Ewakuumirwa Eggaali Y'omukka (Estacion) Bajo Hondo

Ekifo Ewakuumirwa Eggaali Y'omukka (Estacion) Bajo Hondo, kisangibwa ku lumu ku nguundo ebbiri ez'eggaali y'omukka ezaazimbibwa kampuni z'e Bulaaya ez'enjawulo nga zigenda mu maserengeta g'ekibuga Buenos Aires. Ekifo kino kisangibwa ku kyalo Bajo Hondo mu Municipaali ya Coronel Rosales.

Ebyafaayo

kyusa

Ebyafaayo by'ekifo kino, bifaanana n'ebyo eby'ebyalo/abibuga ebikiriraanye anti byonna byatondebwawo lwa nguundo z'eggali y'omukka okuzimbibwa mu bitundu ebyo.

Ekifo kino kyazimbibwa kampuni ya Bufalansa eyitibwa "Compagnie de Chemins de Fer Rosario-Puerto Belgrano". Kyaggulibwawo nga lumu Gatonnya 1910.[1]

 
Ekifo Ewakuumirwa Eggaali Y'omukka Bajo Hondo

Okubalukawo kwa ssematalo eyasooka kwakosa nnyo enzirukanya y'oluguudo lw'eggaali y'omukka

 

luno, anti Bufalansa yali tekyasobola kuluteekamu ssente. Mu 1948 gavumenti ya Argentina yalweddiza.[2]

Oluguudo lw'eggaali y'omukka luno, lwalekera awo okukola mu myaka gy'ensavu (1970s).

Mu myaka gy'ekyenda(1990s), Ekitundu ky'oluguudo luno eky'omumbambuka kyatandika okuddukanyizibwa kampuni ey'obwannannyini n'okutuusa kati. ekitundu ky'omumaserengeta tekikola olw'ensonga nti mu myaka gy'ekinaana (1980s), ekitundu ku luguudo luno ekweza Kilomita nga amakumi ana (40kms), kyayonoonebwa amataba.[3][4]



Akabenje

kyusa
 
Mu kifaanayi; ekika ky'ennyonyi eyatomera ekizimbe ekisangibwa ewakuumirwa/ewalindirwa eggaali y'omukka e Bajo Hondo.

Ku makya g'olunaku lwa Museenene 27 1930 (Nov 27 1930), ennyonyi y'amagye g'okumazzi, ekiwawaatiro kyayo kyatomera ekizimbe ekiri ewalindirwa eggaali y'omukka " Estacion Bajo hondo, ekizimbe ne kisaanawo, n'ennyonyi n'egwa n'ekwata omuliro nayo n'esaanawo. N'okutuusa kati ekizimbe kino tekizzibwwangawo. ( Ebisigala byakyo byebikyaaliwo).[5][6]




Biggyiddwa

kyusa
  1. http://www.histarmar.com.ar/Armada%20Argentina/ArsenalPtoBelgrano/FCRPB.htm
  2. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-10-01. Retrieved 2019-01-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://www.infonews.com/nota/11908/breve-historia-de-la-privatizacion-de-los
  4. https://www.pagina12.com.ar/diario/economia/subnotas/2-59593-2012-07-02.html
  5. http://lodelpampa.com.ar/Relatos/2015_FSRPB/2015_FSRPB_40_BajoHondoPringles.htm
  6. http://boletincaminosdehierro.blogspot.com/2011/12/caminos-de-hierro-en-bahia-blanca.html