Gertrude Kayaga Mulindwa
Gertrude Kayaga Mulindwa munayuganda akola muterekero ly'ebitabo, nga yeeyali ow'okubiri mu baali bakulira eterekero ly'ebitabo erya Uganda, ng'era yeeyali akulira eterekero ly'ebitabo erya Afrika n'etendekero lya Information Association and Institution.[1] Alina n'ebifo by'obwa nakyewa ebiwerako ku bitongole ebitumbuula okuwandiika,n'okusoma oluzungu, wamu n'ebyo ebiwereza ku by'entereka y'ebitabo okwetoloola Uganda yonna.
Ebimukwatako n'eby'enjigiriza
kyusaMulindwa yasomera kusetendekero ly'e Makerere mu Uganda, wamu ne yunivasite ya Wales. Mu mwaka gwa 2019, yali omu ku baasooka okutikirwa nga bava ku semazinga wa Afrika kutendekero abakozi b'omu materekero g'ebitabo erya Public Library Association Leadership Academ.[2]
Okukola mu ggwanga lya Botswana
kyusaMulindwa yakolako ng'eyali akulira eterekero abawereza mu terekero ly'ebitabo mu ggwanga lya Botswana mu Gaborone, ng'era yayamba n'okulakulanya ebitabo ebiyinza okukola ng'eby'okulabirako mu ggwanga lino byebayita ''The Botswana Collection'', okuva muntandikwa y'emyaka gya 1980s, eggwanga lino bweryali likyali mabega mu by'ebugagga wamu ne tekinologiya.[3] Mu myaka gya 1990, ebitabo bino ebyali bikozesebwa ng'eby'okulabirako byafuna etutumu,sirwakuba nti baali babufulumya nnyo, mu ggwanga lya Botswana, wabula kubanga entegeka baali baziteeka munkola nadala ebyawandikibwa ne tekinologiya ng'aza kompuyuuta ezaali zikozesebwa, nadala okuteeka munkola namba y'akatabo mungeri y'okukamannya n'okukategeera gy'obeera oyinza okukagya oba okukafuna ng'okeetaaze. Emikutu gy'amawulire egy'enjawulo ng'egya vidiyo, gyatekebwa mu byali bikungaanyizibwa, nga kwekwali n'ebyali bifulumizibwa mu nimi ez'enjawulo; sirwakuba nti baali babifulumya wabula buli kimu baali bakiteeka kubutambi mu ggwanga lya Botswana, n'alipoota zonna ezaali ziraga okunoonyereza ezaakolebwa mu ggwanga lya Botswana zaatekebwa mu byali bikunganyiziddwa mu Botswana. Mulindwa yakubiriza okuterera obulungi ebyawandiikibwa nga bayita mu kukola, nga bayita mukukola ebitabo ebiyinza okukola ng'eby'okulabirako, sirwakubeera nti bibeera byeyambisibwa mu kumannya eby'ayita, wabula okubunyisa amagezi ku biki ebiriwo eri abantu b'eggwangwa byebayinza okukozesa n'ebisomebwa ebitono.[4]
Mu kwongerako ku pulogulaamu z'amaayi g'okuyigiriza n'okusomesa oluzungu, Mulindwa n'abakungu abalala baalwanirira pulogulaamu z'okusomesa oluzungu ku bakuliridde kiyambe okuzimba n'okukuuma obumannyirivu mu kwogera oluzungu n'okusoma eby'obuwanga mu Botswana. Obusenge by'okusomeramu mu byalo bwatekebwawo mu myaka gya 1980 n'egya 1990, okuyamba okulakulanya eby'obuwanga oba embeera esobola okusomerwamu, nga kino kyagyawo eby'okusomera mu materekero g'ebitabo mu byalo ebiri ewala n'okufuula ebitabo eby'okusoma nga bituuka kubuli mu. Mu mwaka gwa 2000, Mulindwa yanyonyola ebirungi ebiri mu busenge obwali bukoleddwa okusomerwamu bu byalo, n'alaga ebyali bizuuliddwa eri olukungaana lwa olwali mu ggwanga lya Yisirayiri.[5]
Emirimu mu Uganda
kyusaMulindwa yakomawo mu Uganda mu mwaka gwa, gyeyakolera ng'eyali akulira eterekero ly'ebitabo mutendekero lya Uganda Martyrs University, e Nkozi, okumala emyaka esatu. Oluvannyuma yafuuka eyali akulira eterekero ly'eggwanga lya Uganda ery'ebitabo.
