Glanis Changachirere nzaalwa z'e Zimbabwe alwanirira eddembe ly'abakyala. Yeyatandika era nga y'akulira etendekero lya Institute for Young Women Development (IYWD), nga ye mukwanaganya eyatandikawo African Women Leaders Forum. Memba w'akakiiko ka Steering Committee of the Zimbabwean chapter of the UN Women-supported African Women Leaders Network mu mwezi ogw'okusatu mu 2022.[1][2]

Obuvo ng'eby'enjigiriza

kyusa

Glanis Changachirere yazalibwa mu ttaka by'omubyalo bya Mashonaland Central Province mu Zimbabwe mu1983. Ms. Changachirere alina diguli ey'okubiri mu bikwatagana ku nkolagana y'amawanga (ekikula ky'abantu), eby'obufuzi n'ebikwatagana kunkolagana y'amawanga okuva mu University of Birmingham ne diguli munkola ya gavumeenti n'eby'obufuzi okuva mu Africa University.[3] Alina ne awaadi mu by'empuliziganya n'emikutu mikwanira wala okuva mu St. Francis Xavier University. Mu 2018/2019 yali mukugu mu by'enkolagana by'amawanga mu by'ekikula ky'abantu.[4]

Emirimu gy'akoze

kyusa

Glanis Changachirere yeyali avunaanyizibwa ku by'ekikula ky'abantu n'eddembe ly'abantu mu kitongole kya Youth Non-Profit Organization. Y'omu ku bamemba b'akakiiko akateesa ku pulojekiti ez'enjawulo mu World Movement for Democracy okuva mu 2015. Y'akulira n'etendekero lya Institute for Young Women Development okuva 2009.[5][6][7] Glanis Changachirere yemukwanaganya wa African Women Leaders Forum mu bitundu okuva mu 2015 okutuusa. Y'omu kubalamuzi 5 abavuganya kungule ya Politian of the Year Award mu 2022.[8]

By'awereddwa

kyusa

Mu 2013, Changachirere yafuna ekirabo kya 30 Under 30 Democracy Award okuva mu National Endowment for Democracy okumusiima mu by'okukulmebera emirimu gy'abakyala abato abeetaba mu by'obufuzi.[9] Mu 2016, yalondebwa ku bwa Reagan–Fascell Democracy Fellowship mu National Endowment for Democracy.[10]

Okulwanirira eddembe ly'abantu

kyusa

Ekibiina kye ekya Institute for Young Women Development (IYWD) kirimu bamemba abakazi 7,000 abatookwetoloola ebyalo n'ebitundu by'abalombe mu ggwanga. Ekibiina kino kifunye ekigendererwa kyayo nga kikulakulanya obusobozi bw'abakyala bano abato ku by'eddembe n'okubyetabamu, obwegasi, okuzimba ekisinde n'okubeera n'emigabo egy'omugundu kibasobozese okwenganga n'okukola entegeka y'amaanyi, okulwanirira banaansi n'okubeera obumu mu mirimu gy'omubitundu n'abantu abalala abalina endowooza ezizimba wamu n'ebitongole eby'enjauwulo.[11] Ku mutendera gw'eggwanga, IYWD ekola n'ekitongole ky'e Zimbabwe ekivunaanyizibwa ku by'ekikula ky'abantu Zimbabwe Gender Commission okutandikawo akawaayiro ku bwenkanya mu kikula ky'abantu Gender Equality Bill okuvuganya ku butali bwenkanya mu by'obuwangwa n'obutali bwenkanya eri abakyala abato mu ggwanga.[12][13] Awagira eky'okuyisa eteeka erirwanirira okukomya obutabanguko mu maka mu ggwanga ly'e Zimbabwe nadala ku kikula ky'abantu.[14][15]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220928105732/https://youngwomeninstitute.net/index.php/who-we-are
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://africa.unwomen.org/en/news-and-events/stories/2021/03/ten-african-women-leaders-we-admire
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.forum2000.cz/en/people/glanis-changachirere
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.movedemocracy.org/person/glanis-changachirere-zimbabwe
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.forbes.com/sites/geekgirlrising/2022/03/11/salesforce-cfo-amy-weaver-on-leading-with-kindness-and-authenticity/
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.movedemocracy.org/person/glanis-changachirere-zimbabwe
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220928105730/https://www.ned.org/fellows/ms-glanis-changachirere/
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.oneyoungworld.com/oyw-politician-year-award/judges-2022
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.ned30under30.org/glanis-changachirere/
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.movedemocracy.org/person/glanis-changachirere-zimbabwe
  11. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220928105732/https://youngwomeninstitute.net/index.php/who-we-are
  12. {{cite web}}: Empty citation (help)https://africa.unwomen.org/en/news-and-events/stories/2021/03/ten-african-women-leaders-we-admire
  13. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.movedemocracy.org/person/glanis-changachirere-zimbabwe
  14. {{cite web}}: Empty citation (help)https://africa.unwomen.org/en/news-and-events/stories/2021/11/16-women-championing-the-fight-against-gbv-in-east-and-southern-africa
  15. {{cite web}}: Empty citation (help)https://africanarguments.org/2020/12/the-gendering-of-violence-in-zimbabwean-politics/