Grace Tubwita
Grace Tubwita Bagaya Bukenya (née Grace Tubwita), nga amanyikiddwa nga Grace Tubwita, mukayala munnayuganda, mukubi wa pulaani era munnabyabufuzi. Ye ssentebe w'ettendekero ly'abakubi ba pulaani erya Uganda Institute of Physical Planners.[1]
Obuto bwe n'emisomo gye
kyusaGrace Tubwita yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Nakasongola era ayogera olulimi olumanyikiddwa nga (Ruluuli). Yakiikirira Disitulikiti ye mu Paalamenti ya Uganda ebisanja bibiri eby'omuddiriŋŋanwa mu Paalamenti 7 (2001 - 2006) n'eyo 8 (2006 - 2011), ku kaadi y'ekibiina kyebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM). Yagibwa mu kifo kino mu kalulu k'ekibiina era nga yawangulwa Margaret Komuhangi, gwe yali yawangula,[2] emirundi ebiri mu 2003 ne 2015.[3]
Ebirala ebikulu
kyusaTubwita atuula ku bukiiko obukulembera Kkampuni ez'enjawulo omuli Uganda National Oil Company, ne national oil ekitongole ky'amafuta ekiweereza eggwanga.[4][5] Era mmemba ku kakiiko akakwasaganya ebibira aka National Forestry Authority (NFA), nga nakyo kitongole kya Gavumenti nga bwekyalangirirwa eyali Minisita w'ebyamawulire n'okuluŋŋamya eggwanga, Rose Namayanja, nga 17 Ogwomusanvu 2014.[6] Mu Gwomwenda 2016, Tubwita Grace Bagaya Bukenya yaweebwa Awaadi ya "Parliamentary Medal of Honor" mu kwagala okusiima obuweerezabwe mu Paalamenti ya Uganda.[7]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-03. Retrieved 2023-03-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Margaret_Komuhangi
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1283471/nakasongola-woman-mp-tubwita-loses-nrm-primaries
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Parastatal
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1416576/uganda-national-oil-company-seeks-recruit-executives
- ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/national-forestry-authority-gets-new-members-to-the-board-of-directors
- ↑ http://eagle.co.ug/2016/09/22/besigye-byanyimas-generals-oyite-ojok-rwigyema-parliament-medal-list.html
Ebijuliziddwamu eby'ebweru Wakipedya
kyusa