Ibrahim Sekagya
Ibrahim Sekagya yazalibwa nga 19 mu Gwekumineebiri mu 1980, nga munayuganda eyaliko omusambi w'omupiira ng'era yali azannya ng'omuzibizi ayimirira mu maaso g'entabwe ya ggoolo. Esaawa eno ye mutendesi omukulu owa New York Red Bulls II ey'ekibinja kya Amerika ekya MLS Next Pro.
Kiraabu z'azze azannyiramu
kyusaYazaalibwa mu Kawempe e Kampala, ng'omulenzi, Sekagya yatandika okuzannya omupiira ku kisaawe ekitaaliko yadde obusubu e Kawempe gyebatera okuyita ku kataka nga tanaba kwegata ku kiraabu ya State House ne kiraabu y'ewaka enene emannyikidwa nga Kampala City Council FC (KCC FC). Sekagya yatandika okuzannya omupiira gw'ekikulu oguliko ekigendererwa ne Kampala City Council mu 1992, nga tanaba kugenda mu Argentina mu 1998, okusobola okutandika obulamu bw'okusamba omupiira ng'agutwala ng'omulimu. Kiraabu ye eyasooka mu Argentine yali Atlético de Rafaela mu kibinja kya Primera B Nacional. Mu 2002, yagenda okwegata ku Ferro Carril Oeste mu kibinja kya Primera B Metropolitana, oluvannyuma n'abayamba ttiimu eyo okuwangula liigi n'okusumusibwa okugenda mu kibinja ekiddako ekya Primera B Nacional. Mu 2005, yaweebwa endagaano abakiraabu ya Arsenal de Sarandí ey'ekibinja kya Argentine ekya Primera División, gyeyamala sizoni bbiri.
Mu 2007 Ogwomukaaga, Sekagya yateeka omukono kundagaano ey'emyaka esatu ne kiraabu ya Red Bull Salzburg, abaali ba kyampiyoni bw'ekibinja kya Austria ekyababinywera.[1] Yazannya omupiira gwe ogwali gusooka mu kibnja kino ekya Bundesliga nga 11 Ogwomusanvu mu 2007 mu kuwangula kwa Salzburg okwa 4–1 ng'ekuba SC Rheindorf Altach, n'ateeba ggoolo ya liigi eyasooka nga 22 Ogwomusanvu mu 2007 okuyamba Salzburg okukola amaliri ga 2–2 ng'egenze ku bugenyi ewa FK Austria Wien. Mubwangu yeekwata ekifo ky'okubeera ng'atandika ng'omuzannyi mu kiraabu eno nga yamalako sizoni eyasooka ng'azannya emipiira 34 mu kibinja kya Bundesliga, ng'ateebye ggoolo satu mu liigi.[2] Mu sizoni omukaaga zeyamala mu kiraabu eno, Sekagya yazannya emipiira 165 egya liigi, n'ateeba ggoolo mukaaga.Mukaseera ako, yabayamba okuwangula ebikopo bya liigi y'eggwanga lya Austria eyababinywera bisatu n'ekikopo ky'empaka za Austrian Cup.
