"Empalirizo" ky'ekigambo ky'Oluganda ekivvuunula "force" eky'Olungereza.Empalirizo kyatondekebwawo omunoonyerezi ku nzimba y'emiramwa gya sayansi mu Luganda ono nga Ofiisa wa Poliisi ya Uganda Muwanga Charles.

Forces can be described as a push or pull on an object

Empalirizo (forces) ziva ku kusika(pull), okusindika(push) oba okunyooreza(twist).N'olwekyo empalirizo kyekuusiza ku kusika, okusindika oba okunyooleza. Empalirizo ze ziviirako "okuva"(motion) okwa buli kika, ne bwe kuba kujugumira, kuseetuka yadde omugendo.Empalirizo ze ziviirako ebidduka okuva mu kifo era n'ensolo okutambula oba ekinyonyi okubuuka ziba mpalirizo.Empalirizo n'olwekyo zetaaga amasoboza(energy).

Mu essomabuzimbe(physics) , empalirizo zirina akakwate n'emiramwa nga "okuva"(motion), amasoboza(energy) n'amaanyi(power).

Mu butuufu empalirizo z'obutonde(forces of nature) n'ezitali za butonde za njawulo.Empalirizo zirimu: (i) Empalirizo z'essikirizo(gravitational forces) (ii) Empalirizo z'ensikirizo(forces of attraction).Muno mulimu empalirizo za magineeti(magnetic forces) n'essikirizo(gravity) (iii) Ekikuubagano(Friction) (iv)Ekikkatiro(compression) (v)Ekinyigirizo(Stress) (vi)Kawereege(Tension) (vii)Mu essomabibuuka(aeronautics) , waliwo empalirizo ezibeera ku bibuuka nga:

      (a) Ensukuma = empalirizo esukuma (the force of thrust).Ensukuma ebaamu "emsukuma eya    waggulu(upthrust) n'ensukuma eya wansi (down thrust).Ensukuma era oyinza okujiyita 

"amasukuma"=amasoboza agasukuma(energy of thrust).

     (b)Ensitula=Empalirizo esitula(the force of lift).Eno era oyinza okugiyita "amasitula"=amasoboza agasitula (energy of lift)
     (c) Obuzito(weight) oba essikirizo(gravity).Empalirizo y'essikirizo esika edda wansi ku ttaka
     (d)Ekiwalabanyo (drag).Eno mpalirizo egezaako okugugubira omugendo oba ensukuma (thrust)