Grace Akello
Grace Akello (yazaalibwa mu 1950) Munnayuganda Omutontomi, omuwandiisi w'emboozi empanvu, omuwandiisi w'ennyimba ennansi era munnabyabufuzi.[1] Ye ambasada wa Uganda mu nsi ya India.[2][3]
Obuto bwe n'ebyensoma
kyusaDinah Grace Akello Muteeso (Iteso),era yazaalibwa mu bitundu ebiriraanye ekibuga Soroti, ekisangibwa mu Buvanjuba bwa Uganda. Yasoma bya kuweereza na kuyamba bantu (Social Administration and Social Work) nga Ddiguli eno yagisomera ku Makerere University mu Kampala. Mu 1979, yabeerako e Tanzania bwe yali adduse ekibambulira kya Gavumenti ya Pulezidenti Idi Amin era yaliyo ng'omunoonyi w'obubudamu.[4]
Emirimu gye
kyusaYakolako ng'omukuŋŋaanya w'akatabo ka maagaziini akaafulumiranga e Kenya n'e Tanzania mu kiseera nga tannagenda Bungereza. Bwe yatuuka e Bungereza awo mu myaka gy'ekinaana (1980s) yafuuka omumuka w'omukuŋŋaanya w'ekitongole ky'amawanga agaaliko mu luse lwa Bungereza ekya Commonwealth Secretariat. Ekifo kino Akello yakirimu okuva mu 1983 okutuuka mu 1990.[4]
Ebyobufuzi
kyusaMu 1990, Grace Akello yadda ku butaka e Uganda n'akola akakiiko akaaluubirira okutaasa Abateeso (Teso People) abaali bagobwa ku ttaka lyabwe kw'ossa okuttibwa ku mulembe gwa Idi Amin Dada. Akakiiko kano kaaliwo okutuusa mu mwaka gwa 1996.[4] Mu 1996, yafuuka Omubaka wa Paalamenti ya Uganda era mu 1999 yalondebwa okubeera Minisita w'ekikula ky'abantu, abakozi n'enkulaakulana.[5]
Okuva mu 1999 okutuuka mu 2006, yali Minisita mu Kabineeti y'eggwanga Uganda. Yali Minisita w'obwegassi n'okutereka / Microfinance Initiatives okuva mu 1999 okutuuka mu 2003, era n'afuuka Minisita w'Amambuka ga Uganda okuva mu 2003 okutuusa mu 2006.
Grace Akello yafuuka Ambasada wa Uganda mu Italy, ng'abeera mu kibuga Rome oluvannyuma n'afuuka Ambasada wa Uganda mu India ng'atuula mu kibuga New Delhi.
Litulica
kyusaMu 1992, yawandiika ekitontome kye yatuuma "Encounter"(Okweŋŋanga). Era ayongera n'agamba nti oluyimba lwe olwa My Barren Song lwavuganya mu mpaka za Margaret Busby's Daughters of Africa, era nassibwa mu ttuluba ly'abakazi abawandiisi abakuukuutivu mu Afrika.[6]
Bye yawandiika
kyusa- Iteso Thought Patterns in Tales, 1975
- My Barren Song. Dar es Salaam, Tanzania: Eastern African Publications, 1979
- Self Twice-Removed: Ugandan Woman, London: Change International Reports, 1982
Obulamu bwe obw'omunda
kyusaGrace Akello yafumbirwa, Hugh Mason, mu 1983. Baazaala abaana abalenzi bana (4) nga babeera mu maka gaabwe mu Uganda ku nkingizzi z'ekibuga Kampala .[1]
Ebijulizo
kyusa- ↑ 1.0 1.1 https://books.google.com/books?id=Y-TMhtk5AUYC
- ↑ https://web.archive.org/web/20190406192558/https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1468071/grace-akello-uganda-ambassador-india
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-06. Retrieved 2021-04-09.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 4.0 4.1 4.2 http://portsmouth.anglican.org/fileadmin/images/pompey_chimes/2007/2007-02p8-9.pdf
- ↑ http://conferences.ifpri.org/2020africaconference/advisory/bios.asp#akello
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/9780224035927"Encounter", in Busby, Margaret, ed. (1992). Daughters of Africa: An International Anthology of Words and Writings by Women of African Descent from the Ancient Egyptian to the Present (1st ed.). Jonathan Cape. pp. 638–39. ISBN 9780224035927.