Evangeline Barongo
Evangeline Barongo Munnayuganda, muwandiisi w'akatabo k'abaana aka children's literature. Barongo ye mutandisi w'ekitongole kya Uganda Children’s Writers and Illustrators Association (UCWIA), omukutu oguleeta awamu abawandiisi b'obutabo bw'abaana, abakwasaganya etterekero ly'obutabo, abasomesa, ab'abfulumya obutabo n'abatunzi b'obutabo.[1] Mmemba mu kibiina kya Reading Association of Uganda (RAU), Uganda Library and Information Association ne International Board on Books for Young People (IBBY) Uganda chapter eky'atandikibwawo mu 2004.[2][3][4] Aweereza ku kakiiko ka National Book Trust of Uganda okuva lw'ekyatandikibwawo mu 1997.[5]
Obuto bwe n'emisomo gye
kyusaYasoma era n'atendekebwa ng'omusawo w'abaana era yakola omwaka gumu mu Bungereza oluvanyuma lw'okumaliriza essomo lye erya children's psychology. Oluvanyuma yafuna Dipuloma mu Library Science okuva mu Bayero University Kano mu Nigeria nga tannafuuka mukuumi w'ebitabo ku Yunivasite. Yakomawo mu Uganda mu 1986 okukola n'akakiiko k'abakuumi b'ebitabo aka Uganda Public Libraries Board ng'abwaddukanya etterekero ly'ebitabo by'abaana mu Kampala. Mu 1991, Barongo yawangula sikaala ey'emyezi ebiri ku International Youth Library mu Munich.[5]
Ebitabo by'eyawandiika
kyusaBarongo akoze ku pulojekiti z'abaana mu Sweden, South Africa, ne mu United States. Awandiika olungereza n'olulimi lwa nnyina Olunyoro. Obutabo bwe butundibwa mu mawanga g'Ebulaaya era bumuwanguzza Awaadi eziwerako nga mwemuli ey'omuwandiisi w'omwaka eya NABOTU author of the year mu 2008. Barongo yawummula emirimu gya Gavumenti naye alina edduuka ly'ebitabo mu Hoima era yyongerayo n'okuwandiika obutabo bw'abaana n'okwenyigira mu mirimu egiyigiriza abaana okusoma.
Emirimu egy'afulumizibwa
kyusaObutabo
kyusa- [6]
- [7]
- with H. Hoveka[8]
- with Ruth M. Mwayi[9]
- The ten foolish goats[10]
- Our escape from school discovered[11]
- We Are All Animals[12]
- Pilo and Joba[13]
- Who Owns The Fruit Tree[13]
- Kaheru the Orphan[14]
- How hare became a king [15]
- Ngonzaki and her decorated letters [16]
- Lazy crocodile and wise monkey[17]
- East Africa: Silent Partners[18]
- O meu nome é Criança da Rua, Pedinte ... Rosa[19]
Empapula
kyusa- "Silent Partners", 1997
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/614340-Kobs-eye-Super-8-fifth-straight-win.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2023-03-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.ibby.org/ibby-worldwide/index.php?id=460
- ↑ https://books.google.com/books?id=_US3DzLs_OwC&q=Evangeline+Barongo&pg=PA165
- ↑ 5.0 5.1 "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-22. Retrieved 2023-03-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.worldcat.org/oclc/810918732
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/70810633
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/435551387
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/40564290
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/999291175
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/747197613
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/747197419
- ↑ 13.0 13.1 "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-22. Retrieved 2023-03-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.worldcat.org/oclc/747197540
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/747197518
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/747197975
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/747197975
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/37536095
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/747284380
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
kyusa
- "Evangeline Ledi Barongo" Byaterekebwa nga 24 Ogwokubiri 2015 ku Wayback Machine
Lua error: Invalid configuration file.