Fauziah Nakiboneka
Fauziah Nakiboneka (yazaalibwa nga 15 Ogwokuttaano 1977) Munnayuganda omuzanyi wa firimu, muyimbi, muzinnyi w'emizannyo era omulwanirizi w'eddembe.[1][2] Ye muzannyi omukulu mu kibiina kya The Ebonies, ekimu ku bibiina bya Uganda ebitutumufu era ebiludde mu kuzanya emizannyo ku siteegi.
Obuto bwe
kyusaFauziah aka Fuzzy yazaalibwa mu Kyaddondo eri Hajji Abdul Bbosa ne Hajjat Zuriat Bbosa abe Masajja.
Yagenda mu masomero ga Victoria Kindergarten, Maim Street Primary School Jinja, Najjanankumbi YCS, Aga Khan High School ne Kampala International University.
Emirimu gy'okuzannya firimu
kyusaFauzia yegatta ku kolelero ly'okuzannya nga ayita mu kibiina kya Ebonies mu 1999, mu luwumula lwe olw'ekibiina kya siniya ey'omukaaga. Alabikidde mu mizannyo egiwereko omuli That's Life Mwattu, Kyeeko era ne kaakati mu OMG nga Sarah Gava. Mu 2014, Fauziah yalaga omuzannyo gwe ogwasooka ogw'ayittibwa Fauziah Nakiboneka Yani, (Who is Fauziah Nakiboneka) , negufuuka omuzannyo ogukyasinze okulagibwa wansi wa Screen-Night Ebonies' actors' segment.
Nakiboneka era yayolesa omuzannyo ogwayitibwa Sarah Gava Extravaganza Show nga 21 Ogwekkuminogumu mu 2019 ku Theatre Labonita nga bayimba, n'okuzina. Yegattibwako abayimbi mikwano gye nga Ykee Benda, Harriet Nalubwama (Nakawunde), Gravity Omutujju, Levixone, Halima Namakula, Patriko, Cindy Sanyu, Ne Band ya The Ebonies Akaalo Band omuli n'abalala.[3]
Ebonies
kyusaFauziah abadde mu kibiina kya Ebonies okuvila ddala nga muvubuka. The Ebonies ky'ekimu ku biina ebizanya firimu mu Uganda ebisinga obututumufu n'obukadde, kyatandika mu 1977 n'okusuka mu myaaka amakumi assattu mu kusanyusa bannayuganda n'ensi endala.
Okujjako firimu zabwe ezalagirwa ku Tv nga That's Life Mwattu, Bibaawo; These Things Happen, Kyekyo, Life Kyeki n'endala juuzi wanno, OMG. Ba Ebonies mu myaaka egisobba mu 35 bawandiika enyimba ezikyasinze okututumuka mu by'afaayo bya muziki we Uganda. Enyimba nga Twalina Omukwano negufa, Munyambe Ntukeyo - zonna z'awandiikibwa Ebonies.[4][5][6][7][8][9][10]
Eby'okuyimba
kyusaFauziah akoze ku nyimba ez'enjawulo nga omuyimbi atte nga omuwandiisi w'enyimba. Ezimu ku nyimba mwe muli Salary, Just A Woman[11] ne Together for Her. Enyimba za Fauziah ezisinga z'etoolodde ku kulwaanirira emisomo gy'abawala n'eddembe n'okuzaamu mu bakyaala amaanyi.
Mu 2016, yapangisibwa Plan International okuwandiika oluyimba ku baana abawala olwayitibwa Together for Her olwafulumizibwa Nessim ku Badi World.
Eby'okuyamba
kyusaFauziah abadde awagila ba Missionaries ba Poor Good Shepherd Home mu Mengo Kisenyi era ne Father Raymond Kids Home e Kabowa okumala emyaka kumpi 10 kati. Abayambye mungeri y'okubawa ebintu ebikozesebwa mu somero n'essente.
Fauziah era nga ye awanirira abana babiri Kizito 19 (emyaaka) okuva mu 2014 ne Diana 8 (emyaaka) okuva mu somero lya nursery.
Fauziah Nakiboneka Bursary z'okusoma
kyusaNga awagiddwa London College Nansana, Fauziah agabba bursaries mu masomero eri abayizi ba siniya amakumi abbiri (20) buli mwaka eri abayizi ababa basukulumye mu mizaanyo ejyenjawulo. Enkwatagana yatandika nga amaze okulaga omuzannyo gwe ogwa debut screen night show mu 2014.
Obulamu bwe
kyusaFauzia yali yafumbirwa muzannyi munne owa mu Ebonies Ronnie Kasobya gwe yasisinkana nga bakola ku muzannyo gwa siteegi ogwa 'Daisy'. Ababiri bayaniriza muwala waabwe mu mwaka gwa 2003.[12]
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ https://filmhackers.org/artists/fauziah-nakiboneka/
- ↑ https://web.archive.org/web/20180811004948/http://www.hipipo.com/home/2016/06/30/the-ebonies-in-an-enthralling-easter-production/
- ↑ https://www.showbizuganda.com/ebonies-star-fauziah-set-for-screen-night/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Fauziah-Nakiboneka-was-born-for-theatre/691232-2000932-unjftcz/index.html/
- ↑ https://web.archive.org/web/20200618161416/https://www.observer.ug/component/content/article?id=25112:ebonies-keep-the-drumbeat-royal
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1433098/ebonies-perform-unaa-convention-boston
- ↑ https://web.archive.org/web/20200619181544/https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/434746-1229684-w3b9hp/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1512021/excruciating-conundrum-ebonies
- ↑ https://www.monitor.co.ug/Magazines/Life/689856-796128-kbmr7sz/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20200619145806/https://www.bukedde.co.ug/kasalabecca/1466669/bukedde-akwataganye-ne-ebonies-okulwanyisa-obwamalaaya
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=bUROBeIVISE
- ↑ https://web.archive.org/web/20200619095057/https://www.bukedde.co.ug/kanyumiza/1404988/-omusajja-gwe-nazannya-naye-ebya-laavu-kati-ye-baze
Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya
kyusa- Fauziah Nakiboneka at IMDb
- Fauziah Nakiboneka ku Facebook