Nga 11 Ogwomusanvu mu 2013, Sekagya yeegata ku liigi ya Amerika eyababinywera mu kiraabu ya New York Red Bulls ku bweereere, oluvannyuma lw'okuva mu Red Bull Salzburg ng'eni mwanyina wa kiraabu gyeyali agenzeemu.[3] Nga 4 Ogwomunaana mu 2013 Sekagya yazannya omupiira gwe ogwali gusooka mu New York nga yatandika ng'omuwuwuttanyi eyali azibira mu mupiira gwebaawangula 3–2 nga bakuba Sporting Kansas City. Nga 27 Ogwekumi mu 2013, Sekagya yateeba ggoolo eyali ebatwala mu maaso mu mupiira ogwali gusembayo mu sizoni nga bazannya Chicago Fire ku kisaawe kya Red Bull Arena , ekyayamba ttiimu ye okuwangula 5–2 nekibafuula ba kyampiyoni mu sizoni eyali entegeke. Kyekyali ekikopo kya kiraabu eky'amannyi ekyali kisooka mu byafaayo byabwe eby'emyaka 17.[4][5] Wabula, Sekagya yasuula omupiira ogwavaamu Houston okufuna ggoolo ey'ekyenkanyi era nebabakuba ggoolo 2–1, nekiwandula New York okuva mu kikopo kya 2013 ekisalawo agenda ku luzannya oluddako.[6] Mu sizoni ya 2014, Sekagya yafuuka omuzannyi eyali atandika emipiira gya New York, n'abayamba okutuusa kiraabu eno mu mpaka ezisalawo agenda kuluzannya oluddako (MLS Cup playoffs). Sekagya yawumula okuva mu mupiira gw'ensiimbu muntandikwa ya 2015.
Ku mutendera gw'ensi
kyusaSekagya yasambirako ne ttiimu ya Uganda ey'eggwanga, gyeyali nga kapiteeni wa ttiimu. Yabazannyira emipiira munaana, mweyateebera ggoolo emu mu z'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu z'ekikopo ky'ensi yonna ekya 2006, wamu n'emirundi esatu ne ggoolo emu, mu z'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2010.[7]
Ggoolo z'ateebye kumuntera gw'ensi
kyusa# | Enaku z'omwezi | Ekifo | Gwebaali bazannya | Ggoolo ezaalimu | Engeri gyegwagwamu | Empaka |
---|---|---|---|---|---|---|
1 | Nga 6 Ogwomukaaga mu 2004 | Nelson Mandela National Stadium, Kampala, Uganda | DR Congo | 1 – 0 | 1–0 | Ez'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2006. |
2 | 31 Ogwokutaano mu 2008 | Nelson Mandela National Stadium, Kampala, Uganda | Niger | 1 – 0 | 1–0 | Ez'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2010. |
Ogw'obutendesi
kyusaOluavnnyuma lw'okuwumula, Sekagya yeetaga ku batandeka kiraabu ya New York Red Bulls.[8] Nga 2 Ogwomusanvu mu 2022, Sekagya yaweebwa eky'omutendesi omukulu ow'ekiseera ku Red Bulls'ey'ekibinja kya USL Championship ne New York Red Bulls II.[9]
Awaadi
kyusa- Ekikopo ky'ekibinja kya Primera B Metropolitana Alina kimu ekya sizoni ya 2002–03
- Ekikopo ky'ekibinja kya Austria ekyababinywera alina bisatu
- Empaka za Austrian Cup alina kimu
- 2012
- Empaka za MLS Supporters' Shield alina kimu
- 2013
By'akozi ku kiraabu
kyusaBwakozi ku kiraabu | Liigi | Cup | League Cup | Ku semazinga | Omugatte | |||||||
---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
Sizoni | Kiraabu | Liigi | Emipiira gy'abasambidde | Goals | Emirundi gy'abazannyidde | Ggoolo | Emirundi gy'abazannyidde | Ggoolo | Emirundi gy'abazannyidde | Ggoolo | Emirundi gy'abazannyidde | Ggoolo |
Argentina | Liigi | Copa Argentina | Copa de Liga | Empaka ezetabibwamu kiraabu z'omubukiika kkono bwa Amerika | Omugatte | |||||||
