Esther Nakajjigo
Esther Nakajjigo (c. 1995 – 13 Ogwomukaaga 2020) yali Munnayuganda omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu. Ye yali ambasada w'ekitongole ky'abakyala n'abaana abawala nga yalondebwa ekitongole kya World Health Organization. Nakajjigo ye yatandikawo eddwaliro lya Princess Diana Health Centre e Munyonyo. Nakjjigo ye yali aweereza pulogulamu ku TV eya "Saving Innocence Project" ne "Lift: okuyimusa ombwenyi bw'abo abaayita mu kusoomozebwa n'okutya".
Obulamu bwe
kyusaNakajjigo yazaalibwa mu kitundu ky'e Munyonyo eri omwami n'omukyala ba Katergga.[1] Ye mukulu mu baana abatano.[1] Ku myaka 14, Nakajjigo y'ewaayo okukola ng'omusomesa w'abavubuka ku nsonga z'obulamu ku ddwaliro lya Kiruddu Health Centre.[1] Mu mwaka gwe gumu, yatandiikawo ekitongole ky'abakyala ekya Women Health Team, Ekitongole ky'obwannanyini ekyali kigenderera okusomesa n'okuwagira abakyala mu Kalangala.[2] Oluvanyuma lw'okugalibwa kw'eddawaliro ly'e Kiruddu Health Centre mu kulongosebwa, maamawe y'amuwa ettaka e Munyonyo okuzimbako eddwaliro lya Princess Diana Health Centre.[1] Yakola okuyambako okukendeeza ku bawala abafuna embuto nga tebaannetuuka.[1] Olw'amaanyi mu ebyo by'eyakola, ku myaka 17 ekitongole ky'ebyobulamu ekya World Health Organization ky'amufuula Ambasada wa Uganda ow'ekibiina kya ky'abakyala n'abaana abawala ekya hope for women and girls.[1]
Nakajjigo yali muweereza ku Bukedde TV. Yatandikawo pulogulaamu ya "Saving Innocence Project" okuyamba abawala abato ab'ava mu ssomero. Pulogulaamu eno ya wangula Awaadi ya Geneva Award.[1] Nakajjigo yatandikawo olulaga lwa "Lift: Living in the Face of Trauma". Yawangula Awaadi ya World Savers awards mu 2015 ne 2016 ekyafunira Nakajjigo sikaala okuva eya Kabaka wa Buganda okusomera ku Yunvasite ya Buganda eya Muteesa I Royal University.[1] Mu 2018, yali amaliriza Diguli esooka mu ku kwasaganya abantu abayita mu mbeera ey'okusomozebwa n'okubabudabuda eya bachelor's degree in social work and social administration.[1] Ye yafuna ekya Mandela Washington Fellowship.[3] Mu Gwomukaaga 2018, yatandiikawo ekyatuumibwa Global Girls Movement mu Brussels.[4][5]
Nga 13 Ogwomukaaga 2019, Nakajjigo yasisinka Ludovic Michaud mu Aurora, Colorado ng'ayita mu Tinder.[6][7] Bafumbiriganwa mu maaso g'omulamuzi mu Gwokusatu 2020.[6] Nga 13 Ogwomukaaga 2020, Nakajjigo wamu n'omwami we batemebwako omutwe geeti y'ekifo awakuumirwa ebisolo gye baali bagenze okulambula ekya Arches National Park.[6] Mu Gusooka 2023, famire ye yaweebwa Obukadde bwa Doola US$10.5M olw'obuvune obw'abatuusibwako okuva mu Gavumenti ya America.[8]
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 1.7 1.8 https://www.independent.co.ug/esther-nakajjigo-young-fighter-women-girls/
- ↑ https://glamour.globo.com/lifestyle/noticia/2018/07/conheca-jovem-que-esta-mudando-historia-da-uganda.ghtml
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>
tag; no text was provided for refs named:1
- ↑ https://www.colorado.edu/cwa/esther-nakajjigo
- ↑ https://www.africanleadershipmagazine.co.uk/esther-nakajjigo-uganda-founder-global-girls-movement/
- ↑ 6.0 6.1 6.2 https://www.nbcnews.com/news/us-news/activist-s-dreams-were-about-come-true-then-horrific-accident-n1245517
- ↑ https://www.fox13now.com/husband-takes-witness-stand-in-civil-trial-over-his-wifes-decapitation-death-in-arches-national-park
- ↑ https://apnews.com/article/united-states-government-utah-salt-lake-city-uganda-661dcefd424f322f26f85087633512ff