Ettaka n’endabirira yaalyo ng’otema ensalosalo
==Ettaka n’endabirira yaalyo ng’otema ensalosalo== [Soil management by digging trenches] Ettaka lirina embeera erigwanyiza okuliyita eddamu oba eddungi era nga lisobola okufa oba okuggwaamu ensa singa terirabirirwa bulungi nga bwe kisanidde.Tulina okumanya n’okuyiga enkola entuufu egwanidde nga tukozesa enkumbi kku ttaka lyaffe okusobola okulikuuma nga ddamu. Nga tutegeka oba tulongoosa ekitundu ku ttaka okukifuula ennimiro anti tusooka kusaawa nsiko, kusambula, kukabala n’ebiring’ebyo, okusalamu oba kiyite okulamba ebitundu omunaabeera ensalosalo nga tweyambisa enkumbi. Ensalosalo za bika bino [Fanya Ju] luno oba zino , ziba nsalosalo ezitemebwa obukiika mu nnimiro gamba olusooka, oluddako n’endala eziddirira ng’ogyeko olwo olusemberayo ddala ku nkomerero y’ennimiro, ettaka lyazo litemwa nga lisuulibwa oludda olw’ekyengulu anti ggwe wamma, emirundi nmingi ennimiro zaffe zibera kuba nneesulifu. N’olw ekyo, ensalosalo zino ziteekwa okubaamu ku miziziko mu ngeri esaanye okutangira ku misinde gy’amazzi oba mukoka. Waliwo ensalosalo ezibeera mu nnimiro nga tezirina we ziyingiriza mazzi mu nnimiro agaba gakulukuta wazira okutega ago gokka agaba gakungaanidde mu bitaba ng’enkuba nnyingi etonnye. [Fanya kini] luno lwe lusalosalo oluteekwa okusembayo wansi oba ekyemmanga, anti ggwe wamma n’entema yaalwo ey’ettaka tefaanana n’eri eya ziri zi [fanya ju], lyo ettaka lidda kyemmanga okutangira amazzi okujjula amangu ekiyinza okuluvirako okubooga. Emiziziko egitangira emisinde gya mukoka nga bwe twalabye waggulu, na muno gyetaagisa. Ekituufu kiri nti okutwalira awamu emiziziko gino, giteekebwa ku nsalosalo empanvu z’oyinza okuyita enkoloddoli kubanga ennyimpi tolina bw’ozikolamu ziveemu omugaso. Ensalosalo zino ng’ozitema, tezandibadde mpanvu nnyo okukka wansi, kubanga amazzi gaba geetaagisa okukola ku bimera byonna naddala ebyo ebiriira kungulungulu ng’ogyeko emiti. Yadde ng’ensalosalo ekigendererwa kyazo kutangira kukulugguka kwa ttaka, telusaana kusukka ffuuti emu oba emu n’ekitundu. bw’elusukkawo mpozzi ng’ogenderera kutangira butangizi kukulugguka kwa ttaka lyoka sso si kuliisa bimera. Eriyo ennimiro eziteetaagibwamu nsalosalo, nga zino zibeera ku miseetwe myereere, gamba nga mu Lwera awatali mazzi ga kulugguka. <ref: www.wwf/lvceep> ==Ettaka n’endabirira yaalyo ng’otema ensalosalo== [Soil management by digging trenches] Ettaka lirina embeera erigwanyiza okuliyita eddamu oba eddungi era nga lisobola okufa oba okuggwaamu ensa singa terirabirirwa bulungi nga bwe kisanidde.Tulina okumanya n’okuyiga enkola entuufu egwanidde nga tukozesa enkumbi kku ttaka lyaffe okusobola okulikuuma nga ddamu. Nga tutegeka oba tulongoosa ekitundu ku ttaka okukifuula ennimiro anti tusooka kusaawa nsiko, kusambula, kukabala n’ebiring’ebyo, okusalamu oba kiyite okulamba ebitundu omunaabeera ensalosalo nga tweyambisa enkumbi. ‘’Ensalosalo za bika bino’’ [Fanya Ju] luno oba zino , ziba nsalosalo ezitemebwa obukiika mu nnimiro gamba olusooka, oluddako n’endala eziddirira ng’ogyeko olwo olusemberayo ddala ku nkomerero y’ennimiro, ettaka lyazo litemwa nga lisuulibwa oludda olw’ekyengulu anti ggwe wamma, emirundi nmingi ennimiro zaffe zibera kuba nneesulifu. N’olw ekyo, ensalosalo zino ziteekwa okubaamu ku miziziko mu ngeri esaanye okutangira ku misinde gy’amazzi oba mukoka. Waliwo ensalosalo ezibeera mu nnimiro nga tezirina we ziyingiriza mazzi mu nnimiro agaba gakulukuta wazira okutega ago gokka agaba gakungaanidde mu bitaba ng’enkuba nnyingi etonnye. [Fanya kini] luno lwe lusalosalo oluteekwa okusembayo wansi oba ekyemmanga, anti ggwe wamma n’entema yaalwo ey’ettaka tefaanana n’eri eya ziri zi [fanya ju], lyo ettaka lidda kyemmanga okutangira amazzi okujjula amangu ekiyinza okuluvirako okubooga. Emiziziko egitangira emisinde gya mukoka nga bwe twalabye waggulu, na muno gyetaagisa. Ekituufu kiri nti okutwalira awamu emiziziko gino, giteekebwa ku nsalosalo empanvu z’oyinza okuyita enkoloddoli kubanga ennyimpi tolina bw’ozikolamu ziveemu omugaso. Ensalosalo zino ng’ozitema, tezandibadde mpanvu nnyo okukka wansi, kubanga amazzi gaba geetaagisa okukola ku bimera byonna naddala ebyo ebiriira kungulungulu ng’ogyeko emiti. Yadde ng’ensalosalo ekigendererwa kyazo kutangira kukulugguka kwa ttaka, telusaana kusukka ffuuti emu oba emu n’ekitundu. bw’elusukkawo mpozzi ng’ogenderera kutangira butangizi kukulugguka kwa ttaka lyoka sso si kuliisa bimera. Eriyo ennimiro eziteetaagibwamu nsalosalo, nga zino zibeera ku miseetwe myereere, gamba nga mu Lwera awatali mazzi ga kulugguka. <ref: www.wwf/lvceep> JoyceNanjobe Kawooya