Jackie Akello Munnayuganda omuyimbi-omuwandiisi w'enyimba era omutandisi w'emirimu ne brand wa kaawa owa coffee brand Village Belle gye yatongoza mu 2017.[1] Ayimba mu Acholi, Luganda, Swahili, n'olungereza.[2][3] Amanyikiddwa ku lw'oluyimba lwe olw'omukwaano olw'atutumuka "Amari", n'olweddiini "Samanya" ne Levixone, n'oluyimba olwekwasaganya ku by'entalo olwa "Apwoyo". Akello Muchooli okuva mu mambuka ga Uganda, era enyimba ze ezisinga, nga "Apwoyo" zoogera ku kubonaabona kw'Abachooli mu biseera by'olutalo ne nga olutalao lwa Lord's Resistance Army lukomye olwaleka Abachooli wabweeru w'enyumba n'amakaagabwe mu kiseera ekiwanvu ddala.[4]

Emirimu

kyusa

Omuziki

kyusa

Jackie yegatta ku band eziyimbira ku siteegi nga tanasalawo kuyimirira yekka. Yali mmemba wa Janzi, The Sundowners, era ne band ye eya Amari Band. Yakolako ne Levixone mu luyimba lwaabwe olw'eddiini olwa "Samanya". Yakolako n'abayimbi abalala nga Kaweesa, Suzan Kerunen, Myko Ouma, Tshila, ne Kinobe Herbert.

Yakolako nga omuyimbi w'emabaga owa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Lilian_Mbabazi Lilian Mbabazi] mu nyimba omuli "Vitamin". Jackie yatwaala omulimu gw'okuzannya mu vidiyo y'oluyimba lwa Maurice Kirya "Busaballa" nga Proscovia.[5]

Yazanyira ku siteegi, omuli World Music Day 2014 ne 2017 mu Kampala, Blankets and Wine festival,[6] Bayimba festival, n'emikolo gy'abalondemu emirala mingi. Yalumbula ne France.

Jackie yakola ku luyimba oluyitibwa "Black Yellow Red", puloojekiti ya batutumufu ne Cindy, Irene Ntale, Michael Ross, Viboyo, Nick Nola, n'abalala bangi. Yakolagana ne Mun*G ne T-Bro mu luyimba lwa "Ffena awamu." Yagenda ne mu mawanga ge bweru, neyettaba mu pulojekitti ya Singing wells projects/Abubilla Music esangibwa mu U.K, eyo gye yakolagana n'abayimbi abenjawulo okuva mu East Africa.[7][8]

Omuyimbi yasunyusa abagenyi nga Forest Whitaker mu bissera bye yakyaaliramu Ugandan okutumbuula ebikolwa by'eddembe n'enkulaakulana nga ayita mu bavubuka.[9]

Bizinensi y'Emwaanyi

kyusa

Mu 2017, Jackie yatongoza brand ye ey'emwaanyi eya Village Belle gye yagamba nti yalina mu bilowoozo okumala ebbanga.[10]

Okubuzaabuzibwa n'amufaanana

kyusa

Akello afaanana Munnakenya era omuwanguzi w'engule ya Oscar Lupita Nyong'o. Nga bakwaata firimu ya Queen of Katwe, abantu abasinga ne bannamawulire abaasisinkana oba abalaba ekifaananyi kya Akello baalowooza nti yali Nyong'o kubanga buli omu yamanya nti yalimu mu gwanga nga bakwaata firimu. Akavuyo kaatandika ekifaananyi kya Akello bwe kyafulumizibwa ku Facebook page ya Maurice Kirya okusobola okutumbuula vidiyo y'oluyimba "Busabala" Jackie mwe yali, ekyamuleetera omuyimbi ono okumweetegereza.[11][12]

Eby'enyimba

kyusa

Alubaamu

kyusa
  • Omuziki gwa Akello

Enyimba

kyusa
  • Amari
  • Apwoyo
  • Samanya
  • Wan Wilobo
  • Hallelujah

Okusunsulibwa n'engule

kyusa
Awards
Year Award Category Song Result
2018 VIGA Awards[13] Jazz-Soul-Country Hallelujah TBA

Ebijulizidwa

kyusa
  1. http://matookerepublic.com/2017/12/28/singer-jackie-akello-starts-own-coffee-brand/
  2. https://web.archive.org/web/20161002095102/http://bayimba.org/jackie-akello/
  3. https://www.musicinafrica.net/directory/jackie-akello
  4. https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/Jackie-Akello-music/434746-3916678-format-xhtml-w1awknz/index.html
  5. http://www.sunrise.ug/life-style/201608/unveiling-jackie-akello.html
  6. https://web.archive.org/web/20160712180232/http://chano8.com/jackie-akello-opens-ahead-bw
  7. https://web.archive.org/web/20160708125221/http://chimpreports.com/entertainment/interview-meet-jackie-akello-one-of-the-performers-at-blankets-wine-13th-edition/
  8. http://www.singingwells.org/meet-our-influences-artists-2/
  9. http://www.theugandatoday.com/entertainment/2017/02/hollywood-actor-forest-whitaker-of-last-king-of-scotland-idi-amin-movie-dances-pakachini-in-gulu-with-singer-jackie-akello/
  10. https://web.archive.org/web/20180408205848/http://chano8.com/singer-jackie-akello-ventures-into-coffee-making-business/
  11. http://bigeye.ug/lupita-nyongo-look-alike-jackie-akello-says-she-is-tired-of-being-confused-with-the-star-photo/
  12. https://www.sqoop.co.ug/201504/four-one-one/lupitas-look-alike-spotted-in-uganda.html
  13. https://docs.google.com/forms/d/e/1FAIpQLSfLCpuxjQ4Xs2tEOfB8UIx3r3u2DHfYIUGbhDML6tt8bFE0Dg/viewform?fbzx=2031096158172343300