Grace Freedom Kwiyucwiny, also Grace Kwiyucwiny, Munnayuganda. munnabyabufuzi aweereza nga Minisita omubezi ow'aBukiikakkono nwa uganda mu Paalamenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo kyo nga 6 Ogwomukaaga 2016.[1] Era yaweerezaako nga Omubaka mu Paalamentiomukazi akiikirira Disitulikiti y'e Zombo.[2]

Kwiyucwiny Grace Freedom.jpg

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Zombo, West Nile sub-region, mu ttundutundu lye Bukiikakkono bwa Uganda. Yasomera ku Lower Zombo Primary School ne Warr Girls School mu bigezo bye ebya Uganda Certificate of Education(UCE), y'atwalibwa ku Tororo Girls School okusoma okukola ebigezo bye ebya Uganda Advanced Certificate of Education(UACE). Yasomera ku Yunivasite ya Makerere, nga yatikkirwa Diguli mu ngeri abantu gye beyisaamu eya Bachelor of Arts in Social Science, Dipuloma ey'enyongerza eya Postgraduate Diploma in Management ne Diguli ey'okubiri mu kukwasaganya bizinesi eya Master of Business Administration.[3]

Emirimu gye

kyusa

mukulembeze omukozi mu Disitulikiti ye, naddala mu bakyala. yaweerezaako nga Sentebe w'akakiiko k'abakyala b'eNebbi. Yesimbawo ku kifo ky'omukyala owa Nebbi mu Paalamenti naye n'awangulwa. Oluvanyuma lw'okwawulwa kwa Disitulikiti y'e Zombo, yaddamu ne yesimbawo era n'awangula mu 2011. Yaddamu n'alondebwa mu 2016. Yawangulwa mu kulonda kwa 2020 ku kifo ky'omubaka omukazi akiikirira Disitulikiti y'e Zombo mu Paalamenti. Yye yali omukazi Disitulikiti y'e Zombo gw'eyasooka kulondebwa mu Paalamenti ng'ava mu Konsituwensi eyo, okuva lw'eyayawulwa okuva ku Disitulikiti y'e Nebbi mu 2009.[2] Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa mu kifo kya Minisita omubeezi ow'aBukkikakkono bwa Uganda.[4]

Obuvunaanyizibwa bw'alina

kyusa

Ekimu ku bye yaweebwa okukwasaganya nga Minisita omubeezi ow'oBukiikakkono bwa Uganda, kwali kulondebwa ku kakiiko akanoonyereza ku byali bigambibwa ku kutema ekibira kya Zoka mu Disitulikiti y'e Adjumani. Ttiimu y'abana bano yalondebwa Ssabaminisita Ruhakana Rugunda, era nga yali ekubirizibwa Mary Karooro Okurut, Minisita owa guno na guli mu ofiisi ya Ssabaminisita. Ba mmemba abalala nga Betty Amongi, Minisita w'ebyettaka, amayumba n'enkulakulana ne Sam Cheptoris, Minisita w'amazzi n'obutonde bw'ensi.[5]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2016-10-07. Retrieved 2023-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1015495/zombo-woman-mp
  3. http://www.monitor.co.ug/News/National/Who-are-the-new-faces-in-Museveni-s-Cabinet-/-/688334/3237208/-/mc8gbv/-/index.html
  4. https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet
  5. http://businessguideafrica.com/ruhakana-rugunda-appoints-four-ministers-to-probe-zoka-forest-plunder/