James Munange Ogoola
Justice James Ogoola nga ebiseera ebimu bamuyita James Munange Ogoola[1][2]) nga yeeyali akulira abalamuzi ba Kkooti enkulu mu Uganda nga ye munamateeka wa kkooti edukanya akatale agakata amawanga okuva mu Buvanjuba ne mu Bukiika kkono bwa Afrika esinganibwa mu kibuga Lusaka ekya Zambia.Yaliko nne ssentebe ku kakiiko akavunaanyizibwa ku irimu gy'abalamuzi.[3] Mukusooka yawereza nga ssentebe w'akakiiko akeebuzibwaako ku by'okukozesa obubi Ensiimbi ezaali ez'okulwanyisa obulwadde bwa Siriimu, akafuba n'Omusujja gw'Ensiri.[4] Yeeyali omulamuzi eyali adukanya Kkooti enkulu eya Uganda. Y'omu kubali mu Kkooti egatta amawanga g'Omubuvanjuba bwa Afrika.[5]
Obulamu bwe n'eby'enjigiriza
kyusaJustice Ogoola ye mwana yekka eyazaalibwa mu bazadde bbe okwali Omwami n'omukyala Yukana Madangu nga 15 Ogwomunaana, 1945[6] e Lumino mu Busia mu biseera bino gyebayita Disitulikiti y'e Bukedi ensangi zino emannyikiddwa nga essaza lya.Samia-Bugwe mu Disitulikiti y'e Busia. Maama we Norah Akuku, Nataboona okuva mu ggwanga lya Bataboona, yafa ng'akyalina emyaka etaano, era nga ono yakuzibwa bangaanda zze.[2]Yasomerako ku Nabumali High School fgyeyatuulira S.4 oluvannyuma n'agenda ku Kings College Buddo gyeyamalira S.6. yasoma mateeka kutendekero lya University of Dar-es-Salaam, fokuva mu 1966 okutuuka mu 1969, gyeyatikirwa ne Diguli mu By'amateeka. Diguli ye Ey'okubiri mu Mateeka yagifuna okuva kutendekero lya Columbia University mu 1974. Alina ne Dipulooma mu by'okwengirira mu Mateeka okuva mutekdekero lya Law Development Centre mu Kampala gyeyafuna mu 1997 [4]
Amateeka
kyusaOkutandika mu 1969, James Ogoola abadde mu bitiibwa eby'enjawulo, nga muno mulimu:[4]
- Omwaabi wa gavumenti ( akola ku by'amateeka), nga akola nga eyali akulira abagakola mu paalmenti, nga y'akulira abawaabi ba gavumenti (abagakola), mu Kitongole ekisooka mu kakiiko ka paalamenti, mu Minisitule ekivunaanyizibwa ku by'amateeka mu Uganda mu busenge bwa Saabawolereza wa Gavumenti okuva mu 1969 okutuuka mu 1974.
- Nga munamateeka w'akakiiko kya Privy Council Office, mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by'amateeka mu Ottawa ekya Canada
- Yeeyali Omufirika eyasooka okuweebwa omulimu gw'okubeera omuwabuzi ku by'amateeka ku kakiiko akalondoola eby'ensiimbi munsi yonna akamannyikiddwa nga International Monetary Fund mu 1974. Yeeyalina obuvunaanyizibwa mu mirimu gy'amawanga agasinganibwa mu bitundu bya Latin Amerika waka wa 1974 mu 1978 ku kitebbe ekikulu ekirondoola eby'ensiimbi munsimbi yonna mu Washington DC, mu USA.
- Yeeyali akulira eby'amateeka mu kitongole ekirondoola eby'ensiimbi munsi yonna mu ofiisi za Paris mu Bufalansa, okuva mu 1978 okutuusa mu 1980.
- Yeeyali avunaanyizibwa ku by'amateeka mu mirimu gya kampuni ya African & Middle East country operations ku kitebe ky'ekitongole ekivunaanyisibwa ku by'okulondoola ensimbi munsi yonna mu Washington DC okuva mu 1981 okutuuka mu 1988, wamu ne 1991 okutuusa mu 1997.
- Yawumula okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa mu by'okulondoola eby'ensiimbi munsi yonna oluvannyuma lw'emyaka 23 ng'awereza.
- Nga omumyuka w'eyali akulira ekitongole ky'eby'amateeka ku kitebe ekikulu ekya baanka ya African Development Bank (AfDB), mu Abidjan mu Ivory Coast okuva mu 1988 okutuuka mu 1991.
- Mu kaseera k'ekamu yaweebwa eky'okubeeta omumyukwa wamu namateeka ssaako n'okumyuka ssaabawandiisi wa baanka ya African Development Bank.
- Yawereza nga ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'empisa z'abakozi mu African Development Bank, okuva mu 1989 okutuusa mu 1990.
- Yeeyali omukenkufu ataali wankalakalira kutendekero erisomesa ku by'amateeka erya American University School of Law, mu Washington, D.C., okuva mu 1996 okutuuka mu 1997. Yayogora nga koosi ku by'enziruganya ku by'enfuna, n'amateeka agafuga bya baanka mu baali basoma Diguli ey'Okubiri mu by'amateeka.
