Iganga General Hospital
Iganga General Hospital Oba eddwaliro lya Iganga District oluusi eriyitibwa Iganga Main Hospital,oba Nakavule Hospital, [1] [2] ddwaaliro erisangibwa e Iganga,mu bugwanjuba bwa Uganda .
Endagiriro
kyusaEddwaaliro lino lisangibwa ku luguudo oluva e Jinja okudda Tororo kiromita 40 okuva ku ddwaliro ly'e Jinja Regional Referral Hospital . [3] Ensengeka z'eddwaliro ekkulu e Iganga ku maapu zino: 0°36'57.0"N, 33°29'04.0"E (Obusimba:0.615828; Obukiika:33.484431). [4]
Ebikwata ku ddwaliro
kyusaEddwaaliro ekkulu e Iganga ddwaliro lya gavumenti nga lirimu ebitanda okujanjabirwa abalwadde 100.Eddwaliro liwereza abalwadde abava Disitulikiti okuli Iganga n'ebitundu ebiriraanyewo okuli Luuka, Mayuge, Bugiri, Namutumba ne Kaliro . [5] Eddwaliro lino lyazimbwa mu mwaka 1968. [6] Emyaka bwe gizze giyitawo,embeera y'ebizimbe mu ddwaliro lino yagenda eyonooneka olwobudde okuyitawo nga teriddabiirizibwa[7]
Okuddaabirizibwa
kyusaMu 2013 Minisitule y’ebyobulamu mu Uganda, ng’ekozesa looni ya bukadde bwa doola z'America 195 okuva mu Banka y’ensi yonna, yatandika okuddaabiriza amalwaliro agawerako okwetoloola eggwanga omuli n’eddwaliro lino.[8] [9] Omulimu gw’okuddaabiriza eddwaliro gwaggwa mu gwekuminogumu 2015. [10]Mu Gwomukaaga gwa 2024 waliwo abantu abeekubira enduulu mu kakiiko akalondoola eby'obulamu mu maka ga pulezidenti olwobuli bw'enguzi bwebali bagamba nti bwali busensedde eddwaliro lino. Mu bamu ku bakozi bebalumiriza okusaba ekyoja mumiro kwaliiko abakozi mu ggwanika bebalumiriza okusaba abantu ssente okusobola okubawa emirambo gyabantu babwe ababa bafudde.[11]
Laba ne
kyusaEbiwandiiko ebijuliziddwa
kyusa- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Iganga-accident-victims-named/688334-4864286-yco8y2z/index.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1154065/fought-corruption-iganga-hospital-bageya
- ↑ Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/dir/Iganga+Hospital,+Main+St,+Iganga/Jinja+Regional+Referral+Hospital,+Rotary+Rd,+Jinja/@0.5235774,33.2051696,11z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177ef28a38228fed:0xccacb96023ec8515!2m2!1d33.4850604!2d0.6161948!1m5!1m1!1s0x177e7b9ad9e6532b:0x168afcf76f804f0a!2m2!1d33.2053335!2d0.4301143!3e0
- ↑ Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/place/0%C2%B036'57.0%22N+33%C2%B029'04.0%22E/@0.6139216,33.4434565,13.5z/data=!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.615828!4d33.484431
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3544563
- ↑ http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/45-years-later--Iganga-Hospital-staggers-on/-/688342/1933296/-/132ucdsz/-/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/45-years-later--Iganga-Hospital-staggers-on/-/688342/1933296/-/132ucdsz/-/index.html
- ↑ https://iganga.go.ug/dept/health
- ↑ https://web.archive.org/web/20160603114523/http://www.monitor.co.ug/News/National/Government-to-renovate-hospitals/-/688334/2007398/-/hqkbljz/-/index.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/201511061106.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/news/health-monitoring-unit-petitioned-to-probe-ig-NV_190447