Jane Kiggundu
Jane Kiggundu, Munnayuganda, Munnamateeka era Mulamuzi wa Kkooti ya Uganda enkulu. Yalondebwa okutuula mu kkooti eyo Omukulembeze wa Uganda Yoweri Museveni, mu Gwokutaano 2008.
Obuto bwe n'emisomo gye
kyusaYattikirwa okuva mu ssomero ly'amateeka erya Yunivasite y'e Makerere, Yunivasite ya Uganda esinga obukulu n'obugazi ne Diguli esooka mu mateka eya Bachelor of Laws. Yafuna Dipuloma mu kukwasisa amateeka eya Diploma in Legal Practice okuva ku Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Okugoberera ekyo, yegatta ku kibiina ky'abannamateeka kya Uganda.
Emirimu gye
kyusaMu ntandikwa ya 2000, Ms Kiggundu yakkiriza okukola omulimu mu Minisitule ya Uganda ey'essiga eddamuzi n'ensonga za Ssemateeka.[1] Wakati wa 2003 ne 2007, yaweereza nga Administrator General ow'ekiseera.[2] Yaweereza nga omuwabuzi wa Gavumenti ku nsonga z'amateeka okuva mu 2007 - 2008.[3]
Ng'ali ku Kkooti enkulu, yawereza nga Omukulu akulembera ettendekero lya Judicial Studies Institute, nga tannaba kuweereza mu Kkooti ekwasaganya ensonga za famire.[4][5] Mu Gwokutaano 2017, yali aweereza mu kkooti enkuku kwasaganya emisango egiri ku ddaala ly'ensi yonna.[6] Yali mmemba ku kakiiko k'abalamuzi abasatu abaali mu mitambo gy'omusango gwa basajja 14 abaali bavunaanibwa og'wokutemula abakulembeze b'eddiini y'obusiraamu mu Uganda, wakati wa 2014 ne 2015. Abalamuzi abalala ababiri abaali ku kakiiko kwaliko omulamuzi Ezekiel Muhanguzi (omulamuzi omukulu) n'omulamuzi Percy Tuhaise (memba).[7][8]
Famire
kyusaMu 1988, Jane mufumbo eri Patrick Kiggundu, munnamateeka wa Uganda, ayaweerezaako nga Omuwandiisi w'ekitongole kya New Vision Group, era Mmemba mu Paalamenti owa Konsitituwensi y'e Kyotera. Baalina abaana basatu. Patrick yalinayo abaana abalala bana n'abakyala abalala. Patrick yafa mu Gwomunaana 2013, oluvanyuma lw'emyaka 15 ng'ali mu katebe k'abalema oluvannyuma lw'akabenje kyafuna mu mu 1998.[9]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-29. Retrieved 2023-03-29.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
- ↑ https://web.archive.org/web/20180614050623/http://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/689844-730172-yinkamz/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20180907010822/http://mobile.monitor.co.ug/News/Judiciary-transfers-10-High-Court-judges/2466686-2907508-format-xhtml-k5u69/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Nyangasi-gets-life-for-wife-s-murder/688334-1594440-oo0fyuz/index.html
- ↑ http://www.judiciary.go.ug/data/incourt/16/The%20Honorable%20Judges%20of%20The%20High%20Court.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-29. Retrieved 2023-03-29.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.independent.co.ug/sheikh-murder-suspects-case-answer/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-29. Retrieved 2023-03-29.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)