Hanifa Kawooya (yazaalibwa nga 21Gatonnya /January,1957) Munnayuganda, munnabyabufuzi era mukulembeze. Mubaka Omukazi mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Sembabule. Kawooya ali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM).

Gyava n'ebyobuyigirize

kyusa

Mu 2004, yatikkirwa Ddiguli ye esooka mu by'enkulaakulana eya Bachelors Degree of Arts in Development Studies mu Nkumba University. Oluvannyuma mu 2007 yatiikirwa Ddiguli eyookubiri (Masters) ekywata ku nkwatagana ez'amawanga ag'enjawulo eyitibwa Master of International Relations and Diplomacy nga yagisomera mu Yunivaasite y'emu.[1]

Emirimu n'olugendo lwe olw'ebyobufuzi

kyusa

Okuva mu 1993-1995, yali mukiise mu lukiiko lw'eggwanga Uganda olufuzi olwa National Assembly. Wakati wa 1998-2002, ye yali akulira eby'empuliziganya ku lukiiko lw'abakyala olwa National Women Council. Okuva mu 1980 okutuuka mu 1992, yaweebwa omulimu era n'aweereza nga kitunzi wa kkampuni y'ennyonyi eya Uganda Airlines n'eya Zambia Airways. Okuva mu 2016 okutuusa leero, abadde mubaka mu Paalamenti ya Africa eya Pan African Parliament. Hanifa era yakolako ng'omuwanika w'akabondo k'ababaka ba Paalamenti ab'ekibiina kye eky'ebyobufuzi mw'ali ekya National Resistance Movement. Era yaliko Omukubiriza w'olikiiko lwa Disitulikiti y'e Sembabule. Yakolako mu kitongole ky'eggwanga eky'emisola ekya Uganda Revenue Authority ng'akola nga Senior Principal Revenue Officer mu 2001. Yakolako ng'omumyuka wa RDC (Deputy Resident District Commissioner) owa Disitulikiti y'e Rakai. Okuva mu 2001 okutuusa leero, abadde Mmemba mu Paalamenti ya Uganda.

Obuvunaanyizibwa obulala bwe yakola

kyusa

Aweereza ne ku:

  • Mmemba ku kakiiko ka Paalamenti akafaayo okugaba emirimu eky'enkanyi
  • Mmemba ku kakiiko ka Paalamenti ak'ensonga z'ebweru.

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa

 

Akalandirwako

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2020-07-04. Retrieved 2021-04-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)