George Lubega Timothy yazaalibwa nga 8, Ogwomukaaga mu 1990 nga munayuagnda oomuyimbi gwebamannyi nga Exodus erinya ly'okusiteegi. Yatandika okuyiba mu 2004 n'oluyimbalwe olwakwata abantu omubabiro lwebayita "Ganja Man".

Exodus at Record FM -97.7FM

Obulamu bwe

kyusa

Exodus yakuzibwa maama we yekka eyafa ng'alina emyaka 10 egy'obukulu.Yatwalibwa kitaawe eyalina abakazi abangi ng'alina bweyalina emyaaka 12. Exodus yalina okwegata ku kunguudo za Kampala oluvannyuma lw'okubeera nga yagaanibwa kitaabwe eya mukuba nga nekimukosa ne mu birowoozo.[1] Ku myaka 12 mu 1996, yatandika okulya mu kasasiro, okunywa enjaga okunuusa amafuta n'okusala ensawo kimuyambye okubeezaawo obulamu bwe mu Katwe, ku luguudo lwa Dewinton ne mukatale ka Owino gyeyali asibuka.[2] Mu 2001, yalekulira eby'okubeera kunguudo n'agenda e Nakulabye mu Kiyaaye ng'eno ye ne mukwano gwe, Dan Kimuli, baatandika obulamu obupya .

Yali Kimuli eyateesa okukyalako mu kanisa y'omusuumba Robert Kayanja eyitibwa ''Miracle Centre''. "Nali njagala okugezesa ku Yesu oyo gwebaali babuulira munjiri olunaku olwo, nga u sabiiti eyaddako naddayo obulamu bwangwe nembuwa Yesu " Exodus bw'agamba mu kajogijogi w'e bibuuzo eyamubuziibwa. Oluyimba lwe olwasooka ng'ali yekka ng'omuyimbi baluyita "Once a Ganja Man" ng'atotola olugendo lwe kunguudo za Kampala okutuuka bweyakyusibwa n'afuuka omugoberezi wa Kirisitu. Mu luyimba lwe "Once a Ganja man" anyonyola, " jukira enaku ezo ez'enjaga, bwetwafuweeta ng'enjaga"[3] Oluyimba luno lwafuuka lwatutumu mu kanisa, enkungaana n'ebivulu ebitaali bya ddiini. Oluyimba lwa ''Once a ganja man'' lwafuuka lw'amaanyi nerutandika okuzannyibwa ennyo ku mikutu gya leediyo ne ttivi okwetoloola ensi yonna. Ku myaka gye oluyimba lwe olwasooka okubeera nga lutegerekekwa lwasobola okuzannyibwa ku mukutu gwa ttivi ya MTV base, wabula ng'abaali beegata ku kisaawe ky'okuyimba emyaka mingi emabega nga balina ne ssente z'okuteeka mu pulojekiti zaabwe, bakyalemeddwa okubaako ennyimba zabwe nga zizannyibwa ku mukutu gwa MTV. Ng'alina oluyimba lumu, Exodus yawangula awaadi eziwerako okuva mu bitongole by'e ddiini n'akatabo ka Buzz.

Emirimu gy'okuyimba

kyusa
 
Exodus 2.jpg

Oluvannyuma lw'okusisinkana omusuuba Kayanja mu 2002, mu 2004 yafuuka omukulembezze era omuyimbi mu kwaya y'e kanisa. IGwali mwaka gwegumu Isaac Rucibigango (Rucci) mweyatwalira Exodus n'abalala babiri okwali; Bahati Nsereko ne Kenneth Tusubira, okutandikawo ekibiina ekiyitibwa Sauti band ekyalambula ng'amawanga g'omu ''Great Lakes region'' omuli amawanga nga Burundi, the DR.Congo, Ethiopia, Kenya, Malawi, Mozambique, Rwanda, Tanzania, Uganda ne Zambia

