Harriet Businge
Harriet Businge, yazaalibwa nga 12 Ogwekumi mu 1980 nga musomesa Omunayuganda omukug mu nabyabufuzi ng'ate munamateeka atuula ku kakiiko akakola amateeka.
Obulamu bwe
kyusaBusingye y'akiikirira abantu ba Disitulikiti y'e Hoima nga Omubaka Omukyala owa Paalamenti ya Uganda. Yayingira Paalamenti oluvannyua olw'okuwangula akalulu ka 2019 akaali ak'okujuza ekifo ky'Omubaka w'e Hoima Omukyala, ng'eya eyali asinga okumuvuganya yali Asinansi Nyakato eyali agidde mu kibiina kye by'obufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC).[1] Y'omu ku bali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National resistance movement, ekibiina ekiri mu buyinza bwa Uganda, nga kidukanyizibwa HE Yoweri Kaguta Museveni, pulezidenti w'eggwanga lya Uganda nga y'akola nga ssentebe wakyo[2] Nga twolekera okulonda kwa bonna okwa 2021, yawangulwa mu kamyuufu ka NRM akaali ak'okulonderako eyali agenda okukwatira ekibiina kino bendera nga Beatrice Wembabazi yeeyamusinga, era okukakana nga yeesimbyeyo nga talina kibiina mu kalulu ka bonna.[3]
Okusoma kwe
kyusaBusingeyatandika okusoma pulayimale ku Kikangara primary school gyeyatuulira ebigezo bye ebya P7 mu 1992, Oluvannyuma yeeyongerayo ku Kyebambe Girls secondary school e Fort Portal mu Disitulikiti y'e Kabarole, ng'eno gyeyatuulira ebigezo bye ebya S4 mu 1996. Oluvannyuma yeegata kutendekero ly'abasomesa erya National teachers college e Masindi ng'eno gye yatikirwa ne Dipulooma mu eya bulijo mu b'okusomesa mu 2001, nga oluvannyuma mu bulamu, yeegata ku Yunivasite y'e Nkumba, gyeyatikirwa ne Didguli mu Byobusomesa mu 2007.[2]
Obumannyirivu b'awalina mu mirimu
kyusaHarriet yatandika emirimu gye nga eyali akulira esomero lya Good Samaritan nursery and primary school mu 1995, nga okuva mu 2005 okutuuka kati, y'akulira kampuni ya Multi constra engineering works limited, okuva mu 2007 okutuuka mu 2009,yakolako nga minisita w'eby'enjigiriza, abavubuka n'ebyemizannyo mu Bw'omukama bwa Bunyoro Kirata mu bitundu bya Uganda ebya Bugwanjuba, y'akulira enteekateeka y'eby'ensiimbi ey'eby'enjigiriza bya Kabalega, ekifo kyabaddemu okuva mu 2009. Yali ayamba ku by'obulamu, n'okukubiriza abantu mu Disitulikiti ye Hoima okuva mu 2011, okuva mu Gwokutaano, okutuuka mu Gwomwenda mu 2018. Yali akola mu gavumenti z'ebitundu ng'avunaanyizibwa ku by'enkulakulana (RDC), owa Disitulikiti ye Sembabule, nga abadde Omubaka wa Paalamenti okuva mu Gwomwenda 2019, okutuusa kati.[4][5][1]
Obutabanguko
kyusaMu kalulu k'ekibiina kya National Resistance Movement ak'okulondawo agenda okukiikirira ekibiina kino mu Disitulikiti ye Hoima, Businge baali bamulumiriza okubeera nga yalumba eyali asinga okumuvuganya ku ky'Omubaka wa Paalamenti Beatrice Wembabazi. Abaali banoonyeza Businge akalulu baalumba Wembabazi ku kifo kya Runga landing site nga mu kakuubagano akaaliwo, yafuna ebinuubule eby'amaanyi nadala ku mutwe n'agenda n'atwalibwa nga tamannyi nabigenda mu maaso kunsi.Kino kyawaliriza ssentebe w'akakiiko k'eby'okulonda mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) Dr. Tanga Odoi okuyimiriza okulonda kuno mubunambiro.[6][7]
Ewalala w'oyinza okubigya
kyusaEbijuliziddwaamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 https://www.pmldaily.com/news/politics/2019/09/profiles-who-is-who-in-the-hoima-woman-mp-by-election.html
- ↑ 2.0 2.1 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=551
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/hoima-woman-mp-harriet-businge-loses-nrm-flag-to-rival-
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/why-nrm-won-hoima-woman-mp-seat-1850444
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2019/09/final-results-nrm-candidates-sweep-hoima-kaboong-by-elections.html
- ↑ https://www.independent.co.ug/nrm-halts-hoima-woman-mp-primaries-as-aspirant-battles-for-life/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-17. Retrieved 2021-08-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)