Irene Linda Mugisha
Irene Linda Mugisha
| |
---|---|
Eggwanga | Uganda |
Obutuuze | Munnayuganda |
Obuyigirize | Yunivasite ya Moon Yunivasite ya Uganda Martyrs |
Emirimu | Munnabyabufuzi, era mujjanjabi wa bwongo |
Gyakoledde | Kabarole Local Government Council Kasusu Cell, Fort Portal City Obukiikaddyo bwa Munisipalite ya Fort Portal Paalamenti ya Uganda |
Ekimututumusiza | Byabufuzi |
Ekitiibwa kye | Mmemba wa Paalamenti |
Ekibiina ky'ebyobufuzi | National Resistance Movement |
Irene Linda Mugisa, Mukyala Munnayuganda, munnabyabufuzi, musawo wa bwongo era Omubaka mu Paalamenti akiikirira ekiuga ky'e Fort Potal muPaalamenti ya Uganda 11 nga akiikirira ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.[1]
Ebimukwatako n'emisomo gye
kyusaMugisa Diguli ye mu misomo gya social and community development yagifunira ku Yunivasite ya Mountain of the Moon, Dipuloma mu kubudaabuda abantu n'agifunira ku Yunivasite ya Uganda Martyrs, saako ne Satifikeeti okuva mu masomo ag'enjawulo omuli (gender and development, policy making and implementation in local government, finance business and customer management).[2]
Ebikwata ku mirimu gye
kyusaMugisa alina obumanyirivu mu by'obufuzi bwa myaka 20, ng'abudaabuda abantu saako n'obuwandiisi ku kakiiko ka Gavumenti ey'awakati mu Kabarole. Era mukyala mukugu mu by'enkulakulana n'obumanyrivu mu kubudaabuda abantu era akoze n'ebitongole by'obwannanyini ebiwerako.[3]
Mu 1997 Mugisa yaweereza ng'akulembera Kasusu cell mu Divizoni y'ekibuga kya Fort Portal. Era yaliko omuwandiisi mukitongole ekikwasaganya ekikula ky'abantu mu Divizoni y'obukiikaddyo bwa Munisipalite y'e Fort Portal.[3]
Mu 2001, yalondebwa ku bwa Kansala w'abavubuka mu Disitulikiti y'e Kabarole n'oluvanyuma n'alondebwa ku bw'omuwandiisi mu kitongole ky'ebyensimbi n'okuteekeratekera Disitulikitiku myaka 24 era yeyali omuto ku bakulembeze abalala.[4]
Mu 2021, Mugisa yawangula eky'omubaka omukyala ow'ekibuga ky'e Fort Portal City Woman MP race.
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/irene-linda-declared-winner-of-fort-portal-city-mp-race
- ↑ https://www.alluniversity.info/uganda/mountains-of-the-moon-university/#:~:text=University%20Profile%20%20%20University%20Name
- ↑ 3.0 3.1 https://www.independent.co.ug/fort-portal-city-woman-mp-elect-roots-for-adequate-funding-for-youth-women/ Cite error: Invalid
<ref>
tag; name ":0" defined multiple times with different content - ↑ https://kabarole.go.ug/