Faridah Nakazibwe
Faridah Nakazibwe munayuganda nga munamawulire eyalondebwa okukulira eby'amawulire ku NTV Uganda okuva nga 31 Ogw'okusatu 2021. Yadda mu kifo kya Josephine Karungi, eyafuna omulimu mu Bbanka y'ensi yonna nga omukugu w;eby'empuliziganya eyebuuzibwako. Nakazibwe era musomi w'amawulire ag'oluganda era omwanjuzi wa Mwasuze Mutya pulogulaamu ebeera kumpewo ku Nation Television Uganda ne ginno waayo Spark Tv mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene.
Obulamu bwe obwasooka n'okusoma
kyusaNakazibwe yazaalibwa omugenzi Hajj Shakib Ssenyonjo ne Hajat Sarah Ssenyonjo, mu kitundu kati ekiyitibwa Sembabule District. Ye mwana ow'okubiri mu maka g'abaana munaana.
Yasomera mu Kisozi Boarding Primary School, mu Kisozi, Gomba District ng'atandika okusoma pulayimale. Ettaka ly'essomero lye bwe lyagulibwa pulezidenti Yoweri Museveni era ne lifuulibwa ekifo ewalundibwa ente Kisozi Cattle Ranch, Faridah yakyuusibwa n'agenda mu Bwala Primary School, mu kibuga Masaka, gye yafuna ebbaluwa ye ey'okumaliriza pulayimale. Oluvannyuma, famile ye yasengukira mu kibuga Masaka.
Yasomera ku Taibah High School, mu Kawempe, ekitundu ky'e Kampala, gye yafuna dipulooma ye ey'essomero lya High School. Oluvannyuma yagenda ku Islamic University In Uganda, e Mbale, mu Buvanjuba bwa Uganda, n'atikkirwa diguli esooka mu by'amawulire.
Emirimu
kyusaOluvannyuma lw'okumaliriza ddiguli mu by'amawulire, yatwalibwa ku mulimu mu WBS Television ng'omusasi wago. Emyaaka ebiri nga giyisieewo, yakyuusibwa n'adda ku NTV Uganda yafuna om,ulimu gw'okusoma amawulire ag'oluganda ku wiikendi.
Amaka
kyusaNakazibwe yafumbirwako Omar Ssali, munayuganda akolera mu nsi z'obuwarabu. Oluvannyuma bayawukana mu 2020.
Maama w'abawala babiri, kitaabwe ye Engineer Dan Nankunda gwe yasisinkana ku WBS Television. Okumala ebbanga eritaweza mwaka gumu, Nakazibwe yalina omukwano ogw'ekiseera ne Al Hajji Moses Kigongo, amyuka wa Ssentebe w'ekibiina eky'eby'obufuzi ekifuga ekya National Resistance Movement mu Uganda. Yakomya enkolagana eyo mu 2015.