekibiina ekigata abakyala abakulembezze mu Busoga.

Obulamu bwe

kyusa

Esther Mbayo mukyala mufumbo nga baawe ye George William Mbayo nga ababbiri bano balina abaana basatu.[7] Mu Gwekuminoogumu mu 2020, yafiirwa mutabano we Ian Mawanda eyafa olw'omutima okulemererwa nga kyali kiva kukajuza nnyo bweyali mu jiimu.[12][13][14][15][16]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. https://web.archive.org/web/20210514072424/http://cabinetsecretariat.go.ug/data/staffdetails/28/Hon.%20Mbayo%20Esther%20Mbulakubuza.html
  2. https://summit.norwegianafrican.no/previous-speakers/esther-mbayo
  3. http://ugandaradionetwork.com/story/luuka-celebrates-first-ministerial-appointment
  4. https://web.archive.org/web/20210506003940/https://op.go.ug/state-ministers
  5. 5.0 5.1 https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
  6. 6.0 6.1 6.2 https://web.archive.org/web/20180321100405/http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=152
  7. 7.0 7.1 7.2 https://web.archive.org/web/20170112201844/http://www.monitor.co.ug/News/National/Who-are-the-new-faces-in-Museveni-s-Cabinet-/-/688334/3237208/-/item/0/-/jvu2ejz/-/index.html
  8. http://www.ec.or.ug/docs/Report%20on%20the%202015-2016%20General%20Elections.pdf
  9. 9.0 9.1 http://www.chimpreports.com/mbayo-ministerial-appointment-sparks-celebrations-in-luuka/
  10. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/districts/luuka-94/
  11. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/new-parliament-takes-shape--3259238
  12. https://web.archive.org/web/20201129085243/https://www.nrmnationalchairman.com/condolences-to-hon-mbayo-and-family-upon-the-loss-of-ian/
  13. https://www.watchdoguganda.com/news/20201129/105181/minister-esther-mbayos-only-child-dies.html
  14. https://campusbee.ug/news/minister-mbayo-my-son-died-of-heart-failure-after-numerous-body-workouts/
  15. https://web.archive.org/web/20221016101154/https://theinformerug.com/2020/11/29/presidency-minister-esther-mbayos-only-son-dies/
  16. https://www.campustimesug.com/makerere-fresh-graduate-dies-after-gyming/