Halimah Nakaayi
Halimah Nakaayi yazaalibwa nga 16 Ogwekumi mu 1994[1] nga munayuganda aduka emisinde gy'okwetoloola ekisaawe ng'esira asinga kuliteeka mu mita 800.Ye kyampiyoni w'empaka z'ensi yonna egya 2019, n'awngula n'omudaali gw'ekikomo mu z'ensi yonna ezaali ez'okudukira mu kisaawe ky'omunda mu 2022. Nakaayi y'alina likodi y'e Uganda eya mita 800 mu z'okudukira mu kisaawe ky'omunda wamu n'ebweru, wamu ne mu gya mita 1000.
Yavuganya mu gya mita 800 mu mizannyo gya Olympics egyali mu kibuga Rio mu 2016, wamu ne mu gy'e Tokyo mu 2010 nga gyombi yatuuka kuluzannya oludirira olw'akamalirizo.[2][3]
Emirimu gye
kyusa2011–2017
kyusaKu myaka 16, Halimah Nakaayi yawangula egya mita 400 mu mizannyo gy'amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza egyaali egy'abavubuka mu 2011, nga gyategekebwa mu Douglas, Isle of Man.
Mu 2012, yaduka oulundi ogw'okubiri ogwali ogwa kiromita 10 ez'emisinde gimubuna byalo ku bikujuko by'okujagulizaako emyaka 50 egy'ameefuga ga Uganda. Oluvannyuma lw'okusumusibwa n'ava mu ky'okutaano okudda mu ky'okubiri, yamala esaawa nnya ng'asiza ku byuma nga tamannyi biri kunsi.[4]
Nakaayi yeeyakwatirira bendera ya Uganda mumikolo egyali gigalawo empaka za Olympics ezaali mu kibuga Rio mu 2016.[5]
Mu mwaka ogwaddako, yakwata kifo kyakubiri mu misinde gya mita 800 egyali egy'abakugu mu mizannyo gya Islamic Solidarity Games nga yadukirawo obudde bwa saawa 2:01.60. Mu mpaka z'ensi yonna eza 2017, Nakaayi yawandulwa okuva mu mpaka zino ku mutendera ogudirira ogw'akamalirizo ng'awezezza esaawa 2:01.74.
2018–2021: Nantameggwa wa mita 800
kyusaMu 2018, yakwata kyakuna mu mita 800 mu mpaka z'okulukalo lwa Afrika ng'adukiddewo obudde bwa saawa 1:58.90. Yawangulwa, 1–3, eri abadusi Caster Semenya, Francine Niyonsaba, ne Habitam Alemu ku butikitiki 0.04 bwokka.[6]
Mu 2019 Ogwomunaana, Nakaayi yawangula omudaali gw'ekikomo mu mpaka z'emizannyo gy'okulukalo lwa Afrika emabega wa Hirut Meshesha ne Rababe Arafi.
