Eva Magala
Eva Magala, yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 17 mu mwezi ogusooka mu mwaka gwa 1974)[1] nga muzannyi wa goofu ow'aba kyakayiga, ng'era ye ssentebe w'ekibiina ekigata abakyala mu muzannyo gwa goofu[2], ng'era yeeyalondebwa okubeera n'obuyinza bw'okudukanya ekikopo ekivuganyizibwamu amawanga ga afrika mu buvanjuba ne mu masekati ga Afrika.
Obulamu bwe mu kuzannya goofu
kyusaMagala yaleetebwa mu muzannyo gwa goofu eyali baawe omugenzi, nga yatandika okumuzannya mu mwaka gwa 1996.[1] Ng'omuzannyi, yazannyira wansi wa kiraabu ya Uganda eya goofu,[1] naakiikirira Uganda nga kapiteeni oba eyali akulembeddemu ttiimu y'eggwanga ey'abakyala mu mwaka gwa 2015.[3]
Mu by'obukulembezze, yawerezaako nga ssentebe w'ekibiina ekigata abakyala abazannyo b'omuzannyo gwa goofu mu Uganda.
Yakoowoola gavumenti okutereeza engeri eby'enjigiriza ng'eno y'engeri yokka esira gyebayinza okuliteeka ku by'emizannyo.[4]
By'azze awangula mu mpaka
kyusaOmwaka | Empaka |
---|---|
2018 | Nigeria Ladies Open |
2018 | 21st JBG Golf Open |
2019 | IBB Ladies Golf Championship |
Engule, nebimusiimuddwamu
kyusa- Mu 2018, yafuna ekirabo ky'omukyala w'omwaka eyali asinga okuzannya goofu nga kyamuweebwa ekibiina omwegatirwa banamawulire abasaka eby'emizannyo (USPA)[5]
- ↑ 1.0 1.1 1.2
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Sports/Golf/Magala-regrets-not-planning-pro-golf/690278-5020258-format-xhtml-j4n73w/index.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://kawowo.com/2018/05/15/eva-magala-ready-to-turn-around-the-uganda-ladies-golf-union/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://eagle.co.ug/2015/05/29/ladies-golf-team-optimistic.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230403182323/https://media.zaabuconsult.com/?p=1193 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.batanudde.com/gallery/2018-uspa-awards/