2001–02 | Atlético Rafaela | Primera B Nacional | 38 | 2 | - | - | - | - | - | - | 38 | 2 |
2002–03 | Ferro Carril Oeste | Primera B Metropolitana | 30 | 2 | - | - | - | - | - | - | 30 | 2 |
2003–04 | 34 | 2 | - | - | - | - | - | - | 34 | 2 | ||
2004–05 | 32 | 0 | - | - | - | - | - | - | 32 | 0 | ||
2005–06 | Arsenal | Primera División | 29 | 1 | - | - | - | - | - | - | 29 | 1 |
2006–07 | 33 | 1 | - | - | - | - | - | - | 33 | 1 | ||
Austria | Austrian Bundesliga | ÖFB-Cup | Ebiralala | Mu bulaaya | Omugatte | |||||||
2007–08 | Kiraabu ya Red Bull Salzburg | Ekibinja kyababinywera | 34 | 3 | - | - | - | - | 5 | 0 | 39 | 3 |
2008–09 | 34 | 1 | 2 | 1 | - | - | 6 | 1 | 42 | 3 | ||
2009–10 | 24 | 0 | 2 | 1 | - | - | 11 | 0 | 37 | 1 | ||
2010–11 | 30 | 0 | 1 | 0 | - | - | 12 | 0 | 43 | 0 | ||
2011–12 | 26 | 1 | 4 | 1 | - | - | 11 | 1 | 41 | 3 | ||
2012–13 | 17 | 1 | 3 | 1 | - | - | 1 | 0 | 21 | 2 | ||
Amerika | Liigi | US Open Cup | MLS Cup Playoffs | Mu bukiika ddyo bwa Amerika | Omugatte | |||||||
2013 | Kiraabu ya New York Red Bulls | Ekibinja kyababunywera | 8 | 2 | - | - | 2 | 0 | - | - | 10 | 2 |
2014 | 25 | 0 | 1 | 0 | 5 | 0 | - | - | 31 | 0 | ||
Eggwanga | Argentina | 196 | 8 | - | - | - | - | - | - | 196 | 8 | |
Austria | 165 | 6 | 12 | 4 | - | - | 46 | 2 | 223 | 12 | ||
Amerika | 33 | 2 | 1 | 0 | 7 | 0 | - | - | 41 | 2 | ||
Omugatte | 394 | 16 | 13 | 4 | 7 | 0 | 46 | 2 | 460 | 22 |
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ http://www.uefa.com/footballeurope/news/kind=2/newsid=551618.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20120928101330/http://www.weltfussball.de/spieler_profil/ibrahim-sekagya/aut-bundesliga-2007-2008/rb-salzburg/3/
- ↑ https://web.archive.org/web/20141111171112/http://www.newyorkredbulls.com/news/2013/07/red-bulls-sign-defender-ibrahim-sekagya
- ↑ https://web.archive.org/web/20151001065221/http://www.mlssoccer.com/news/article/2013/10/27/new-york-red-bulls-5-chicago-fire-2-mls-match-recap
- ↑ https://web.archive.org/web/20151001065234/http://www.mlssoccer.com/news/article/2013/10/27/curse-broken-new-york-red-bulls-win-2013-supporters-shield
- ↑ https://web.archive.org/web/20131110201624/http://www.mlssoccer.com/matchcenter/2013-11-06-ny-v-hou/recap
- ↑ https://web.archive.org/web/20120928101345/http://www.weltfussball.de/spieler_profil/ibrahim-sekagya/4/
- ↑ https://www.mlssoccer.com/news/new-york-red-bulls-hire-recently-retired-defender-ibrahim-sekagya-assistant-coac
- ↑ https://www.newyorkredbulls.com/news/ibrahim-sekagya-named-interim-head-coach-of-new-york-red-bulls-ii
Ewalala w'oyinza okubigya
kyusa
- Ibrahim Sekagya – likodi y'empaka ezitegekebwa ekibiina ekidukanya emipiira munsi yonna ekya FIF (byaterekebwa)
- Ibrahim Sekagya – likodi y'empaka ezitegekebwa ekibiina ekidukanya emipiira munsi yonna ekya FIFA (byaterekebwa)
- Ibrahim Sekagya at National-Football-Teams.com
- Ibrahim Sekagya at Football Lineups
- Ibrahim Sekagya at WorldFootball.net
- Guardian Football Stats byaterekebwa nga 2 Ogwekumi mu 2012 ku byuma bya Wayback.