Jane Avur Pacuto (yazaalibwa 6 January 1966) munnabyabufuzi omukyala era omubaka wa Palamenti mu Uganda. Akiikirira abantu b'e Pakwach ng'omubaka Omukyala mu Palamenti ya Uganda. Ye mmemba w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), ekibiina ekikulemberwa pulezidenti wa Uganda aliwo kati Yoweri Kaguta Museveni.

Avur Jane Pacuto

Okusoma

kyusa

Jane avur pacuto pulayimale yagitandikira mu Nabiyonga n’akola ebigezo bye eby'akamalirizo (PLE) mu 1982, oluvannyuma yeegatta ku Sacred Heart secondary school Gulu gye yamaliriza Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1985 n’oluvannyuma n’aweebwa ekifo mu siniya e Kibuli essomero olw'obuyigirize bwe obwa A'level era n'akola ebbaluwa ye eya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1988. Oluvannyuma yeegatta ku yunivasite y’e Makerere n’afuna diguli esooka mu mbeera z'abantu mu 1991, oluvannyuma yayongerako diguli ey'okubiri mu by'obusuubuzi okuva mu yunivasite y’Obusiraamu mu Uganda (IUIU) mu 2008 </br>

Emirimu

kyusa

Jane avur pacuto abadde mmemba wa palamenti ya Uganda okuva mu 2017 okutuusa kati, yali mmemba ku lukiiko olufuzi olwa Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority (URBRA) okuva mu 2015 okutuuka mu 2017, ate okuva mu 2004 okutuuka mu 2008 yali mulabirizi mu microfinance support center limited, okwongera ku ekyo era yaliko omuyambi wa pulojekiti administrator rural microfinance support project okuva mu 2004 okutuuka mu 2008. Okuva mu 1998 okutuuka mu 2004 yali assistant project administrator project okukendeeza obwavu era yali clearing officer Uganda central transport and clearers limited okuva mu 1991 okutuuka mu 1998.

Mu palamenti akola ku kakiiko k’ebyensimbi ng’omumyuka wa ssentebe

Ebijjuliziddwa

kyusa