Geoffrey Ogwaro

Munayuganda alwanirira eddembe ly'abantu abalya ebisiyaga.

  Geoffrey Feni Ogwaro, ng'oluusi ayitibwa Jeff Ogwaro, Munnayuganda, musiyazi era mulwanirirzi w'eddembe ly'abasajja abagalana n'ebasajja bannabwe.[1][2] Aweereza ng'omukubiriza ku nsonga z'eddembe ly'obuntu ne Ssemateeka era ng'omuyambi w'aomusomesa ku Ssettendekero wa Makerere.[3][4]

Emirimu gye egy'okulwanirira eddembe ly'obuntu kyusa

Ogwaro, ng'omusiyazi omuto, yatandiika okulwanirira eddembe ly'abasiyazi bwe yafuna omukisa okukolera mu kitongole ekirwanirizi ky'eddembe ly'abantu. Elinnya lye ly'alabikira ku lupapula lw'okumwanjo mu Mar. 1 issue of Red Pepper ng'omusajja omusiyazi, nga wakayita ennaku ntono bukya Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni assa omukono ku tteeka eliwakanya ebisiyaga.[5] Ogwaro akoze ku Pulojekiti z'abasiyazi eziwerako nga Sexual Minorities Uganda, Refugee Law Project ne the Center for Human Rights.

Emisomo gye kyusa

Ogwaro yasomera ku ssomero ly'abannamateeka mu Ssettendekero wa Makerere gyeyasomesa ng'omuyambi w'omusomesa oluvanyuma nga yakattikkirwa. Diguli ye ey'okubiri mu ddembe ly'obuntu ne Demokulasiya yagifunira ku University of Pretoria mu 2015.

Ettutumu n'awaadi ze yafuna kyusa

Mu 2012, Ogwaro, wamu n'abalwanirizi b'eddembe ly'abasiyazi basimibwa eyali Pulezident wa US Hillary Clinton olw'omulimu gw'abwe mu kuwakanya etteeka eryali liteekeddwawo nga lilagira kuttibwa eri abasiyazi bonna.[6][7][8] Ogwaro yali w'akubiri mu kulwanirira eddembe ly'obuntu mu mpaka z'okukuba ebifaananyi ku Yunivasite ya Pretoria.[9]

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwamu kyusa

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-09. Retrieved 2023-05-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.pbs.org/newshour/bb/uganda-gays-face-life-prison-law/
  3. http://www.arcusfoundation.org/stories-of-impact/lgbt/ugandan-civil-society-activist-speaks-lgbt-rights/
  4. https://aeon.co/essays/how-uganda-s-gay-rights-movement-braved-the-storm
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2017-02-17. Retrieved 2023-05-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.mambaonline.com/2012/08/06/hillary-clinton-honours-ugandan-lgbt-activists/
  7. http://www.ontopmag.com/article/12598/Hillary_Clinton_Honors_Uganda_Gay_Rights_Activists
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2017-02-18. Retrieved 2023-05-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2017-02-17. Retrieved 2023-05-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)