Hannington Muhumuza Wacha (yazaalibwa mu Gwomukaaga nga 15, 1988), era amanyikiddwa nga Producer Hannz oba Hannz Tactiq, munnayuganda akola ku nyimba z'ekika kya hip hop ne Dancehall era DJ. Y'akulira Kampuni Hannz Records esangibwa eMakindye, mu Kampala. Akoze n'abayimbi ba Uganda abasinga mu nyimba za hip hop ne dancehall omuli Navio, Rabadaba, Dr. Jose Chameleone, Bebe Cool, Sheebah Karungi, Mun-G n'abalala bangi.[1]

Emirimu gye

kyusa

Hannz yatandiika situdiyo ye mu kazigo kamu ku Yunivasite. Oluvanyuma yegatta ku Audio Institute America (AIA) mu US gy'eyatandikira okukuguka mu maloboozi wamu n'okufulumya ennyimba.[2]

Mu 2017, Hannz ne Dave Dash baatandikawo ladiyo y'omutimbagano eyamanyikibwa nga “IAM RADIO” eyagenderera okumanyisa abantu ku nkozesa y'ebiragalalagala ebiri mu bavubuka, okuzaamu abavubuka amaanyi nga bayita mu kubanyumiza gy'envudde waabwe okusobola okubayamba era n'okubasomesa era nga bwe bakulakulanya enyimba za Uganda.[3]

Obulamu bwe

kyusa

Hannz Tactiq mwana w'akusatu mu Famire y'abaana bataano. Kitaawe omukuza nga mugenzi kati Mwami John Turwomwe (R.I.P) ne nnyina Mukyala Linda Peel baamutwala ku masomero omwali Kitante Primary, Makerere College, Namasagali, Taibah College. Y'amaliriza emisomo gye mu Yunivasite ya Nkumba gy'eyatikkirwa Diguli mu by'empuliziganya.[4]

Enyimba z'akoze

kyusa
  • Owakabi by Jose Chameleone 2012(Co-Written, Produced and Mixed)
  • Bring it On by Jose Chameleone 2013(Produced and Mixed)
  • Gira Tugire by Mun G 2013 (Produced and Mixed whole Album)
  • Tebakusobola by Yung Mulo 2014 (Produced and Mixed Whole Album)
  • Muliwa by Apass 2015 (Produced and mixed)
  • Kasta Omanyi Mun G and Nutty Neithan 2015 (Produced and Mixed)
  • Step Pon Floor by Atlas and Mighty son 2010(Written, Produced, Mixed Whole Album)
  • Koi Koi by GNL Zamba 2009 (Produced and Mixed Whole Album)
  • Young Cardamon & HAB “Kanda [Chap Chap]”
  • Bwekiri - Rabadaba
  • Mukyamu - Rabadaba
  • Sesetulla - Baboon Forest Entertainment Mun G
  • Teli Aluleeta - GNL Zamba
  • Breathe-Na-Na-Na-Na-Na - Jackie Ft DJ Langona
  • Nkwata Nkwata - Mighty Son
  • Shankarabarabi - Mun-G
  • Banyirira-Kampala-Gals - Allan Toniks
  • Omu ku Omu Navio - Feat. Yung Mulo[5]

Filimu z'azannye

kyusa
Omwaka Filimu n'emizannyo gy'okuttivi Omulimu Ebikulu eby'okumanya
2016 Queen of Katwe Film Soundtrack Music arranger and Producer Walt Disney production
2014 Bullion Van Film Soundtrack and music Producer Feature Film
2010 Kakibe Kki TV Series Soundtrack TV Series on NTV Uganda

Awaadi n'empaka z'avuganyizaamu

kyusa
Awaadi n'empaka z'avuganyizaamu
omwaka Awaadi Essa Eby'avaamu Ebijuliziddwamu
2015 Buzz Teens Award Teens best Collaboration featuring Mun G and Nutty Neithan Template:Won
2014 HiPipo Music Awards Best Audio Producer Template:Won
2013 Buzz Teens Award Teens best Producer of the year Template:Won
2012 Buzz Teens Award Teens best Producer of the year Template:Nom
2011 Buzz Teens Award Teens best Producer of the year Template:Nom
2010 Pam Awards Producer of the Year Template:Won
2009 Pam Award Producer of the Year Template:Nom

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2017-07-23. Retrieved 2022-11-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2017-05-19. Retrieved 2022-11-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://ejazzug.com/ex-drug-addict-dave-dash-starts-radio-station-help-addicts-quit/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2017-05-19. Retrieved 2022-11-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://bigeye.ug/navio-and-yung-mulos-video-for-omu-ku-omu-is-impressive/