Yalambula Tanzania, Rwanda ne Kenya. Bweyali mu Kenya mu 2007, yalekulira Sauti. IMu 2008, bweyafulumya oluyimba lwe olusooka ''Ganjaman''. Oluyimba luno oluvannyuma lwafuuka lunene neruwamba Uganda n'okweyongerayo. Yalugobereza nerwebayita ''Addicted'', ''I am Walking'' n'olukyasinze okukwata omubabiro oluyitibwa, Igwe. Kati akola ku lutaambi lwe oluliko ennyimba 12. Ng'ennyimba nnya zokka zeeziri wansi we, Exodus atereddwa ku lukalala, era n'awangula awaadi eziwerako okusinga abayimbi bangi ababadde mu kisaawe ky'okuyimba okumala akaseera akawanvu. Mu 2009, yatekebwa ku lukalala lw'abaali bagenda okuvuganya ku awaadi ya MTV Africa Music Awards n'awangula awaadi nnya eza Buzz teen awards.[4] Yawangula ne awaadi za Groove awards ezisinziira mu Nairobi,[5] Mu Pearl of Africa Music Awards; yawangula awaadi bbiri eza Olive gospel awards era n'ateekebwa ku lukalala lw'abaali bagenda okuvuganya ku awaadi y'abayimbi b'ennyimba z'eddiini eya ''All Africa Gospel Music awards'' mu London ng'omu ku bafirika abaali basinga okuyimba ennyimba z'eddiini.

Obwanakyewa

kyusa

Exodus akola ng'omuyimbi akulira n'omubaka ow'eddembe mu kibiina kya Irene Gleeson Foundation (IGF) ekirina amakanda mu bukiika ddyo bwa Uganda. IGF kitongole kyabwa nakyewa ekirabirira abaana abaalina abajaasi abasoba 10,000. Nga 19 Ogwounaana mu 2012, Exodus yategeka ekivulu mu Kampala, Uganda, mu Victoria hall eya woteeri ya Serena Hotel okukungaanya ssente okuyamba abaana b'ekibiina kya IGF. Exodus yasanyusa abantu n'abayimbi okwali; Isaiah Katumwa, Maurice Kirya, Isaac Rucci, G Way, Hum Kay ne Tabu Flo. Byonna ebyavaamu byagenda mu kibiina ekyo.[6][7]

Obulamu bwe

kyusa

Exodus yawasa Brenda Mwanje.[8]

Awaadi nenkalala zebamutaddeko

kyusa
Omwaka Awaadi Etuluba Ebyavaamu
2008 Groove Awards Omuyimbo omunayuganda eyali asinga Template:Won
2009 Buzz Teeniez Awards Omuyimbi eyali asinga okuyimba ennyimba z'eddiini Template:Won
2009 Groove Awards Omuyimbi oba ekibiina ekyaali kisinga Nominee
2010 Groove Awards Omuyimbi eyali asinga mu mwaka ogwo mu Uganda Template:Won
2011 Buzz Teeniez Awards Teeniez Gospel Artiste Template:Won
2011 Olive Gospel Music Awards Omuyimbi omusajja eyali asinga Template:Won
2011 Groove Awards Omuyimbi w'omwaka eyali asinga mu Uganda Template:Won
2012 Olive Gospel Music Awards Omuyimbi eyali asinga mu kiseera ekyo Template:Won
2012 Groove Awards Omuyimbi w'omwaka mu Uganda Template:Won
2012 Groove Awards Vidiyo y'omwaka eya Alemba ne Exodus Template:Won
2012 Groove Awards Oluyimba lw'omwaa olw'ekika kya Ragga oba Reggae olwa Alemba ne Exodus Template:Won
2013 Buzz Teeniez Awards Oluyimba lw'abavubuka olwali lusinga okwokya Yateekebwa ku lukalala
2013 Groove Awards Oluyimba lw'omwaka mu Uganda Template:Won
2014 Buzz Teeniez Awards Oluyimba lwa ''Prophecy'' olw'abavubuka olwali lusinga okwokya Template:Won
2014 Groove Awards Omuyimbi w'omubuvanjuba ne mu masekati ga Afrika eyali asinga mu mwaka. Yateekebwa ku lukalala

Ewalala w'oyinza okubijja

kyusa

Ebijuliriziddwa

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-06. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://web.archive.org/web/20140714150943/http://www.ugandapicks.com/2012/06/exodus-ganja-man-10-things-you-didnt-know-about-him-65142.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://web.archive.org/web/20130805065337/http://www.buzzteenz.com/bta.html#
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-06. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://proggie.ug/exodus-in-concert-gospel-music-for-a-cause/
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-06. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://web.archive.org/web/20140826133826/http://www.sqoop.co.ug/features-profiles/exodus-is-spreading-the-gospel-in-church-and-club.html