Fred Masagazi (1937–2009) yali Munnayuganda omuyimbi wa "Afrojazz".[1][2] Ye Munnayuganda omuyimbi eyasooka okuba n'oluyimba olwazanyibwa ku BBC, n'oluyimba lwe "Kolazizo", mu mwaka 1963.[3]

Okuyimba

kyusa

Masagazi yatandika okuyimba mu 1955 nga omuyimbi mu kibiina Kyabakongo, "Tinapa", mweyayimbira Olukongo n'oluganda.[4] Oluyimba lwe erwasooka lwali "Atanawa Musolo", lweyafulumya nga Uganda tennafuna bwetwaze mu 1961. Oluvannyuma yafulumya "Osaana Okole" mu 1962 ne "Lucy Tuula" mu 1963. Masagazi yali muyiiya w'ennyimba omukugu eyayimba okumala emyaka 50. Yali omu ku bayimbi ba Kadongo Kamu abatono abaali basobola okuyimba, okukuba gitta, n'okuzannyikiriza nga ayimba ku siteeji.[5] Yataandikawo ekibiina kye eky'okuyimba, ki "UK Jazz Band" mu 1963.[6] Ekibiina kye bwe kyasasika, yawalirizibwa okuyimba n'ebibiina eby'enjawulo nga "King Jazz Band", "Kampala City 6 Band" ne "BKG Band".[4] Oluyimba lwe "Atanawa Musolo" lwabalibwa Daily Monitor nga olumu ku "Nnyimba 50 ezitaggwako era ezikomyawo ebijjukizo" mu kimu ku bitundu bya lwo eby'ogera ku meefuga ga Uganda ag'omulundi ogwa 50.[7][8]

Ennyimba ze

kyusa

Ennyimba ze

kyusa
  • Atannawa musolo
  • Noonya Lukia
  • Osaana Okole
  • Lucy Tuula
  • Alululu
  • Ndiwuwo
  • Kyali Kyetagesa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. http://www.newvision.co.ug/D/8/13/673527
  2. http://allafrica.com/stories/200903040700.html
  3. http://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/830748/-/wgmv54/-/index.html
  4. 4.0 4.1 http://www.monitor.co.ug/artsculture/Entertainment/-/812796/812316/-/item/1/-/sowitg/-/index.html
  5. http://www.newvision.co.ug/D/9/507/673593
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2015-02-03. Retrieved 2024-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/Uganda-50--The-50-timeless-songs-that-bring-back-memories/-/1370466/1522580/-/qo738sz/-/index.htmlmonitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/Uganda-50--The-50-timeless-songs-that-bring-back-memories/-/1370466/1522580/-/qo738sz/-/index.html
  8. http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=20866

Ewalala gy'osobola okubigya

kyusa

Lua error: Invalid configuration file.