Ingrid Kamateneti Turinawe amannyiddwa ennyo nga Ingrid Turinawe yazaalibwa nga 23/11/1973,ye munnabyabufuzi omukyala aweerezanga ssentebe w’ekibiina ky’abakyala kuludda oluvugannya gavumenti mu Uganda mu  kibiina kya ’’Forum for Democratic  change’’ (FDC). Era aweereza nga ssaabakkunzi mu by’obufuzi mu ggwanga lyonna mu kibiina kya FDC.

I[1]

EBIMUKWATAKO N'OKUSOMA KWE

kyusa

Yazaliibwa  Jane Bakesiga  ne Stanely Bakwatilenda ( Yafa mu 1982) nga 23/11/1973 ku kyalo Kashojwa , mu ggombolola lye Rugyeyo mu disituliikiti kati emmayidsdwa nga Kannungu nga tebannagikutula ku Rukungiri. Waakunna mu baana bannyina omwenda beyazaala nga kubbo abataano balenzi ate abanna bawala.


Pulayimale yagisomera ku ku Rugyeyo Primary school gyeyava nagenda ku kinyasano Girls High school gyeyamalira  amadaala gombi ‘’O’’  Ne ‘’A’’ .oluvannyuma yeegatta ku ttendekero ly’abasomesa erya kabala (National teachers college) gyeyafunira dipulooma mu byenjigiriza. Era yafuna diguli esooka okuva ku Nkumba university   eya ‘’public admistration and management’’

OMULIMO

kyusa

Muluwumula lwe oluwanvu nga amaliriza siniya ey'omukaaga mu 1992, Ingrid yafumbirwa Jackson Turinawe, omusajja omututumufu mu byobusuubuzi mu kabuga k'e Rukungiri . Nga amaliriza dipulooma ye e Kabale , Ingrid yasomesayo omwaka gumu era oluvannyuma neyegatta ku bbaawe mu by'obusuubuzi nga amuyambako okuddukanya ettundiro lye ddagala lyabaawe mu kabuga k'E Rukungiri. Mu 1998, yalondebwa okukiikirira amagombolola ge Buhunga ne Ruhinda ku lukiiko lwe Rukungiri.

Mu 2001, yaddamu n'alondebwa ku lukiiko. Mu 2003, Kanungu yasalibwa ku Rukungiri. Nga wayiseewo omwaka, Ingrid Turinaawe yafuuka omwogezi wa disitulikiti ye Rukungiri oluvannyuma lwe yali omwogezi, George Owakiroru, okusibibwa olwo okuteeberezebwa okukola obutujju. Yaweereza omulimu ogwo paka 2006. Yatandikawo ekibiina kya FDC mu 2005.

Mu 2005, Ingrid yayawukana ne bbaawe ow'emyaka 13 Jackson Turinawe naye teyafuna kwawukana kwa mu mateeka. Yassenga mu Kampala, ekibuga ekikulu mu Uganda. Mu 2006, y'esimbawo ku bw'obukulembeze bw;abakyala mu palamenti e Rukungiri era naddamu okwesimbawo ku kifo kye kimu naye emirundi gyona nga agwa.

Nga 20/04/2012, Ingrid yali avuga e Nansana, akatundu mu Kampala, okubaayo mu kunoonya akalulu,awo poliisi weyamulemesezza era akannyolagano wekatuukirawo,mukaseera ako, omusirikale n'amubaka ebeere kukifuba. Yakubba police mu mbuga z'amateeka n'omuwolerezza wa gavumenti olwo obulumi, okubonabona n'okuswazibwa kw'olukale, ebibalibwamu obukadde 560 obwa Uganda (bubalibwamu dollar 160,000 eza US), ng'omutemwa gw'okusasula obuvunne n'okukosebwa. Gavumenti ya Uganda yamwettondera mu lujjudde ate omusango ne gugwera wabweru w'embuga z'amateeka.

Mu gwookubiri 2017, Ingrid yeesimbawo ku bifo ebimu ku East Afican Legislative Assembly etuula mu Arusha, Tanzania.

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)