Frank Mbalire muyimbi era mukubi wa nnanga mu ggwanga lya Uganda. Yali omu ku bammemba ba Afrigo Band.

Obuto bwe n'obuyigirize

kyusa

Mbalire yazaalibwa Joseph Yawe ne Dorotia Nambi e Natete mu kibuga Kampala.

Okuyimba

kyusa

Mbalire yeegatta ku Afrigo Band ku nkomerero y'emyaka gy'ensanvu (70s) ng'omukubi w'ennanga naye oluvannyuma n'agenda mu "Thames band", gye yayiiyizaoluyimba lwa "Bamuleete" ne "Sirikusuula". Yasenguka n'agendako e Buswedi okumala akaseera n'oluvannyuma n'adda mu Afrigo band. Mu mwaka gwa 2009, Mbalire yava mu Afrigo band n'atandikawo ekibiina kya "Misty Jazz band", ekirimu ne Moses Matovu era nga Kampala Casino ge baali bafudde amaka gaabwe. Yali mmemba mu kibiina kya "Blazing beats" ne Philly Lutaaya awamu ne Fred Kigozi.

Oluyimba lwe oluyitibwa "Ndikwambalanga Ekkooti" lwalondebwa ekitongole kya Bukedde ng'olumu ku nnyimba ezikyasinze okuba ez'omuwendo mu Uganda mu myaka amakumi ataano egiyise.

Ennyimba ze

kyusa

Ze yakuba yekka

kyusa
  • Bamuleete
  • Akanakakawalya
  • Ndikwambalanga Ekkooti
  • Sirikusuula

Entambi

kyusa
  • EAfrican songs, 1989

Ebijuliziddwa

kyusa