Helen Nakimuli (yazaalibwa 2 Ogw'Omusanvu

Nakimuli Helen.jpg

1985) munnabyabufuzi era omubaka wa Uganda, muzannyi wa volleyball, mmemba wa Palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu owa Disitulikiti y'e Kalangala. Mmemba wa National Unity Platform (NUP). [1]

Gyenvudde n'Okusoma

kyusa

Nakimuli yazaalibwa ku kyalo Lukuba, mu ggombolola ye Kyamuswa e Kalangala eri Faaza w’Abasodokisi, Rev. Faaza Christopher Walusimbi ne Maria Nalwanga Walusimbi eyali kansala wa Disitulikiti y’e Kalangala e Kyamuswa ne Bubeke. Nakimuli yatandika okusoma mu Bukasa Primary school, Hormisdallen Primary School e Bweyogerere mu Wakiso, Our Lady of Good Counsel e Gayaza ku ddaala lya Ordinary Level, St. Augustine secondary school e Wakiso ku Advanced level ye nga tannayingira Makerere University. [2]

Omulimu gw’eby'obufuzi

kyusa

Eby'obufuzi bya Nakimuli byatandikira ku ssomero lya St. Augustine secondary school ng’akulira abayizi. Yamegga Aidah Nabayiga n'afuuka omubaka wa palamenti owa Disitulikiti y'e Kalangala

Emirimu emirala

kyusa

Nakimuli abadde muzannyi wa volleyball okuva mu 1998. Yali kapiteeni wa ttiimu ya volleyball ey’abakyala eyeetaba mu mizannyo gya Palamenti ya East Africa e Arusha mu Tanzania. [1] Ye mmemba mu kibiina kya COBAP Volleyball Club. [1] Yayambako bannamwandu b'e Kalangala okufuna bannamateeka ng’abantu abalala bwebaali bagala okutwala bintu bya babbaabwe abagenzi. Nakimuli yadduukiridde n'obuyambi okwabaddemu emmere, ssabbuuni n’ebirala eri abakadde mu Disitulikiti y’e Kalangala. Nakimuli yawadde obuyambi eri abantu abaayokebwa amayumba gaabwe. Nakimuli yalaajanidde minisita omubeezi ow’eby'ensimbi, Haruna Kyeyune Kasolo okussa ebizinga ebye Buvuma ne Namayingo ku nkalala lz'abanaaganyulwa munteekateeka z'ensimbi ez'emyooga.

Awaadi

kyusa

Nakimuli yaweereddwa omudaali gw’ekkanisa okuva mu The Orthodox Pope and Patriarch of Alexandria and all Africa, His Divine Beatitude Theodore II ng’asiimibwa olw'obuweereza bwe ng’eky'okulabirako n'okwolesa obutuntubulamu eri Eklesia y’Abasodokisi, Uganda.

Laba ne

kyusa
  1. Olukalala lw’abakiise mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu
  2. Shamim Malende
  3. Palamenti ya Uganda
  4. Enkola y’obumu mu ggwanga (NUP) .

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :3