Hope Ekudu
Hope Ekudu Munnayuganda omukugu mu by'okubala, maneja wa Bbanka era addukanya bizinensi. Y'aweereza nga chief operating officer ow DFCU Bank, okuva mu Gwomunaana 2020 okutuusa mu Gwokuna 2023.[1] Ng'ebyo tebinnabaawo, yali akulira Bbanka y'obwannanyini, mu Housing Finance Bank, okuva mu Gwomunaana 2015.[2][3]
Obuto bwe n'emisomo gye
kyusaMs Ekudu yazaalibwa mu myaka gya 1985 eri Grace Adoku, n'emusumba John Ekudu-Adoku, omuweereza era eyali akwasisa empisa ku Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obunene n'obukulu mu Uganda. Ye muggalanda mu Famire yaabwe ey'abaana bana; Paul, Charity, Faith ne Hope.[4]
Yegatta ku Yunivasite y'e Makerere, gye yafunira Digulimu by'okubala eya Bachelor of Statistics mu 2006. Yyeyongerayo n'emisomo gye ku Heriot Watt University, mu Edinburgh, Scotland, gye yatikkirwa Diguli ey'okubiri eya Master of Business Administration, mu 2011.
Era yamala omwaka gumu ng'atendekebwa eby'ategekebwa CEO Club Uganda ne Strathmore University, okumuteekereteera obuvunanyizibwa bwa chief executive officer, mu biseera ebyali bigenda okuggya. Ms Ekudu, yali mmemba mu kibiina ky'abayizi 30 abaali akola essomo eryali ligenda okumala omwaka mu 2013.[5]
Emirimu gye
kyusaMu 2010, yapangisibwa aba Bbanka ya Barclays Bank of Uganda, ng'akulra tiimu y'abateekateeka okusasula n'enkola ez'ebweru w'eggwanga nga SWIFT, RTGS ne EFT. Oluvanyuma lw'emyaka ebiri mu kifo ekyo, yalinyisibwa okutuuka ku ddaala ly'akulira eby'ensasula mu bbanka y'emu nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2014.
Mu Gwomusanvu 2014, Ms Ekudu yapangisibwa aba Housing Finance Bank, Bbanka y'abasuubuzi ekola ku by'okuwola abasuubuzi. Yaweereza mu buvunzznyizibwa obw'enjawulo ku HFB, omwali Maneja omukulu akwaaganya enkola za Bbanka, Maneja omukulu akwasaganya ensimbi eziterekebwa era nga Maneja akwasaganya enkola z'aBbanka ne tekinologiya.
Ebirala ebikulu
kyusaMs. Eduku yali omu ku ba Maneja abakugu ekkuminomu aba HFB, eyali ayogera butereevu ne Dayilekita omukulu ne chief executive officer.[6]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://www.monitor.co.ug/Business/Finance/Ekudu-appointed-dfcu-Bank-Chief-Operating-Officer/688608-5607766-lgf46hz/index.html
- ↑ https://www.housingfinance.co.ug/about-us/management-team/
- ↑ https://www.linkedin.com/in/hope-ekudu-7164994a/?originalSubdomain=ug
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-24. Retrieved 2024-04-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
- ↑ https://www.housingfinance.co.ug/about-us/management-team/#hope-ekudu