Hadija Namanda oluusi eriwandiikibwa nga Hadijah Namanda yazaalibwa nga 18 Ogwekkuminogumu, 1975, munayuganda eyakuguka mu by'emizannyo. Ye mukyala eyasooka okubeera omukulembeze mu byafaayo bya Uganda Volleyball Federation (2017-2021) . Ye nnannyini Tena Tennis Academy era akola ng'omuwanika wa African Volleyball Confederation (CAVB) mu East Africa. Hadijah era akola mu kitongole ekya Voter Data Management mu Uganda Electoral Commission.

Obulamu bwe obwasooka

kyusa

Ye mwana asooka mu baana omusanvu ab'omugenzi Sawuya Naggayi ne Abdu Ssenyondo ab'omu Disitulikiti y'e Masaka. Hadija yagenda mu ssomero lya Shimoni Demonstration School ku Pulayimale ne Gayaza High School era neyeyunga ku Makerere University okufuna diguli ye esooka. Hadija mu kiseera kino asoma diguli ey'okubiri mu Sports Management German sports University of Cologne.

Emirimu

kyusa

Hadija yafuna ekitiibwa eky'obwa Pulezidenti owa Federation of Uganda Volleyball Federation nga 9 Ogusooka 2017 ng'asikira Sadik Nasiwu mu bigere. Mu Ogwekkumi 2020, Hadija yavuganya mu kibiina kya Confederation of African Volleyball (CAVB) naye teyafuna buwanguzi oluvannyuma lwa gweyalli avuganya naye okuva e Lesotho okumuwangula. Namanda yetabye mu mizannyo egiwerako, omuli ne table tennis, gye yafuna ekifo eky'omwenda mu Afirika mu 1996, ne badminton. Ye mutendesi wa A Level II FIVB Volleyball eyakakasibwa era diifiri wa Volleyball ku mutendera ogwensi yonna.[1]

Amaka

kyusa

Ye maama wa Tendo Mukalazi ne Kirabo Namutebi.

Ebyawandiikibwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named auto

Enkolagana ez'ebweru

kyusa