Henry Oryem Okello
Henry Oryem Okello munnamateeka, Munnayuganda era munnabyabufuzi. Ye Minisita omubeezi ow'ensonga z'ebweru. Yalondebwa mu kifo ekyo mu 2004. Mu kulondebwa kwa Kabinenti empya mu Gwomukaaga nga 1, 2006,[1] n'e nga 16, Ogwokubiri 2009,[2] era ne mu kulonda kwa nga 27 Ogwokutaano 2011,[3] yasigaza ekifo kye. Aweerezzaako nga Minisita omubeezi ow'ebyemizannyo, okuva mu 2001 okutuuka mu 2005. Era aweerezza nga Omubaka mu Paalamenti "ow'Essaza ly'e Chua", muDisitulikiti y'e Kitgum, okutuuka mu 2021.[4]
Obuvo n'emisomo gye
kyusaYazaalibwa mu Ssaza ly'e Chua mu disitulikiti y'e Kitgum nga 21, Ogwoluberyeberye 1960. Kitaawe ye mugenzi General Tito Lutwa Okello (1914–1996), eyaweerezaako nga Pulezidenti wa Uganda wakati w'Ogwomusanvu 1985 n'Ogwoluberyeberye 1986.[5]
Oryem Okello alina Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws nga talina lupapula lw'agudde, okuva mu Yunivasite y'e Buckingham mu Bwakabaka bwa Bungereza, gye yafuna mu 1985. Era alina Diguli eyookubiri mu mateeka eya Master of Laws, okuva mu Yunivasite y'e Southampton, era nayo mu UK, gye yafuna mu 1989. Yali munnamateeka eyali awoza emisango mu kkooti ekkulu mu Bungereza, nga tannalekulira kuyingira mu by'obufuzi bya Uganda mu 2001.[4]
Emirimu gye
kyusaYaweerezako nga munnamateeka wakati wa 1988 ne 2000, mu Bwakabaka bwa Bungereza. Mu 2001, yalondebwa okukiikirirza essaza lya Chwa, disitulikiti y'e Kitgum, mu Paalamenti ya Uganda, naga yaweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 2006. Yalondebwa ku bwa Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza n'e mizannyo, avunanyizibwa ku byemizannyo, era nga bwa kwasaganya obuvunanyizibwa mu Paalamenti, okutuuka mu 2005. Mu 2005 yalondebwa ku kifo ky'obwa Minisita. Wakati wa 2001 ne 2005, yaweereza nga omumyuka wa Pulezidenti, ku kakiiko akasukkulumu ak'ebyemizannyo mu mawanga agoogerwamu olungereza mu Afirika.
Teyeesimbawo ku kifo ky'omu Paalamenti mu kulonda kwa 2006 naye, yasigala mu Paalamenti olw'okubeera Minisita naye nga talina kitundu ky'akiikirira. Wakati wa 2006 ne 2008, Yaweereza nga mmemba ku lukiiko lwa Gavumenti olugaba obuyinza olwakulemberamu mu nteeseganya ez'eddembe wakati wa Gavumenti ya Uganda n'abakiikirira abayeekera ba Lord's Resistance Army. Emirundi mingi, yali omumyuka w'omukulembeze w'ekibiina kya Uganda ekigabanya obuyinza, ekyali kikulemberwa Ambasada Ruhakana Rugunda, mu kaseera ako eyali Minisita wa Uganda ow'ensonga z'omunda.
Mu kulonda kwa okwa 2011, Okello Oryem yammega eyali omubaka wa Paalamenti "ow'e ssaza ly'e Chua", Okello Oryemuo, ow'ekibiina kye byobufuzi ekya Uganda People's Congress , okweza ekifo kye mu Paalamenti. Mu kiseera kino ye mubaka aliko owa Disitulikiti y'e Kitgum.
Ebimukwatako
kyusaHenry Oryem Okello mufumbo. Agoberera nnyo ensonga ezigenda mu maaso mu nsi yonna, ensonga z'amagye n'ebyemizannyo.
Laba na bino
kyusaEbijulizo
kyusa- ↑ https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
- ↑ https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
- ↑ https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
- ↑ 4.0 4.1 "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-08-21.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20150216223129/http://www.newvision.co.ug/news/628581-tito-okello--the-president-who-was-kept-on-his-toes.html