Jacob L'Okori Oulanyah (1965-2022) Yali Munnayuganda omulimi, munnamateeka era munnabyabufuzi, yaweereza ng'omukubiriza wa Paalamenti ya Uganda ey'ekkumin'emu (2021 - 2026).Yalondebwa mu kifo kino nga 24 Ogwokutaano 2021[1], oluvannyuma lw'okuwangula eyali omukubiriza wa Paalamenti Rebecca Alitwala Kadaga.[2] Yaweerezaako ng'omumyuka w'omukubiriza wa Paalamenti ya Uganda okuva mu Gwokutaano, 2011 okutuuka mu Gwokutaano 2021. Oulanyah era mubaka wa Paalamenti akiikirira essaza ly'e Omoro, mu disitulikiti y'e Omoro. mu Acholi sub-region, mu bukiikakkono bwa Uganda.[3]

Jacob Oulanyah
Jacob Oulanyah

Obuvo n'okusoma

kyusa

Yazaalibwa mu disitulikiti ebiseera ebyo eyali eyitibwa Gulu, nga 23/Ogwokusatu/1965 eri Nathan L'okori ne Karen Atwon.[4] Yasomera ku St. Joseph's College Layibi, Dr. Obote College Boroboro, ne Kololo Senior Secondary School gye yakolera O-Level ne A-Level. Mu 1988, yeegatta ku ssettendekero ya Makerere , ssettendekero esinga obukulu mu mukago gwa ogutaba amawanga ga East Africa, gye yasomera ebyobulimi. Yatikkiirwa diguli ya Arts ssomo eryo mu 1991. Mu mwaka gwe gumu, yeegatta ku bbanguliro ly'amateeka era ku ssettendekero ya Makerere, n'afuna diguli mu mateeka mu 1994. Yaweerezaako ng'omukubiriza w'olukiiko lw'abayizi ng'ali e Makerere. Mu 1995, yeegatta ku Law Development Centre (LDC), gye yafunira dipulooma mu kuteekesa amateeka mu nkola.[5]

Emirimu

kyusa

Oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo ku LDC, Oulanyah yakola ng'omusomesa ku kifo ekyo. Mu kiseera kye kimu yatandika okukola eby'amateeka ku kkampuni ey'obwannannyini eya Oulanyah, Onoria & Company Advocates.[6] Mu 2001, Yayingira ebyobufuzi ng'avuganya era n'awangula ekifo ky'omubaka wa Paalamenti ow'essaza lya Omoro County, mu disitulikiti y'e Gulu wansi w'enkola etaalimu bibiina byabyabufuzi. Wabula yalina kkaadi y'ekibiina kya Uganda People's Congress (UPC). Yeetaba ne nteesaganya ez'emirembe wakati wa gavumenti ya Uganda n'abayeekera ba Lord's Resistance Army [7] Mu 2006, nga yeesimbiddewo ku kkaadi ya UPC yawngulwa mu kalulu akaddibwamu. Mu Gwomukaaga 2006, yava mu UPC ne yeegatta ku National Resistance Movement (NRM) eri mu buyinza. Mu 2008 yakola nga ssente w'akakiiko akaateekebwawo okwebuuza ku mivuyo egyali ku liizi y'akatale ka Kisekka, akamu ku butale obukulu obusangibwa mu kibuga Kampala. Mu Gwokusatu gwa 2011, Oulanyah yalondebwa ng'omubaka akiikirira essaza ly'e Omoro, mu disitulikiti y'e Gulu District, mu Paalamenti eyoomwenda, ku mulundi guno yali ku kkaadi ya NRM. Yalondebwa ng'omumyuka w'omukubiriza wa Paalamenti nga 19/Ogwokutaano/2011.[8]

Oluvannyuma lw'okulonda kwa bonna okw'omu Gwokubiri gwa 2016, Oulanyah yaddamu okulondebwa ng'omumyuka w'omukubiriza wa Paalamenti nga 19/Ogwokutaano?2016. Mu kalulu akaali ak'ekyama, yafuna obululu 300, ate Muhammad Nsereko yafuna 115.[9] Nga 13 Ogwomukaaga 2019, Oulanyah yafuna diguli eyookusatu mu by'eddiini okuva ku Zoe Life Theological College USA ekyamusobozesa okufuna ekitiibwa ky'obwa ddokita ne kimusobozesa okuyitibwa, Rt. Hon. Dr. Jacob L. Oulanyah

Nga 24 Ogwokutaano 2021, Jacob Oulanyah yalondebwa ng'omukubiriza wa Paalamenti mu kuvuganya okwalimu eyali mukamaawe, Rt. Hon. Rebecca Kadaga n'omubaka wa Kira Municipality, Ibrahim Ssemujju. Jacob yafuna obululu 310, Kadaga yafuna 197 ne Ssemujju 15.[10]

 
Oulanyah Jacob

Emirimu gya Paalamenti

kyusa

Ng'oggyeko emirimu gye egy'okukubiriza Paalamenti, atuula ku bukiiko bwa Paalamenti buno:

  • Akakiiko akasunsuzi- Akakiiko akasunsula bonna abalondebwa Pulezidenti era alina obuyinza obukakasa oba obugaana omuntu alondeddwa. Omumyuka w'omukubiriza wa Paalamenti y'amyuka ssentebe w'akakiiko ako.[11]

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/jacob-oulanyah-voted-speaker-of-11th-parliament-3412358
  3. https://www.monitor.co.ug/News/National/Speaker-Oulanya-Omoro-County-votes-recounted/688334-3084984-xidygqz/index.html
  4. https://www.newvision.co.ug/articledetails/103806
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1424869/kadaga-elected-speaker-unopposed
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1424869/kadaga-elected-speaker-unopposed
  7. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1424869/kadaga-elected-speaker-unopposed
  8. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1424869/kadaga-elected-speaker-unopposed
  9. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1424869/kadaga-elected-speaker-unopposed
  10. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/jacob-oulanyah-voted-speaker-of-11th-parliament-3412358
  11. https://ugandaradionetwork.com/story/oulanyah-defends-appointments-committee