Ettalo teriba ddogo wabula nalyo kirwadde ekisobola okutta oba okujjanjabibwa ne kiwona nga kitwaliddwa mangu mu basawo "abazungu". Muwanga Charles ekirwadde kino nakyo yasalawo akivuunulire aboogezi b'olulimi oluganda baleme kulimbibwalimbibwa nti liba ddogo !

Septic arthritis

Ettalo (Septic arthritis oba Osteomyeritis) y’emu ku ndwadde ezikyatankanibwa naddala mu Buganda ng’abantu abamu bakyalina endowooza nti ettalo liba ddogo olwookuba lisajjuka mangu n’okutuuka ku kutta.

Osteomyeritis ye taminologia ya bannasayansi ennyonnyola embeera y’obulwadde obw’ettalo okuba nti kiva ku ggumba munda okulumbibwa obuwuka obuyitibwa bbakitiiria. Okulumbibwa bakitiiria kuyita mu musaayi oba ekinywa ekiriraanyewo okuyingira mu ggumba.

Ettalo liyinza n’okutandikira mu ggumba lyokka singa wabaawo obuvune(injury) obuleetera bbakitiria okuyingira mu ggumba naye teriba ddogo.

Mu baana ettalo litera okulumba eggumba ekisambi n’emikono so nga ate abakulu basobola okufuna ettalo mu magumba agakola ekikoggo(vertebrae). Abantu abalina sukaali(diabestes) bayinza okufuna ettalo mu bigere byabwe singa ebigere biba ne alusa.

Yadde nga abantu banji balowooza nti ettalo liba ddogo, ekituufu kiri nti osteomyeritis liyinza okujjanjabwa obulunji okuyita mu kulongoosa(surgery) okujjamu ebitundu by’amagumba ebifudde , okwo ne bagattako okujanjaba n'eddagala li antibayotiki ezikubwa n’empiso okumala wiiki nga mukaaga.

Okutwalira awamu ebimu ku bireeta amagumba munda okulumbibwa obuwuka(germs) ne kivaako endwadde z’ennyingo n’amagumba mulimu okulumbibwa obuwuka obuvaako ebirwadde nga osteomyeritis (ettalo mu Luganda) oba septic astethritis (ennyingo ezizimba nga ziruma).

Ettalo erisajjuka( septic arthritis ) lireetebwa bakitiiria staphylococcus oba streptococcus. Ate ettalo ery’olutentezi(chronic septic arthritis (lino teritera kulabika) lireetebwa obuwuka nga Mycobacterium tuberculosis ne Candida albicans.

Embeera zino zongera okuleeta obusobozi bw’okukwatibwa ettalo(septic arthritis:

• Amagulu oba emikono emipange mu mubiri

• Okulumbibwa bbakitiria wonna ku mubiri.

• Endwadde ez’olukonvuba (chronic irlness or disease) nga sukaali ( diabetes), ne sikoseero(sickle cerl disease)

• Empiso oba okukozesa ebiragallagala

• Ebiwundu bye wakafuna

• Okulongoosebwa okwakakolebwa mu nnyingo.


Obubonero obulaga ettalo mulimu :

• Olusujjasujja

• Obutatereera naddala mu baana

• Obulumi mu kifo awalumbiddwa bakitiria zino

• Okuzimba , okwokyerera n’okumyukirira mu kifo ekiba kirumbiddwa .

Obubonero bw’ettalo butera okweraga amangu ddala nga bweyolekera mu musujja, okuzimba ennyingo,naddala mu nnyingo emu yokka, omuli obulumi obw’amaanyi mu nnyingo eno obweyongera ng’otambuza ennyingo eyo. Mu bawere oba abaana abato obubonero bw’ettalo bulimu :

• Okukaaba nga ennyingo erumbiddwa obulwadde enyeenyezeddwa .

• Omusujja

• Obutasobola kutambuza kugulu oba omukono ogulumbiddwa obulwadde buno.

• Okuva mu mbeera amangu.


Obubonero mu baana n’abakulu mulimu:

• Obutasobola kujja mu kifo okugulu oba omukono ogulumbiddwa obulwadde

• Obulumi obw’amaanyi mu nyingo

• Okuzomba mu nnyingo

• Okumyukirira mu nnyingo

• Olusujjasujja

Kyokka olumu ettalo(osteomyeritis ) teriraga bubonero bwonna) bwoyinza kwawula mangu ku birwadde birala. N’olwekyo buli lw’owulira okulumizibwa mu gumba lyonna n’olusujjasujja dduka gya mbwa okulaba omusawo omukugu. Era bw’oba nga obadde wakafuna obuvune(injury) labirawo omusawo. Togenda mu basamize nga oliyita ddogo kuba buli lw’okola kino obulwadde buba bukula ng’ate tebuweeredwa bujjanjabi bwonna butuufu.

Torimbibwalimbibwa .Nkuwadde erinnya ly'ekirwadde ky'ettalo mu Lungereza osobole okwongera okukinoonyerezaako ofune ekituufu .Teriba ddogo !!!