Grace Kaudha, era amanyiddwa nga Grace Hailat Kaudha Magumba, (yazaalibwa nga ennaku z'omwezi 14 Ogwekkumi 1986) yali munnabyabufuzi wa Uganda era omubaka eyali akiikirira abakyala mu disitulikiti y'e Iganga mu Ppaaliyamenti ya Uganda ey'ekkumi mu mwaka gwa 2016.[1] Yali alina akakwate ku kibiina kya National Resistance Movement.[2] Yafiira mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital e Kawempe ku Lwomukaaga nga ennaku z'omwezi 1 Ogwomusanvu 2017 ku ssaawa munaana[3] Kigambibwa nti okufa kwe kwava ku mbeera mu lufuutifuuti eyitibwa Pre-eclampsia eyaleetebwa obuzibu bw'olubuto.[2] Yaziikibwa ku kyalo Magogo, mu ggombolola y'e Nawaningi, mu disitulikiti y'e Iganga.[4]

Obuweereza bwe

kyusa

Yali mubaka omukyala owa disitulikiti y'e Iganga eyadda mu bigere bya Kabaale Kwagala Olivia, era yaweereza ku kakiiko k'amateeka, eby'empisa n'ebintu ebiweebwa abantu olw'obuweereza bwabwe. Era yaliko ne ku kakiiko akokola ku by'ekikula ky'abantu, emirimu wamu n'okwekulaakulanya.[5]

Obulamu bwe

kyusa

Yali mukyala wa Ibrahim Tooto era nga alina omwana omu.[6]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. https://ugandaradionetwork.net/story/iganga-woman-mp-passes-on
  2. 2.0 2.1 https://www.independent.co.ug/ugandan-woman-mp-kaudha-dies-child-birth-complications/
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/iganga-woman-mp-grace-kaudha-dies-1709570?view=htmlamp
  4. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?title=Special:ContentTranslation&campaign=contributionsmenu&to=lg&from=en&page=Grace+Kaudha&targettitle=Grace+Kaudha
  5. https://observer.ug/news/headlines/53732-iganga-woman-mp-passes-on-while-giving-birth
  6. https://www.pmldaily.com/news/2017/07/iganga-woman-mp-dies.html

Emiyungiro gy'obubaka egy'ebweru

kyusa