Muloni Irene Nafuna.jpg

Irene Nafuna Muloni yinginiya w'eby'amasanyalaze Omunayuganda, omukyala munabyabizineensi nga kuno kw'ayteeka n'okubeera munabyabufuzi era omukyala Omuwabuzi wa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni.Mukusooka yali Minisita wa Kabineeti w'amasanyalaze n'Ebyobugagga by'omuttaka mu Kabineeti ya Uganda okutuuka mu Gwekumineebiri mu 2019, n'awereza okuva nga 27 Ogwokutaano mu 2011.[1] Yaddamu okufuna ekifo kye mu kabineenti empya oluvannyuma lw'okulonda lw'eggwanga okwa 2016.[2] Yawereza nga Omubaka wa Paalamenti owa Disitulikiti ya Bulambuli akiikirira abakyala, okuva mu 2001 okutuuka mu 2016 bweyafiirwa ekifo kino eri Sarah Wekomba eyeesimbawo nga talina kibiina kyabyabufuzi. Yaddamu okwediza ekifo kino oluvannyuma lwa kalulu ka bonna akaaliwo mu 2021.[3][4]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Yazaaalibwa nga 18 Ogwekuminoogumu mu 1960, mu emannyikiddwa leero nga Disitulikiti ya Bulambuli. Yasomera ku Budadiri Girls' Primary School nga tanaba kugenda ku Gayaza High School.[5] Mu 1982, yagenda ku Yunivasite y'e Makerere, yunivasite esinga obukadde mu Buvanjuba bwa Afrika, okusoma obwa yinginiya. Mu 1986, yatikirwa n'ekitiibwa kya Diguli ya saayansi mu bwayinginiya bwa Masanyalaze. Oluvannyuma, yatikirwa ne Diguli Ey'okubiri mu Kudukanya Bizineensi okuva ku Capella University mu Minneapolis, Minnesota, mu ggwanga lya Amerika. Akola nga Certified Public-Private Partnership Specialist nga olukusa lwamuweebwa etendekero lya Institute for Public-Private Partnerships, Inc. (IP3) n'abakola ku by'enkulakulana ya Mazzi ne Yinginiya mu Yunivasite ya Loughborough.[5]

Emirimu gye

kyusa

Okuva mu 1986 Irene abadde akola n'ekitongole ekivunaanyizibwa mu Kusaasaanya Amasanyalaze mu Uganda yonna eri abagakozesa mu bungi ne mu busuubuzi nekya Uganda Posts & Telecommunications Corporation ekivunaanyizibwa ku by'amassimu, nga yeeyali yinginiya omuyizi eyasooka mu 1986 mu (UPTC), yaliko yinginiya owa wagulu mu kitongole kyekimu, yinginiya eby'empuliziganya mu 1991, oluvannyuma yinginiya w'ebyempuliziganya omukulu mu 1995, yinginiya omukulu akola ku by'okukuuma ate oluvannyua n'aba akulira ekitongole evunaanyizibwa mu Kusaasaanya Amasanyalaze mu Uganda.[6][7] Mu 2011, yayingira ebyobufuzi eby'okulonda bweyawangula eky'omukyala akiikirira Disitulikiti ya Bulambuli mu Paalamenti ya Uganda eyomwenda okuva mu 2011 okutuuka 2016.[8] Nga 27 Ogwokutaana mu 2011, yaweebwa Pulezedenti Yoweri Museveni eky'okubeera Minista w'Eby'amasanyalaze n'Ebyobugagga by'omuttaka. Yadira Hilary Onek, eyali awereddwa eky'okubeera Minisita w'Ensonga z'Omunda mu Ggwanga.[1] Mu nkyuka kyuka za kabineeti ezaakolebwa nga 6 Ogwomukaaga mu 2016, yasigaza ekifo kye ekyamuweebwa mu kabineeti.[9]

Laba ne bino

kyusa

Ebujuliziddwaau

kyusa

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa