Hope Mwesigye
Hope Ruhindi Mwesigye, looya omunayuganda ng'era munabyabufuzi. Yeeyaliko Minisita w'eby'obulimu, ebisolo n'obuvubi[1]okuva nga 16 Ogwokubiri mu 2009, okutuuka nga 27 Ogwokutaano mu 2011.[2] Nga tanaba kulondebwa mu kifo ekyo, yawerezaako nga Minisita Omubeezi owa Gavumenti z'ebitundu, okuva mu Gwomukaaga mu 2006, okutuusa mu Gwokubiri mu 2011.[3] Mu kukola enkyuka kyuka mu kabineeti nga 27 Ogwokutaano mu 2011, yasuulibwa okuva mu kabineeti, nga wano Tress Bucyanayandi yeeyamudira mu bigere.[4]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
kyusaYazaalibwa nga 28 Ogwekumineebiri mu 1956, mu Disitulikiti ye Kabale. Yasomera ku Kabale High School ng'eno gyeyamalira S4, oluvannyuma n'agenda ku Trinity College e Nabbingo gyeyatuulira S6.[5] Ms Mwesigye yeeyongerayo n'afuna Diguli mu Mateeka n'ebitiibwa ebigenderako okuva mu Yunivasite y'e Makerere. Alina ne Dipulooma mu kwenyigira mu By'amateeka, ng'eno yagifuna okuva kutendekero lya Law Development Center esinganibwa mu Kampala. Mu kwongerezaako, yafuna ne Diguli ey'okubiri mu By'enjigiriza ebikwatagana ku by'abakyala n'ekikula ky'abantu.
Obumannyirivu bw'alina mu mirimu
kyusaHope Mwesigye yakolako nga Omuwi w'amagezi mu ggwanga ow'ebitongole bya gavumenti, mu minisitule y'amateeka evunaanyizibwa ku by'obwenkanya okumala emyaka munaana okutuusa mu 1988. Wakati wa 1988 ne 1991, yakolako nga avunaanyizibwa ku pulogulaamu mu kitongole kya Uganda Gender Resources Center, nga kino kyali kya bwa nannyini era ekitaaliwo kubeera nga kikola magoba. Wakati wa 1991 ne 2001, yawerezaako nga eyali akulira ekitongole ekyo kyennyini ekyalina ekigendererwa ky'obutakola magoba. Awerezaako era nga avunaanyizibwa ku bya pulogulaamu mu mu kitongole ekirwanirira eddembe ly'abakyala mu Uganda ekya FIDA, nga kino nakyo kiyimirira lwa butakola magoba. Mu 2001, yayingira eby'obufuzi era nebamulonda okubeera omubaka mu paalamenti omukyala eyali akiikirira Disitulikti y'e Kabale. Yadda n'alondebwa mu 2006 ng'ali ku tikiti ya National Resistance Movement. Yawangulwa Ronah Ninsiima mu 2011 eyeesimbawo nga munabyabufuzi eyali talina kibiina, eyali mu kifo kino nebaddamu nebalonda nga Omubaka wa Paalamenti omukyala okukiikirira Kabale.[6] Mu kukola enkyuka kyuka mu kabineeti nga 27 Ogwokutaano mu 2011, yasulibwa okuva mu kabineeti.
Ebimukwatako nga omuntu
kyusaKigambibwa okubeera nga anyumirwa nnyo okukunga abantu b'ebitundu okutuuka kunkulakulana. Mukyala mufumbo ng'era maama alina abaana bana.
Laba ne bino
kyusaEbijuliziddwaamu
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2023-03-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
- ↑ https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Tress_Bucyanayandi
- ↑ https://web.archive.org/web/20150211175100/http://www.newvision.co.ug/D/9/35/576022
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/-/689842/1140592/-/13dwb1y/-/index.html