Hilda M. Tadria mukyala Munnayuganda Omulwanirizi weddembe ly'abakyala omukugu mu nsonga z'ekikula ky'abantu n'enkulaakulana eyaawamu. Era, Yaakulira ppulogulaamu y'okulungamya abaana abawala awamu n'okubafuula aboobuvunaanyizibwa mu ggwanga ekya Empowerment Programme for Young Women(MEMPROW). Muwabuzi waabitongole eby'obwannayini mu nsi yonna ku nsonga zeebikula by'abantu, ku nzirukanya y'ebitongole, awamu nenkulaakulana mu bantu. Abadde akola nga Ppulofeesa omukwanaganya ku Makerere University.

Hilda Tadria 2018

Okusoma kwe

kyusa

Tadria alina Diguli mu ssomo erikwata ku nkwatagana y'abantu ku Makerere University, yafuna master's degree mu ssomo erikwata ku muntu yennyini nengeri gy'akwataganamu naabamuliranye eriyitibwa social anthropology mu Newnham College, Cambridge, esangibwa e Bungereza era naafuna PhD era mu ssomo ly'erimu erya social anthropology lyeyasomera mu University of Minnesota, esangibwa mu Amerika.[1][2]

Emirimu gye

kyusa

Tadria akozeeko nga eyebuuzibwako ku nsonga ezikwata ku bikula by'abantu, enzirukanya y'ebitongole, ne nkulaakulana yaabantu era nga yali akolera World Bank, UNDP, UNIFEM, Gavumenti ya Uganda, ekitongole kya Canadian International Development Agency (CIDA) neNOVIB.[1]

Tadria yali ku ddaala lya Ppulofeesa Omukwanaganya ku ludda oluvunanyizibwa ku nsinga zenkolagana mu bantu ku Makerere University, era nga akyaliyo, yatandikawo ekitongole ky'obwannayini ekiyitibwa Action for Development (ACFODE).[1]

Mu Gw'omwenda gwa 2017, yakulemberamu banne mu musomo ogwalimu abakyala abali ennyo mu nsonga zaabakyala mu Africa South Africa nga gwategekebwa Ekitongole kya Masimanyane Women's Rights International, wamu ne Dorcas Coker-Appiah, Akulira ettendekero omuli ebikwata ku Bikula y'abantu awamu nookuwandiika ebikwata ku Ddembe ly'abantu mu Ghana, era bano baateekawo "omusomo ogw'amanyi ogwasabuukulula enkola y'okussa ekitiibwa mu musajja nga omukulu".[3]

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 http://www.africawln.org/hilda-tadria/
  2. http://www.thelancet.com/pdfs/journals/lancet/PIIS0140-6736(06)69623-2.pdf
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-02. Retrieved 2023-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)