Jacqueline Amongin (yazaalibwa nga 26 Ogwomukaaga 1982) Munnayugandan MP. Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement, eyawangula ekirabo kya Mandela Leadership Prize "olw'okutumbula obukulembeze obulungi n'enkulakulana mu Africa".

Jacqueline Amongin
Jacqueline Amongin

Obulamu bwe

kyusa

Amongin yazaakibwa mu 1982. Yatikkirwa okuva ku Yunivasite y'e Makerere mu 2005 ne Diguli esooka mu kukwasaganya obutonde bw'ensi. Omwaka ogwaddak, yaweebwa omulimu mu Pan African Movement ng'akwasaganya by'empuliziganya nga tannafuulibwa mukwasaganya wa Pulogulaamu mu Global Pan African Movement Program Officer okutuusa mj 2010.[1]

Mu 2011 yegatta ku Paalamenti ya Uganda saako ne mu 2013 lw'eyagatta ku Paalamenti ya Pan African. Akiikirira Disitulikiti y'e Ngora.[2] Yaddamu nalondebwa mu 2016 nga yawangula ekifo kino wamu n'ababaka abalala bana omuli Anifa Kawoya, Professor Ogenga Latigo, Felix Okot Ogong and Veronica Babirye Kadogo.[3]

Mu 2018 yalondebwa okuva mu kadideeti 5,000 okuwangula awaadi emu ku kumminomusanvu eya Mandela Leadership Prize. Awaadi yamuweebwa olw'emirimu gye ne Paalamenti ya Pan Africa mu "kutumbula obukulembeze obulungi n'ebyenkulakulana mu Africa". Awaadi yakolebwa ab'e Ttendekero lya Mandela Institute mu Paris.[4] Awaadi yalaga nti yali yatandikawo ekitongole kya "Jacquline Amongin Development Foundation" (JADEF) era obuwanguzi bwe bwakungirizibwa mu Paalamenti.[5]

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.independent.co.ug/uganda-rwanda-tensions-overshadow-debate-on-eac-integration/
  3. http://parliamentwatch.ug/five-pan-african-parliament-mps-sworn-in/
  4. https://www.monitor.co.ug/News/National/MP-Amongin-Mandela-Leadership-Prize-Paris/688334-4350516-7ulcuiz/index.html
  5. https://theinsider.ug/index.php/2018/04/06/parliament-praises-mp-amongin-for-winning-mandela-prize/