Geoffrey Wilfred Mupere Kiryabwire mulamuzi Omunnayuganda era munamateeka wa Kkooti ya Uganda Ejulirwaamu okuviira ddala mu Gwokutaano 2013.[1] Okwongereza ku ekyo, yawerezaako nga omulamuzi wa Kkooti ya Uganda Enkulu ekola kunsonga z'Abasuubuzi, nga y'akola nga eyali akulira etabi lino , okuviira ddala mu 2003.[2]

Obulamu bwe n'eby'enjigiriza

kyusa

Yazaalibwa mu myaka gya 1962 nga kitaawe yeeyali Jovan Kiryabwire ne maama we Mary Kiryabwire. Taata we ye Munnayuganda yekka eyasobola okuyitamu okubeera omusawo eyalina obukugu mu kulongoosa obwongo, nga maama we yali naansi.[3]

Yasomerako ku Nabumali High School okuviira ddala mu 1974 okutuusa mu 1978 nga eno gyeyatuulira S.4, nga tanaba kugenda ku Kings College Budo gyeyatuulira ebibuuzo bya S.6 okuva mu 1979 okutuusa 1980. Mu 1984, yatikirwa kutendekero lya Makerere University ne Diguli mu By'amateeka. Oluvannyuma, n'atikirwa okuva mutendekero eribangula mu by'amateeka erya Law Development Centre ne Dipulooma mu by'Okwenyigira mu Mateeka. Alina ne Diguli Ey'okubiri mu mateeka gyeyafuna okuva kutendekero lya University of London mu 1990.[4]

Emirimu gye

kyusa

Okuva mu 1991 okutuuka mu 1992, yali akola nga omumyuka wa munamateeka mu Minisitule y'amateeka wamu ne Saabawaabi wa Uganda. Okuva mu 1992, okutuuka mu 1994, yawerezaako nga saabawaabi wa gavumenti kunsonga z'amateeka agafuga abantu u ofiisi ya Munamateeka wa Uganda avunaanyizibwa ku by'okukola ku by'ebyapa wamu n'ensonga z'amateeka endala. Okuva mu 1993 okutuuka mu 1999, yakolako nga omuwandiisi wa kampuni wamu n'okubeera munamateeka awabula n'okukwasaganya ensonga ez'enjawulo mu kampuni ya yinsuwaleensi eya Pan World Insurance Company Limited (PWICO). Wakati wa 1999 ne 2003, yeeyali maneja era akulira kampuni ya PWICO. Yaweebwa eky'okubeera omulamuzi mutabi lya Kkooti ya Uganda Enkulu erivunaanyizibwa ku nsonga z'eby'obusuubuzi mu 2003,ekifo kyakyalimu n'okutuuka kati.[3][4]

Mu biseera by'okukola emirimu gy'obwanamateeka, abadde yeenyigira ku bukiiko bw'eggwanga bwa mirundi enna obwebuzibwako:[4][3]

  • Akakiiko akakulembera mu kuwabula n'okwebuzibwaako ku by'ensonga za baanka okulemererwa mu Uganda mu myaka gya 1990 nga gigwaako wamu n'entandikwa ya 2000.[5]
  • Bamemba b'akakiiko akawabula n'okwebuzibwaako mu by'okugula ennyonyi enkadde, ekyakolebwa amaggye g'eggwanga lya Uganda mu myaka gya 1990.
  • Omuandiisi w'akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z'okukwata obubu emisango gy'obumenyi bw'amateeka mu Uganda okuva mu 1993 okutuuka mu 1995.
  • Omuwandiisi w'akakiiko akeebuzibwaako ku by'ensonga z'okulumiriza abali b'enguzi mu kitongole ekiwoozi ky'omusolo mu Uganda.

Emirimu emirala

kyusa

Kiryabwire taata omufumbo. Ye ne mukyala we Winifred Kiryabwire bazadde b'omwaka ow'obulwala Mary Kirabo Kiryabwire.[3]

Mu 2009, Kiryabwire ne mukyala we baatandikawo ekibiina kya ekiyitibwa Jovan and Mary Kiryabwire Charitable Foundation (JMKF). TNga omulimu gw'ekibiina kino ogwaali gusooka gwaali gwakudabiriza ekifo webalongoseza obwongo mu ddwaliro ly'e Mulago, ng'eno Jovan Kiryabwire gyeyali akolera. Oluvannyuma ekibiina kino kyagujaawo ekirabo ekirina okuweebwa omukozi abeera asinze okukakalabya emirimu gyebalongozesa obwongo mutendekero lya Makerere University College of Health Sciences. Obuyambi bw'ebiseera by'omumaaso bagya kuba babuwa eri abaana abataliiko ayamba mu Disitulikiti y'e Pallisa.[6]

Laba nebino

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-14. Retrieved 2024-09-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://www.judiciary.go.ug/data/news/192/1312/Hon.%20Justice%20Kiryabwire%20Named%20International%20Mediator.html
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 https://web.archive.org/web/20240408143638/http://www.observer.ug/component/content/article?id=6152:body-2-soul-other-side-of-justice-kiryabwire
  4. 4.0 4.1 4.2 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-12-09. Retrieved 2024-09-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1311040/justice-kiryabwire-tips-ethics
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2018-09-18. Retrieved 2024-09-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)