Fille Mutoni
Fille Mutoni (eyazaalibwa nga 25 Ogwomusanvu 1991), muyimbi mu ggwanga lya Uganda akwata ennyimba. Afulumizza ennyimba n'abayimbi nga Radio ne Weasel ne Bruce Melody mu ggwanga lya Rwanda, n'abalala bangi.
Ekivvulu kye ekyasooka mu kuyimba kyaliyo mu Gwokusatu gwa 2018 mu kifo ekimanyiddwa nga Golf course Hotel era nga kyatambula bulungi nnyo. Yagenda e Bulaaya okutongoza olutambi lwe olumanyiddwa nga "Alter Ego" era n'agendako mu kibuga Paris, e Buswedi, Bugirimaani, Denmark ne mu ggwanga lya Budaaki.
Obuto bwe n'obuyigirize
kyusaFille Mutoni yazaalibwa Peter ne Odette Rwibasira nga 25 Ogwomusanvu, 1991, mu kitundu eky'Ebugwanjuba bwa Uganda. Bazadde be bombi basibuka mu ggwanga lya Rwanda. Yasomera ku Nakasero Primary School n'oluvannyuma n'agenda ku Lubiri Secondary School. Yamaliriza emisomo gye egy'eddaala lya A-Level era n'afuna dipulooma ku ssomero Standard High School erisangibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu eky'eggwanga lya Uganda. Yaweebwa ekifo ku St. Lawrence University (Uganda), okusoma diguli ya Bachelor of Public Administration.
Okuyimba
kyusaOluyimba lwa Fille olwasooka okukwatayo lwali "Where have you been at" lwe yafulumya mu 2013. Olwo nno yaluzzaako olwa "Gat no money" ne "Hello", lweyafulumya n'omuyimbi Bruce Melody ava mu ggwanga lya Rwanda.
Yakola ekivvulu kye ekisooka eky'ennyimba mu Gwokubiri gwa 2018. Agamba nti Juliana Kanyomozi ne Lauren Hill be bayimbi abamuyambye okufuuka ky'ali. Nga tannatandika kuyimba nnyimba za nsi, Fille yali muwala mu kibiina ky'abayimbi ku Rubaga Miracle Centre.
Ennyimba ze
kyusaLuno lukala olw'ekitundu olwoleka ennyimba Fille Mutoni z'afulumizza.
Amaka n'ebyomukwano
kyusaMu bigambo bye, omuyimbi Fille Mutoni agamba nti talina tatunuulira nnyo 'ssente' ng'abawala abasinga abali mu myaka gye bwe bakola nga bagwa mu mukwano, ky'ayagala ye muntu ow'amazima era omwesigwa. Mu kiseera kino yafumbirwa omwogezi nakinku ow'oku mikolo n'ebivvulu mu kibuga Kampala, Edwin Katamba amanyiddwa ennyo nga MC Kats. Abafumbo balina ezzadde ery'omwana ow'obuwala.
Bano nno bombi baasisinkana ku kivvulu kya 'Kadanke' ekimu mukwano gwe omu kye yali amuyiseeko okulaba abatiini nga beeyagala. Ye yali ayogerera ekivvulu era omukyala ono bwe yayimba, yayagala eddoboozi lye, olwo ne batandika okwogerezeganya n'okutuusa kaakano. Beesaba obufumbo mu mwaka gwa 2015 ku mukolo gwa Buzz Teeniez awards.