Chemutai Everlyn

Everlyn Chemutai yazaalibwa nga 12 Ogwekumi mu 1976 nga Mubalirize webitabo Omunayuganda ate era Munamateeka ali kukakiiko akakola amateeka. Abadde mukyala omubaka mu Paalamenti ya Uganda akiikirira Disitulikiti ya Bukwo okuva mu 2016.[1] Alina akakwate ku kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM).[2][1][3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Everlyn Chemutai yazaalibwa nga 12 Ogwekumu mu 1976. Yamaliriza P7 mu 1989 ku Chebinyiny Primary School. Yatuula S4 ku Gamatui Girls S.S.mu 1993. Oluvannyuma n'agenda ku Sebei College Tegere gyeyatuulira S6 mu 1997. Yafuna Dipulooa mu bya Bizineensi okuva kutendekero lya Uganda College of Commerce e Soroti mu 2000. Yeeyongerayo n'emisomo gye n'atikirwa ne Diguli mu Byokubala ebitabo okuva ku Yunivasite y'e Makerere mu 2012.[1]

Obumannyirivu mukukola

kyusa

Everlyn Chemutai yali mu myuka wa Mubalirizi wa Bitabo u kampuni ya Wilcon Enterprises E Soroti okuva mu 2001 okutuuka mu 2002. Yafuuka baasa w'esomero lya Moroto High School okuva mu 2002 okutuuka mu 2006. Yafuuka Omubalirizi w'Ebitabo mu pulojekiti z'etendekero lya Africa Leadership Institute okuva mu 2004 okutuuka mu 2011. Yeeyali Abala ebitabo oba atereka likodi mu kitongole ekivunaanyizibwa mu kulwanyiza obulwadde bwa siriimu mu Uganda ekya (TASO) Uganda okuva 2012 okutuuka mu 2015. Yafuuka Omubaka wa Paalamenti okuva mu 2016 okutuuka kati.[3] Ye mumyuka wa ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa kunsonga z'akawuka kamukeneya wamu n'omulwadde bwa siriimu.[4] Era y'omu ku bali ku kakiiko k'ebyobulimi, ebisolo n'obuvubi.[1][3]

Ebirala by'ayongeddeko

kyusa

Awagidde liigi z'omupiira gw'ebigere, awagidde ebibiina by'abakyala, awagidde ebibiina ebigatta abayizi ba yunivasite mu bitundu gy'asibuka.[3]

Everlyn Chemutai yeenyigira mu kalulu ka Paalamenti, ababaka mwebaalina okulonda oba emisolo gy'okuteeka ssente kumasimu gigibwawo oba nedda, nga ono yagamba nti ye giveewo.[5]

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=33
  2. https://web.archive.org/web/20210731045047/https://nrm.co.ug/staff/chemutai-everlyn/
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-12-07. Retrieved 2023-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.uk-cpa.org/media/2457/uganda-report-final.pdf
  5. https://archives.visiongroup.co.ug/vision/NewVisionaApi/v1/uploads/NV041018pg06.pdf