Godfrey Walusimbi (yazaalibwa nga 3 Ogwomusanvu 1989) Munnayuganda,omukugu mu kusamba omupiira nga azannya ng'omuzibizi wa ttimu ya Uganda ey'eggwanga. Ye munnayuganda eyasooka okuzannya emipiira egisoba mu 100 mu mawanga g'ebulaaya.

Emirimu gye mu Kiraabu

kyusa

Mu Gwomukaaga 2011 Walusimbi yagenda mu Sweden mu kugezesebwa okwa ssabiiti bbiri ng'ali ne Allsvenskan ne ku mabbali BK Häcken.[1]

CS Don Bosco

kyusa

Mu Gusooka 2013, yalekulira Bunamwaya okwegatta ku ttiimu ya DR Congo CS Don Bosco. Oluvannyuma lw'okumala emyezi egiwerako ne ttiimu eyo, yasazaamu endagaano ye olw'embeera embi z'eyali akoleramu. Yakomawo mu eyali tiimu ye SC Villa.[2]

Gor Mahia

kyusa

Mu Gwekkumineebiri 2013, Walusimbi yeegatta ku Nnantameggwa mu Liigi ya Kenya eya babinwera Gor Mahia gyebaali batendekerwa eyaliko omutendesi wa ttiimu y'eggwanga eya Uganda Bobby Williamson.[3]

Kaizer Chiefs

kyusa

Mu Gwomunaana 2018, Walusimbi yadda mu Kiraabu ya South African Premier Division eya Kaizer Chiefs, nga yakola endagaano y'amyaka esatu.[4][5] Emiwendo kweyatundibwa gy'ali 4,400,000 ezaSouth African rand.[6] Omupiira gweyasooka okuzanyira mu liigi eno gw'aliwo nga 18 Ogwomwenda 2018, nga yamalako eddakiika kyenda mu buwanguzi bwa ggoolo 2–0 webaali bakyalidde Free State Stars.[7] Mu Gusooka 2019, Walusimbi yalekulira Kiraabu, n'enteekateeka ez'okudda ku butaka bwe mu Uganda.[8][9]

Vllaznia

kyusa

Mu Gwomwenda 2019, Walusimbi yeegatta ku Albanian Superliga, KF Vllaznia Shkodër ku ndagaano ya mwaka gumu.[10] Kunkomerero ya sizoni yalekulira Kiraabu eyo.[11]

Emirimu gye mu nsi z'ebulaaya

kyusa

Nga 4 Ogwomwenda 2010, Walusimbi yasamba omupiira gwe ogwasooka mu ttiimu ya Uganda ey'eggwanga mu mpaka z'okusunsulamu abaneetaba mu kikopo ekiwakanirwa amawanga ga Afrika mu 2012 nga baali bavuganya ne Angola nga yadda mu kifo ky'omusambi Nestory Kizito eyali afunye obuvune.[12] Nga 16 Ogwokuna 2011, yayambako ku ttiimu ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 23 okutuuka ku buwanguzi obwa goolo 2–1 mu mupiira ogwasooka era nga bawangula Tanzania mu mipiira gyonna egy'okusunsulamu nga yateeba ggoolo ye eyasooka eyali empitirivu.[13] Nga 4 Ogwomukaaga 2011, yateeba Guinea-Bissau mu muzannyo ogwali gusembayo mu kusunsulamu abanetaba mu kikopo kya 2012 ekiwakanirwa amawanga ga Afrika. Ggoolo ye eyasooka mu ezo ez'ateebebwa 2–0 ezawanguza cranes okutuuka ku ntiiko y'ekibinja kya J mu kisaawe eky'ali kikubyeko ekya Mandela National Stadium

Ebibalo by’emirimu

kyusa

Template:Updated[14]

Endabika ne ggoolo okusinziira ku ttiimu y’eggwanga n’omwaka
Ttiimu y'eggwanga Omwaka Apps Goolo
Uganda 2009 6 0
2010 12 0
2011 14 1
2012 13 2
2013 11 0
2014 8 0
2015 4 0
2016 9 0
2017 14 0
2018 7 0
2019 7 0
Okugatta 105 3

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. Kaweesi, Fred (19 June 2011).
  2. https://web.archive.org/web/20131224105224/http://en.starafrica.com/football/uganda-godfrey-walusimbi-confirms-gor-mahia-interest.html
  3. http://www.goal.com/en-ke/news/4539/transfer-zone/2013/12/19/4489605/gor-mahia-sign-ugandan-defender-walusimbi
  4. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1484776/godfrey-walusimbi-joins-kaizer-chiefs
  5. https://www.kawowo.com/2018/08/30/walusimbi-completes-move-to-kaizer-chiefs/
  6. https://www.goal.com/en-us/news/breaking-kaizer-chiefs-complete-signing-of-godfrey-walusimbi/1xo0gwcv5u9vf1q5652p2l1pum
  7. https://int.soccerway.com/matches/2018/09/18/south-africa/psl/free-state-stars/kaizer-chiefs/2859017/
  8. https://www.goal.com/en-za/news/kaizer-chiefs-release-godfrey-walusimbi-after-signing-reeve/arfsz4fpsmjo177vyvwnk9j19
  9. https://www.kawowo.com/2019/01/31/kaizer-chiefs-lay-off-walusimbi/
  10. Sang, Kiplagat (3 September 2019).
  11. https://www.kickoff.com/news/articles/south-africa-news/categories/news/premiership/chippa-united-deny-transfer-interest-in-godfrey-walusimbi/684333?gallery=684077&gallery-page=2
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2011-07-26. Retrieved 2022-12-10.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://web.archive.org/web/20110419082131/http://www.razor.ug/sports/kobs-engage-tanzanians/
  14. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named rsssf

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa
  • Godfrey Walusimbi at Soccerway
  •  

Template:Uganda squad 2017 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2019 Africa Cup of Nations