Evelyn Anite Kajik, bangi gwebamanyi nga Evelyn Anite, muna'mawulire era muna'byafuzi omuna'Yuganda. Ye minista we'gwanga ow'ebyensimbi, okusiga sente nokuza ebintu mubwa nanyiini, mulungereza gwe bayita (State Minister of Finance for Investment and Privatization) mu Yuganda okuva nga 6 sebo aseka 2016.[1] Yawerezako nga minista w'abavubuka., Yalondebwa mu'kifo kino nga 1 mugulansigo 2015 bwe'yadda mubigere bya Ronald Kibuule, gwe'balonda okubela minista we'gwanga ow'ebyamazi.[2] Anite era akola ng'omubaaka wa Koboko Municipality, mu bugwa'njuba bw'omugaa Nile mu mambuka ga Yuganda.[3]

Evelyn Anite
Evelyn Anite

Ebyafaayo n'okusoma kwe

kyusa

Anite yazalibwa nga 11 musenene 1984, mu kyalo Adakado ekisangibwa mu Koboko District, kitaawe ye Steven Dravu, omukoozi wa Gavumenti atte maama we ye Sarah Wokoru Dravu, ali mu'byobusubuzi .

Anite asibuka mu bana'uganda abogeera olulimi olu Lugbara era ekifo kyabwe kiyingira ne'mu gwanga lya Democratic Republic of the Congo. Ayogera bulungi olu'Lugbara nolu'Kakwa. Yasoomera Arua Hill Primary School mu kusooma kwe okwa'sooka, Nasoomera ne Saint Mary's Ediofe Secondary School okuva mu siniya esooka okutusa ku y'okuna. Yamala nada Muni Girls' Secondary School, gyeya'somera siniya ey'okutaano kutusa ku y'omukaga. Alina diguli mu by'amawulire gye yasomera Uganda Christian University mu 2008.[3][4]

Mu Gatonnya wa 2018, Anite yawebwa ekifo okusomera Fletcher School of Law and Diplomacy eya Tufts University, mu Medford, Massachusetts, mu Amerika okusooma diguli eyokubiri mu nkolagana z'amawanga, mulungereza gyebayita (Master in International Relations and Diplomacy Programme).[5] Mu Kasambula wa 2019, Anite yatikirwa diguli okuva mu Tufts University ng'amaliliza okutukiriza byona ebyetagisa okutikirwa diguli eno.[6]

Gyenvudde'we mu kukola

kyusa

Nga yakamaliliza siniya yomukaga mu 2005, Anite yatandika okukola ng'omukozi wa radio mu Arua okutusa mu 2007 okuva 2006 okutusa 2010 yali akola ku Uganda Broadcasting Corporation (UBC) mu Kampala ekibuga ekikulu mu Yuganda. okuva 2008 okutusa 2010, yali akola ku Uganda Media Centre aga kiyambi w'ensonga za buli'omu kulw'enkolagana z'amawanga (Public Affairs Assistant for International Relations). Mu 2011, yesimbawo ku ntebe y'akiikilira abavubuka bomu'mambuka ga Yuganda. Yasinga abantu mwenda okwediza ekifo kino.[3][4] Nga 6 sebo aseka 2016, yalondebwa kubwa minista bw'egwanga kulw'okusiga sente n'okuteka ebintu mubwa nanyini.[7]

Ebitakwatagana

kyusa

Mu 2014, Anite yawanyisiganya ebiganbo ne Margaret Baba Diri ng'ono agamba nti Anite ayagala okutwala entebbe ye' mu Koboko.[8] Baba Diri yayongera nagamba nti Anite mugwira ayagala okusiga oku'buzabuza mu Koboko ne NRM. Ng'amudamu, Anite yagamba nti anonya kalulu mu Koboko okuyamba ku maama we Baba Diri omugugu gw'ebyobufuzi omuziito".[8]

mu mukutula nsanja wa 2014, mu kefubo k'ababaka ba NRM, ng'akalulu ka 2016 kabinda binda, Anite yaleta ekiiteso ekiirangilia President Yoweri Kaguta Museveni ng'anakwatira NRM bendera mu kalulu ka boona. Ekiteeso kino ekyagya nekimanyikibwa nga Ekiteeso kya Kyankwanzi ( Kyankwanzi Resolution), kyasanga akaseera akazibu mu ku'kyiyisawo.[9][10]

Ng'alaga lwaki awagilla okukyusa mu semateeka ku kugya ekomo ku myaka y'omukulembeze w'egwanga,[11] Anite yagamba nti yali afunye aba'mutisatisa oku'muta.[12][13][14] Kino kyawaliliza Gavumenti okumuwa abamu'kuuma.[15][16] Yayitta babaka bane abali bawakanya ebago lino abasiru abeyagaliza.[17]

Ng'ayogera mu kuwagira okugya ekomo ku' myaka, Anite yagamba nti NRM elina ababaka bangyi N'amagye gegwanga ku lusegere lwabwe.[18] Amagye ga Yuganda aga UPDF gegana bino ebyayogerwa.[19]

Mu baluwa ng'egenda wa President Yoweri Kaguta Museveni mu Kasambula wa 2018, Hamilton Telecom ya'wababira Anite olw'okuvola ekitongole ky'ebyempulizigana kino oku'kiremesa oku'gula Uganda Telecom (UTL).[20][21]

Mu kasmbula wa 2018, kigambibwa nti Anite yali adduse mu gwanga,[22] olw'okunonyelezebwako ebigambibwa nti yali asabye enguzi ya buwumbi 28 obwa Yuganda ku ba'musiga nsigo abawarabu.[23] naye yamala natwala olupapula lwamawulire luno mu mbuga z'amateeka olw'okumuwandikako ebiwandiko ebikyamu.[24]

Nga bamuwadde ekifo ku Tufts University, ekitundu kya bana Yuganda aba'beera mu Amerika batandiika okwe'mulugunya n'okwekalakasa nga basaba okuwebwa'kwe ekifo mu Yunivasite eno kusazibwemu.[25]

Baagamba nti Amerika telina kuwa bubudamo abbali benguzi nga bekweka mu by'okwongerayo emisoomo.[26] Tufts University yagaana okusaba kuno ng'egamba nti Anite tewali nsobi gyeyali akoze. Nebongelako nti ng'omusomi ku someero ly'amateeka, eddembe lye lilina okukumibwa mu.[27]

Obulamu bwe

kyusa

Anite yafumbirwa Allan Kajik, eyali akiikirira omukulembeze w'egwanga mu Kampala. Bagatibwa mu 2011 era balina abaana babiiri.[22]

Laaba Nebino

kyusa

Ebijulizo

kyusa
  1. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2020-06-25. Retrieved 2021-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2021-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 3.0 3.1 3.2 "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2021-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 4.0 4.1 "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-06. Retrieved 2021-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.softpower.ug/minister-anite-takes-leave-to-u-s-amid-shs-28bn-bribe-saga/
  6. https://www.monitor.co.ug/News/National/Minister-Anite-graduates-Parliament-US-university-Kajik/688334-5204372-gasb86/index.html
  7. https://www.scribd.com/document/314964607/New-Cabinet
  8. 8.0 8.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2021-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.monitor.co.ug/News/National/Kanungu-opposes-NRM-Caucus-resolution/688334-2290552-i25tmd/index.html
  10. https://ugandaradionetwork.com/story/nrm-caucus-electoral-commission-clash-over-sole-candidate-project
  11. https://www.softpower.ug/minister-anite-pulls-idi-amin-like-stunt-to-promote-anti-age-limit-campaign/
  12. https://theinsider.ug/index.php/2017/09/21/people-threatening-to-kill-me-like-kaweesi-anite/
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-28. Retrieved 2021-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2018-02-19. Retrieved 2021-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. http://www.sunrise.ug/news/201806/army-patrols-to-guard-age-limit-top-backers.html
  16. https://observer.ug/news/headlines/58158-why-policemen-hate-guarding-mps.html
  17. https://theinsider.ug/index.php/2017/09/27/anite-describes-mps-against-age-limit-removal-as-selfish-hooligans/
  18. https://observer.ug/news/headlines/54938-age-limit-army-is-on-our-side-says-minister-anite
  19. https://www.softpower.ug/dont-talk-for-us-updf-distances-self-from-anite-age-limit-bluff/
  20. https://chimpreports.com/anite-accused-of-failing-bidder-as-utl-storm-rages-on/
  21. http://www.pmldaily.com/news/2018/07/hamilton-lawyers-take-on-minister-anite-after-cabinet-fallout-in-utl-saga.html
  22. 22.0 22.1 https://theinsider.ug/index.php/2018/07/18/bribery-saga-minister-anite-flees-country-with-entire-family/
  23. https://observer.ug/news/headlines/57601-anite-runs-to-museveni-over-shs-29bn-bribe.html
  24. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1482774/anite-sues-local-newspaper-sh500m
  25. https://campusbee.ug/news/inside-minister-evelyn-anites-ugx-342-million-scholarship-in-america/
  26. https://edge.ug/2018/07/20/activists-pressure-american-university-to-dismiss-anite/
  27. https://ugandaradionetwork.net/story/tufts-university-declines-to-dismiss-minister-evelyn-anite