Hellen Asamo amanyikiddwa nga Asamo Hellen Grace (yazaalibwa nga 24 Ogwokuna mu mwaka gwa 1964) Munnayuganda omusomesa era akiikirira abantu abaliko obulemu mu bitundu by'omu Buvanjuba eyaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda n'eyekumi .[1][2][3] Yawangula mu kalulu ka bonna aka 2021 general elections mu kifo kye nga akiikirira abantu abaliko obulemu mu bitundu by'omu Buvanjuba.[4] Hellen ai mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.[1]

Emisomo kyusa

Mu mwaka gwa 1977, Yamaliriza emisomo gye egya Primary Leaving Examination (PLE) okuva mu Soroti Primary School era oluvanyuma ne yegatta ku Nkoma Secondary School okusoma Uganda Certificate of Education era n'amaliriza mu mwaka gwa 1981. Mu mwaka gwa 1990, yaweebwa satufikeetti ya Grade III Teaching Certificate okuva mu ttendekero lya Institute of Teacher Education Kyambogo. Mu mwaka gwa 1996, yafuna dipulooma mu by'enjigiriza okuva mu ttendekero lya Institute of Teacher Education Kyambogo era. Alina diguli mu by'enjigiriza (2006) okuva mu Yunivasitte ya Kyambogo.

Emirimu gye nga tanatandika by'abufuzi kyusa

Mu 1992-1997, yaweereza ng'omusomesa mu somero lya Nakatunya Primary School.[1] Mu mwaka gwa 1997, yegatta ku somero lya Moroto KDA Primary School nga omusomesa era oluvanyuma n'aweereza mu somero ly'erimu nga head teacher wakati wa 1998 ne 2000.[1] Yegatta ku NUDIPU (National Union of Disabled Persons of Uganda) wakati wa 2002 ne 2003 era n'akola nga Ag. executive dayirekitta.[1] Mu 1990-1992, yaweereza ng'omusomesa mu Soroti Primary School.[1] Okuva mu mwaka gwa 2000 okutuusa 2003, yegatta ku Moroto Army School era n'aweebwa omulimu nga omumyuuka wa head teacher.[1] Okuva mu mwaka gwa 2003 okutuusa 2011, ye yali omumyuuka wa executive dayirekita/sentebbe wa pulogulaamu mu NUDIPU.[1]

Eby'obufuzi kyusa

Okuva mu mwaka gwa 2013 okutuusa kati, akoze nga mumyuuka wa sentebbe w'akakiiko ka Equal Opportunities Committee mu Paalamenti ya Uganda.[1] Yaweereza nga mmemba wa Paalamenti[1] mu Paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2011 okutuusa 2021 mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda n'eyekumi.[1]

Mu Paalamenti ya Uganda, yaweereza mu milimu emirala nga omumyuuka wa sentebe w'akakiiko ka Equal Opportunities,[5][6] era nga mmemba w'akakiiko ka Gender Labour and Social Development and Appointments Committee.[7]

Yaleeta ekiteeso ku meeza ekya NRM Parliamentary Caucus okukaanya nti Pulezidenti Museveni yekka akwaate bendera y'ekiibina mu kalulu ka 2021 nga tewali amuvuganya.[2] Hellen yanyonyola nti ensonga ye enkulu lwaaki alonze Museveni yekka okuvuganya yali ya kukaatiriza bye yali akoze munsonga z'eddembe n'obukakamu nga akulembera egwanga eri obuwanguzi, ekuzimba amakolero, n'okutereeza eby'enfuna[2]

Era mmemba w'ekibiina kya Uganda Women Parliamentary Association ekyomu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi.[8]

Obulamu bwe kyusa

Yazaalibwa mu Disitulikitti ye Soroti.[2] Hellen mufumbod.[1] Alina okwagala okungi mu kugaba, okuyamba ba kateyamba, okubuulirira n'okwetabba mu bikolwa by'omutababuvumo (Community) activities.[1]

Byayagala okukola bye bino wamangaBelow are her hobbies:[1]

  • Travelling
  • Making friends
  • Listening to church music
  • Reading novels
  • Discussions

Laba ne kyusa

Ebijuliziddw wa bweru kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 1.11 1.12 1.13 {{cite web}}: Empty citation (help)"Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2021-04-02.
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 https://www.matookerepublic.com/2019/03/19/who-is-grace-hellen-asamo-the-mp-who-tabled-motion-to-have-president-museveni-as-the-unopposed-nrm-flagbearer-for-2021/
  3. https://www.matookerepublic.com/2020/06/23/scientific-election-how-will-the-deaf-and-blind-benefit-from-radios-and-tvs-people-with-disabilities-mp-asamo-asks/
  4. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/asamo-hellen-grace-10769/
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/involve-more-women-in-conflict-solving-igad-3276190
  6. https://parliamentwatch.ug/mps-question-the-criteria-to-merger-government-bodies/
  7. https://www.mpscanug.com/profile/asamo-hellen/
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)