Fik Fameica
Fik Fameica amanyikiddwa nga Fresh Bwoy (Walukagga Shafik yazaalibwa nga 10 Ogwoluberyeberye 1996 mu Kampala), Munnayuganda omuyimbi wa rap era omuwandiisi w'ennyimba. Amanyikiddwa nnyo olw'obuyiiya bwayolesa mu bika by'ennyimba eby'enjawulo omuli Hip-Hop, Afrobeats, Afropop ne dancehall. Yamanyika mukuyimba okusooka mu 2015 ne "Pistol" wansi wa Black Man Town music label, ekikulemberwa omuyimbi Omunayuganda, Geosteady. Ennyimba ze ez'oluvannyuma, "Salawo" ne "Mbega Wa Bbaala" zaamuweesa kontulakiti ey'okukwata ennyimba ne Kama Ivien Management. Oluyimba lwe "Batuwulira" olwaddirirwa "Byenyenya" zamufuula omuyimbi Omunnayuganda eyasiinga okubukingibwa mu 2017. Fik yawaangula engule mu Uganda ne Mubuvanjuba bwa Afirika era n'awangula n'ekyomuyimbi Omunayuganda asinga obugaanzi mu 2017. Mu 2018, yatikkirwa ekya Breakthrough Artist, omuyimbi wa Hip-Hop asinga n'oluyimba lwa Rap olusinga "Kutama" ku HiPipo Awards ez'omwaka.[1][2]
Yeyongerayo n'ennyimba za kiraabu omuli "Mafia", "Property", "Sconto" ne "Tonsukuma". Mu 2019, yegatta n'omuyimbi omututumufu owe Nigeria Patoranking nebayimba oluyimba olw'amanyi "Omu Bwati"'.[3] Yatandika ekibiina ekyokuyimba eyitibwa Fresh Gang Records mu 2019 mwe baawandisiza abayimbi abenjawulo omuli Mozelo Kidz, abaddukanya ekibiina nga Big Sam n'abazinyi nga Wembley Mo, ne DJ Ranks Showmaster. Mu kibiina kino afulumiza ennyimba ze ez'oluvannyuma, "Muko", "Tevunya" (yaluyimba ne Sheebah), (Stupid) "Ndi Byange"(Buligita) nendalaand.[4][5]