Mu mwezi ogwagoberera, yafuuka nantameggwa wa mita 800 mu mpaka z'ensi yonna ezaali mu kibuga Doha, ekya Qatar, n'ayongera ku likodi ye eya Uganda ey'edakiika 1:58.04. Yamenyawo Raevyn Rogers, eyali akozesezza amaanyi amaanyi okusobola okuwangula feeza ng'adukiddewo edakiika 1:58.18, ate Ajeé Wilson yakwata kya kusatu ng'adukidde edakiika 1:58.84. Nakaayi yeegatibwako mu fayinolo munywanyi we Winnie Nanyondo eyali mu ky'okuna.[7]
Oluvannyuma lw'okufuna obuvune mu viivi, yasobola kutuuka ku luzannya oludirira olw'akamalirizo, mu mpaka z'emizannyo gya Olympics egyali gyongezeddwayo mu 2020 mu kibuga Tokyo n'obudde bwe bweyadukira obw'esaawa 2:04.44 (2:00.92 mu mpaka ezo).[8]
2022 okutuusa kati
kyusaNakaayi yavuganya mu mpaka za mirundi ena ez'amita 800 ez'ensi yonna ezaali ez'okudukira mu kisaawe ky'omunda, n'ayongera ku likodi ye eya Uganda ey'okudukira munda emirundi esatu. Ng'adukira mu Karlsruhe, Val-de-Reuil, Liévin, ne Toruń, Yamalira mu bifo okwali, 1–1–2–2 mu bitiibwa, ng'asinga kudukirawo obudde bwa dakiika 1:58.58 mu Liévin, yawangulwa Natoya Goule ku busekoonda 0.12 n'edakiika 1:59.55 zeyateekawo mu Bufalansa.[1][9] Yakwata kyakubiri mu Toruń mu z'okwetoloola emirundi esatu ng'adukidde edakiika 2:00.19 ng'eno Tigist Girma enzaalwa za Ethiopia ng'alina emyaka 19 yagyenkana, nga bombi bali mabega wa Catriona Bisset eyali omwangu okubasinga obusekoonda 0.03 (photo finish).[10] Mu Gwokusatu, Nakaayi yawangula omudaali gw'ekikomo mu mpaka z'okudukira mu kisaawe ky'omuda ezategekebwa mu kibuga Belgrade mu budde bwa dakiika 2:00.66, emabega wa Wilson (1:59.09) n'omuEthiopia Freweyni Hailu (2:00.54), abaayisa Nakaayi nga tanatuuka ku kasaze webaali bagenda kumalira. [11] Yawangula bulungi naye nga Goule ali mu kyakuna ate Bisset mu kyakutaano.[12]
Ku mpaka z'ensi yonna ezaali mu kibuga Eugene, mu Oregon mu Gwomusanvu, teyasobola kugenda kuluzannya lwa kamalirizo oluvannyuma lw'okukwata eky'omunaana mu luzannya lwe oludirira olw'akamalirizo ng'adukiddewo edakiika 2:01.05.Mu mwezi ogwaddako, Nakaayi yakwata kyamunaana mu mpaka z'abakugu mu mizannyo z'amawanga agali mu luse omulu ne Bungereza ezaali mu kibuga Birmingham.[1]
Empaka z'ensi yonna
kyusa1 Yasazibwamu ku z'akamalirizo
Bw'asinze okukola ng'omuntu
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 https://worldathletics.org/athletes/uganda/halimah-nakaayi-14431159
- ↑ https://web.archive.org/web/20160826092054/https://www.rio2016.com/en/athlete/halima-nakaayi
- ↑ https://web.archive.org/web/20210817025112/https://olympics.com/tokyo-2020/olympic-games/en/results/athletics/athlete-profile-n1466186-nakaayi-halimah.htm
- ↑ https://spikes.worldathletics.org/post/halimah-nakaayi-dream
- ↑ https://stillmed.olympic.org/media/Document%20Library/OlympicOrg/News/2016/08/2016-08-21-Rio-2016-Closing-Ceremony-Flag-Bearers.pdf#_ga=1.38774955.960241524.1472057934
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-24. Retrieved 2022-12-11.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://olympics.com/en/news/halimah-nakaayi-once-you-have-a-dream-fight-for-it
- ↑ https://www.independent.co.ug/nakaayi-runs-below-2-minutes-in-new-world-best/
- ↑ https://worldathletics.org/competitions/world-athletics-indoor-tour/calendar-results/7162583/result?eventId=10229579&gender=W
- ↑ https://worldathletics.org/competitions/world-athletics-indoor-tour/calendar-results/7162650/result?eventId=10229579&gender=W
- ↑ https://www.letsrun.com/news/2022/03/ajee-wilson-wins-800m-gold-at-world-indoor-championships/
- ↑ https://www.worldathletics.org/competitions/world-athletics-indoor-championships/world-athletics-indoor-championships-7138985/results/women/800-metres/final/result