- Yali memba ku kakiiko k'abalamuzi ak'eby'ekikugu ku by'okutandikawo Kkooti evunaanyizibwa ku by'enfuna n'obuzuubuzi mu Uganda okuva mu 1996 okutuusa mu 1997.
- Yafuna okukakasibwa okuva mu kaati yabalamuzi mu Uganda mu 1997.
- Yali omu kubaali ku kakiiko akaali kakola ku kunoonyereza kubaali bakozesa obubi ofiisi nadala ssentebe wa Disitulikiti ya Iganga mu 1999.
- Yeeyali akulira Kkooti evunaanyizibwa ku by'Obusuubuzi mu Uganda okuva mu 1999 okutuuka mu 2004.
- Ssentebe, w'akakiiko akeebuzibwaako ku bya Baakna, okuva mu Gusooka 2002 okutuuka mu Gwekumi mu 2000.
- Omu kubaali ku kakiiko akaali kakola okunoonyereza ku ssentebe wa Disitulikiti y'e Sembabule eyali akozesa obuzi ofiisi mu 2000.
- Omu kubaalu ku katuuti k'abalamuzi abaali ku kalulu k'ekikungu mu 2000.
- Yaweebwa okubeera akulira abalamuzi mu Kkooti ya Uganda Enkulu nga 30 Ogwomusanvu mu 2004, ng'adira eyali omulamuzi Herbert Ntabagoba.
- Omu kubaali kukakiiko k'abalamuzi akaali ku by'okudukanya n'okuwabula, nga kawabula Ssaabalamuzi wa Uganda ku by'enzirukanya y'abanamateeka.
- Yakiikirira akakiiko k'abalamuzi mu lukungaana olwalimu ebibiina ebisatuku kakiiko k'abanamateeka akagata amawanga okuva mu Buvanjuba bwa Afrika.
- Yakiikirira Banamateeka okuva mu Buvanjuba bwa Afrika ku by'enteseganya z'abaminisita n'enkola y'amateeka ku by'enteseganya y'okukola Endagaano y'Amawanga agava mu Buvanjuba bwa Afrika, nga esira basinze kuliteeka ku Kkooti y'amateeka mu Mawanga agasinganibwa mu Buvanjuba bwa Afrika .[4]
- Mu 2022 yaweebwa eky'okubeera ssentebe w'akakiiko akakola okutereeza amateeka mu ggwanga South Sudan.[7]
Okuwandiika
kyusaEbiseera bya Ogoola eby'eddembe yabimala nga ali mu bya kusinza. Yakamaliriza okukyusa ebiwandiiko bya Bayibuli ebisinganibwa mu Suula Empya ng'abizza mu lulimirirwe olwa Lusamia.[4]
Mu 2009, ebitontome bya Ogoola ebyasooka kwaliwo, Songs of Paradise: A Harvest of Poetry and Verse, ng'era zaafulumizibwa, okusinga nga byali byagaribwa abaali babivumirira. Omu kubaakasoma yakayita ''ntandikwa omulimu gumu". Kumulundi ogwasooka mu myaka 30, ab'amawulire baalaga obwagazi obw'amaanyi mu butabo.[8] Olupapula lwa The Observer kyakiyita " eky'obugagga, nga omu okusoma omulundi ogumu n'anyumirwa, abeera agenda ku keeyongeza buli kaseera". [9] Olupapula lwa The Independent lwa kiyita " eno mpandiika eyali eyawukana ku ndala" naye neyeewuunya lwaki tewaliwo kintu kyonna nga 2005. Ng'esira asinga kuliteeka kunzikiriza Y'obukulisitaayo yagamba: "Ogoola yagezaako okunyonyola ebiwandiiko by'omubayibuli mu kiwandiiko ebyali bitegekeddwa okubeera mu bitontome".[10]
Obulamu bwe
kyusaMunamateeka Ogoola yawasa Florence Wandera nga balina abaana 5 abakuli wakati waabawe.[6][11][12]
Ebiwandiiko byeyafulumya
kyusaLaba ne bino
kyusaEbujuliziddwaamu
kyusa- ↑ https://www.independent.co.ug/tag/justice-odoki-saga-did-not-have-to-happen-ogoola/
- ↑ 2.0 2.1 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1240786/soft-judge-ogoola
- ↑ http://www.jsc.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=1:message-from-the-chaiperson&catid=1:latest-news
- ↑ 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 https://web.archive.org/web/20150204171000/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/467195
- ↑ http://www.eac.int/index.php?option=com_content&id=24&Itemid=156&showall=1eac
- ↑ 6.0 6.1 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1115648/justice-ogoola-integrity
- ↑ https://jmecsouthsudan.org/index.php/media-center/news/item/635-inauguration-of-jrc-key-milestone-in-the-implementation-of-the-r-arcss
- ↑ https://web.archive.org/web/20160304080631/http://www.eafricainfocus.com/2009/07/14/songs-of-paradise-a-harvest-of-poetry-and-verse
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-04. Retrieved 2024-09-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20140514033114/http://www.independent.co.ug/index.php/society/book-review/39-book-review/1529-searching-for-ogoolas-melody
- ↑ https://books.google.com/books?id=v9s6OXrOOIoC&q=Justice+Ogoola+florence+wandera&pg=PA170
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1193383/kids-interview-justice-james-ogoola