Wadde tewali abateekamu ssente, ssaako nebizibu ebirala, obukulembezze bw'eterekero ly'ebitabo lino ery'eggwanga, liyamba abantu mu bitundu okudukanya ebifo byabwe gyebatereka ebitabo. Mulindwa yayogerako ku mukwano gw'eterekero lino ery'eggwanga wamu n'ebifo ebitono abantu gyebatereka ebitabo byabwe mu bitundu gyebabeera, "Tuteekawo enkola, tubabulira byebalina okugoberera nga biri ku mutindo, n'okufulumya obutabo obubasomesa engeri gyebayinza okudukanyamu ebifo gyebatereka ebitabo. Era bakola ogw'okudukanya ebifo gyebatereka ebitabobuli lunaku."[6]
Wansi w'obukulembezze bwa Mulindwa, eterekero ly'ebitabo mu Uganda lyatandikawo pulojekiti y'okumikutu ey'okutereka obutabo ng'okafuna buli w'obeera tnga yali n'ekitongole kya Amerika ekiyitibwa Anywhere Books. Ng'olina kompuyuuta eriko yintaneeti eyatekebwamu okufuna ebinwandiiko n'okubifulumya, ebitabo by'okumikutu byali bisobola okufulumizibwa nga bisabiddwa mu kyalo yonna gyebyali bituuse. Okutwala eterekero ly'eggwanga lya Uganda wabweru w'ekizimbe paka mu byalo nga balina tekinologiya omupya, eterekero ly'ebitabo lisobozesa abantu okufuna n'okutusibwako ebyawandiikibwa mungeri enungi ere eyeetagisibwa.[7]
Mulindwa ye muyuka wa ssentebe wa National Book Trust of Uganda, ekivunaanyizibwa ku by'okutumbuula okusoma mu Uganda nga bayita mu pulogulaamu ng'okuteekawo wiiki ey'ebitabo. Era y'omu kubatandikawo ng'era ye muwanika w'ekibiina kya Uganda Community Libraries Association-UgCLA, ng'awa abantu ebyawandiikibwa mu bitundu, ng'abayamba okutandika, okudukanya, n'okulabirira ebifo gyebatereka ebitabo. Ali ne kukakiiko akayigiriza abaana olusoma n'okuwandiika oluzungu ssaako n'okulwogerakebayita Ka Tutandike, ekitongole ky'obwanakyewa ekikubiriza okusoma, n'okulwanirira eby'obulamu by'abaana n'okufuna obw'enkanya mu eddembe lyabanaansi y'abanayuganda.
References
kyusa- ↑
{{cite book}}
: Empty citation (help)https://books.google.com/books?id=l-esDwAAQBAJ&q=african+library+and+information+associations+and+institutions%2C+gertrude+kayaga+mulindwa&pg=PA296 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://americanlibrariesmagazine.org/blogs/the-scoop/pla-debuts-african-leadership-academy/ - ↑ Mulindwa, G. K. (1987). "Botswana". Bibliographic Services Throughout the World. Paris: UNESCO.
- ↑ Mulindwa, G. K. (1998). "Preserving the Nation’s Documented Heritage – The Botswana Collection at The National Library Service". Botswana Notes and Records, 30, 177-180.
- ↑ Mulindwa, G. K. & Legwaila, M. I. (2000). "After Literacy, what next? The challenge of sustaining a literate environment in Botswana". IFLA Council and General Conference, 66. http://archive.ifla.org/IV/ifla66/index.htm
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&task=view&id=6210&Itemid=106 - ↑ Mulindwa, G. K. (2004) "The Digital Bookmobile Pilot Project". Development of Literacy and Non-Formal Education Through ICTs. Uganda National Commission for UNESCO. 48-50.